TOP

Batendese abavuzi ba tulakita ezirima 560

By Musasi wa Bukedde

Added 7th January 2020

Abavuzi batulakita 560 batendekeddwa okuvuga tulakita 320 ezaaguliddwa Gavumenti nga za kuyamba ku balimi b'omu byalo eby'enjawulo nga basasula ssente entono

A1webuse 703x422

Abaatendekeddwa nga balaga kye baayize okukola

Bya Paddy Nsobya   

Ekitongole kya NAADS kifulumizza abavuzi ba tulakita 560 okuyamba okukozesa obulungi tulakita 320 ze kireese mu nteekateeka ya gavumenti ey’okusitula omutindo gw’ebyobulimi n’okwongera ku bungi bw’ebintu ebirimibwa okuva mu bitundu by’eggwanga ebitali bimu.

 baatendekeddwa okuvuga tulakita nga balaga satifikeeti zaabwe ze baafunye Abaatendekeddwa okuvuga tulakita nga balaga satifikeeti zaabwe ze baafunye

 

Akulira ekitongole kya NAADS, Samuel Mugasi bwe yabadde akwasa abamu ku bagoba ba tulakita abaatendekeddwa ku kitebe ky’ebyobulimi ekya MUZARDI e Ntaawo e Mukono ebbaluwa zaabwe gye buvuddeko, yagambye nti batendese abantu bano okuyamba okukozesa obulungi tulakita zino gavumenti zeereese okutumbula ebyobulimi mu byalo.

“Tulakita zino mutendekeddwa muzikozese okutumbula ebyobulimi mu disitulikiti ze mukiikiridde so si kusomba musenyu na mayinja na mbaawo mu byalo. Abalimi baakuzipangisa ku nsimbi ensaamusaamu,” Mugasi bwe yagambye.

 kulira ekitongole kya  mu ggwanga amuel ugasi ngakwasa omu ku baatendekeddwa ebisumuluzo bya tulakita abalage nga bwayize okugirimisa Akulira ekitongole kya NAADS mu ggwanga, Samuel Mugasi ng’akwasa omu ku baatendekeddwa ebisumuluzo bya tulakita abalage nga bw’ayize okugirimisa.

 

Yagambye nti, abalimi okukozesa enkumbi basaasaanya ssente nnyingi ate n’obudde kitwala bungi okuteekateeka ennimiro kyokka akozesa tulakita asaasaanya kitono bwogeraageranya n’ow’enkumbi, ate n’obudde owa tulakita akozesa butono okuteekateeka ennimiro ebirime ne bikulira mu budde.

Yeebazizza ekitongole kya MUZARDI ne kkampuni ya Engineering Solution abayambye ku NAADS okubangula abavuzi ba tulakita bano n’ategeeza nti, gavumenti nayo eyanguyirwa emirimu bw’efuna abagikwatirako ku mirimu gyayo egy’okutumbula ebyobulimi mu ggwanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...

1bc8d9398e5f4a07a3307fdfeb1d90ad 220x290

Kasujja omukulu w'ekika ky'Engeye...

OMUTAKA Hajj Mohamood Minge Kibirige Kasujja abadde akulira ekika ky’engeye obulwadde bwa sukaali ne puleesa bimugye...

Mkncov11 220x290

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira...

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira abateeberezebwa okuba ne Coronavirus

414009d1dd2349e0bd6b4678886a42d21 220x290

Kabaka awaddeyo obukadde 100 okuyamba...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II addukiridde Bannayuganda n’obuyambi obw’enjawulo obubalirirwa obukadde 100 ng’ensimbi...

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi