TOP

Liirino eddagala erisinga obukulu ng'olunda embizzi

By Musasi wa Bukedde

Added 30th October 2019

By'olina okumanya ng'olunda embizzi osobole okufunamu

Emeereyembizzijikeberengatonaziwakulyawebuse 703x422

Okufuna mu mbizzi olina okuyiga endiisa esaanidde

Bya Stella Naigino

Okulunda embizzi kye kintu buli muntu ky’alowooza nti asobola okukola naye abantu beerabira nti waliwo ebintu ebirina okumanyibwa nga tonnasalawo kuzirunda.

Abakugu bagamba nti, ebiseera ebisinga abantu bakola olw’okuba balaba abalala bakoze naye kikola amakulu mangi ng’okoze ekintu ky’owulira ng’oyagala. Wabula bw’oba onoolunda embizzi olina okumanya bino.

  1. Ebika by’embizzi eby’enjawulo: Moses Sabika, omulunzi era omulimi agamba nti waliwo ebika ebikula amangu n’ebirwawo. Bw’oba onoolunda, olina okumanya ekika ekinaakukolela olyoke osalewo nga tonnatomera.
  2. Emmere embizzi gye zirya: Olina okumanya emmere entuufu gy’olina okuwa embizzi zo era omanye ne gy’ogenda okugiggya mu bungi.

Kino kikuyamba obutatawaanyizibwa ng’otandise okulunda.

 sobola okulundira mu mbaawo era nofunamu Osobola okulundira mu mbaawo era n'ofunamu

 

  1. Olina okumanya gy’onoggya amazzi ag’okuziwa kuba zisinga kunywa: Tonny Mugerwa, omulunzi w’embizzi agamba nti kino kiyinza okwetaagisa okusima ttanka mw’onootereka amazzi osobole okubeera nabo obudde bwonna.
  2. Okuzigema: Embizzi zirina okugemebwa era omulunzi olina okumanya ddi lw’olina okukola kino. Kino kiziyamba okukula obulungi n’ofunamu.
  3. Manya obutale gyebuli: Tekikola makulu kulunda mbizzi, nga tomanyi wa waakuzitunda. Nga tonnatandika manya wa era ani ayinza okugula by’ogenda okulunda. Okumanya akatale kikuyamba okumanya we bagula era kiki kye baagala olwo n’olunda ng’omanyi eky’okussaako essira.
  4. Obuyonjo kikulu: Obuyonjo ly’eddagala erisooka ku mulunzi w’embizzi. Bukutaasa endwadde n’okusaasaanya ekisusse ku ddagala. Manya ky’olina okukola okusobola okukuuma ekifo ky’olundiramu nga kiyonjo.
  5. Ennunda ennungi: Omulunzi yenna alina okumanya engeri gy’alina okulunda embizzi obulungi asobole okuzifunamu. Ebintu ng’okwawula embizzi enkulu n’ento ne zibera zokka kiyamba. Bino osobola okubiyiga nga wettanira okugenda mu misomo gy’okulunda egy’enjawulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam