TOP

Obugagga bwange buli mu mbizzi

By Musasi wa Bukedde

Added 27th January 2020

BW’OBA waakufuuka mulimi oba omulunzi ow’enjawulo tosooka kutunuulira ssente mmeka z’osuubi ra kufuna wabula lwana okulaba ng’okola ffaamu buli muntu gy’asobola okutuukako n’agyegomba ng’okola ebintu abalala bye batasobola kukola oba bye babuusa amaaso.

Mbizzi1 703x422

Masembe ng’ali mu kiyimba ekirimu obumu kubwana obwakaweza emyezi ebiri.

Bya BENADINO KATE
 
BW’OBA waakufuuka mulimi oba omulunzi ow’enjawulo tosooka kutunuulira ssente mmeka z’osuubi ra kufuna wabula lwana okulaba ng’okola ffaamu  buli muntu gy’asobola okutuukako n’agyegomba  ng’okola  ebintu  abalala bye batasobola kukola oba bye babuusa amaaso.
 
Ekyo bw’onookikola obulimi n’obulunzi bujja kukutambulira bulungi ate ofune  ssente ze wali tolowoozangako kufuna naye nga kiva mu nteekateeka ennungi gy’oba wakola ng’otandika ffaamu yo.
 
James Masembe 40, omutuuze w’e Kijonjo-Nalozaali mu ggombolola y’e Buwunga ekisangibwa mu disitulikiti Masaka ye nnannyini ffaamu eyitibwa Aga Mixed Farm ng’eri ku bunene bwa yiika mwenda asinga kulunda mbizzi ate ne yeeyambisa obusa n’omusulo by’aggya mu biyumba  okulima  ebintu ebirala omuva ssente.
Alina olusuku oluweza yiika nnya n’ekitundu, omusiri gw’emmwaanyi yiika ssatu n’ekitundu,  alimirako enva endiirwa zaaliisa embizzi n’okutunda, alinako yiika emu gye yeeyambisa okumerusa endokwa z’emmwaanyi eziri ku mulembe ekika kya ‘Cutting’ ate ng’alimirako n’emmere endala omuli  kasooli gw’aliisa embizzi.
 
Ddundiro ya Masembe eno gy’osanga embizzi ezizaala abaana abasoba mu 10  buli emu ate nga zizitowa  kkiro ezisoba mu 200 buli emu.
 asembe ku ddyo ngali nomu ku bamuyambako okuddukanya eddundiro nga balaga emmere gye baliisa embizzi nga bayita mu kutereka amalagala Masembe ku ddyo ng’ali n’omu ku bamuyambako okuddukanya eddundiro nga balaga emmere gye baliisa embizzi nga bayita mu kutereka amalagala.

 

 
OBUGAGGA BWANGE BULI MU KULUNDA MBIZZI
Masembe agamba nti; Ffaamu yange eno nagitandika mu 2017 mu mwezi gwa November era kati yawezezza  emyaka ebiri. Nagitandi ka n’embizzi 11 nga kati eddundiro yonna eririko embizzi 285, kuliko enkazi ezizaala 26 n’ennume 4 nga zino ze tweyambisa okuwakisa.
 
Natandika ddundiro eno nga nnina ekiruubirirwa ekyokwettira embizzi ze nnunda ntunde ennyama mu bifo eby’enjawulo okwetooloola Masaka ne Kampala ate n’okufu- lumya ebyana ebito eby’omulembe abantu b’ekitundu babigule nabo batandike okwenyigira mu bulimi n’obulunzi obuli ku mulembe kitusobozese okulwanyisa obwavu mu ggombolola yaffe nga tuyita mu kulima n’okulunda kubanga omulunzi omulungi  tayinza kwonoona bigimusa by’aggya mu mbizzi n’atabiteeka mu nnimiro.
 
We ntuukidde leero ndaba ng’ekigendererwa kyange kibu- zaayo akaseera katono kituukirire kubanga nsuubira okutandika oku- tunda ebyana by’embizzi mu mwezi ogwookusatu ate n’okutandika okufulumya ennyama era mu mwezi gwe gumu.
Abantu baatandika dda okujja okulambula eddundiro lyange era ne bafuna amagezi ag’enjawulo  naye mbadde sinnagulawo mu butongole  kugirambula wabula engeri gye ngenda okutandika okufulumya buli kimu  ngenda kutandika n’okutegeka emisomo abantu tubayigirize ennima n’ennunda eri ku mulembe ate n’engeri gye basobola okukola ssente mu bulimi.
 
Newankubadde nze ntaddemu ssente nnyingi okusinziira ku bintu bye nnina ndaba nga ssente ngenda kuziggyayo mu kiseera kitono ate nfune okusingawo.
 
EMBIZZI OKUKULA OBULUNGI ERINA OKULYA KKIRO Z’EMMERE SSATU OLUNAKU
Masembe agamba nti, embizzi bw’oba oyagala ekule mu bwan- gu nga teddiridde olina okulaba ng’efuna emmere egimala kubanga buli lw’erya neetakkuta efuna okw- eraliikirira eyandifunye omubiri ne gugaana okusituka.
 
Okusinziira ku musawo wa ffaamu yange, embizzi enkulu buli lunaku nnina okuziwa kkiro ssatu buli emu era kyenkola, ku makya buli mbizzi ngiwa kkiro bbiri ate olweggulo nalwo ne zifuna kkiro emu buli mbizzi.
 
Amazzi go gabeeramu obudde bwonna  kubanga embizzi eba  eri- na okunywa ennyo emmere gy’erya esobole okutambula obulungi era ku ffaamu yange buli mbizzi mu kis- enge mw’ebeera mulimu enywanto gye yeeyambisa okunuuna amazzi obudde bwonna weyagalira.
 
Embizzi zange nzirimira n’ebyokulya ebirala omuli enva endiirwa gamba emboga, n’emiddo emirala era nkaza n’amalagala  nga gatemeddwa ebitundu  nago ne nzigaliisa era gazikola bulungi.
 
Embizzi yonna kyandibaddde kirungi okulya ku bintu ebya kira- gala kubanga biziyamba okufuna amaanyi ate ne bw’eba eri lubuto eba esobola bulungi okuzaala nga tesanze buzibu ate era omuddo ogwo oluusi gukola ng’eddagala nti, embizzi eyambibwako okutangirwa endwadde ezitali zimu eziyinza okugirumba.
 
ENKAZI GIWE ENNUME NG’EWEZEZZA EMYEZI MWENDA
Embizzi yonna ng’erabiriddwa bulungi bw’eweza emyezi musan- vu esala omulundi ogusooka naye olw’okuba eba tennaguma bulungi emala ennaku endala 21 n’eddamu n’esala olwo eba ewezezza emyezi munaana era tekiba kirungi kupa pirawo kugiwa nnume, ogyonger- amu omwezi omulala gumu ku mulundi ogw’okusatu ng’ewezezza emyezi mwenda n’olyoka ogiwa ennume.
 
Bw’emaliriza okuwaka emala en- naku 114 okuzaala, gy’emyezi esatu ne wiiki ssatu n’ennaku ssatu, era bw’oba oyagala okufuna ekirungi obwana obuleka ne buyonkera ebbanga lya myezi ebiri ne buvaako nga bukuze bulungi  olwo n’oyisaawo  omwezi gumu ng’emaze okuggyako obwana n’ogiwa ennume.
 
Omwezi ogwo gw’ogirekerawo gugiyamba okuddamu okutereera obulungi n’esigala nga tekozze, ekitegeeza embizzi yonna entuufu buli mwaka erina okuzaala emirun- di ebiri gyokka.
 asembe ngalaga enva endiirwa zalimira ku ddundiro nga zino aziriisa embizzi nabantu okuzigula Masembe ng’alaga enva endiirwa z’alimira ku ddundiro nga zino aziriisa embizzi n’abantu okuzigula.

 

EMMERE Y’EMBIZZI ZANGE NGYETABULIRA OKUFUNA EBIRUNGO EBITUUFU
Olw’okuba kasooli asinga obungi mmwerimira ngula ebirungo byonna ebyetaagisa okugenda mu mmere omuli mukene  n’ebirala ne mbyet- walira ku kyuma ne babikuba  ne nkwata ccacu ne kasooli gwe tuyita ‘broken’ ne ntabula  nga buli kirun- go nkikozesezza mu bungi bwakyo.
 
Kino kinnyamba okuwa embizzi zange emmere erimu buli kyetaagisa ate awamu n’okukendeeza ku nsaasaanya kubanga ssente ze batundda kkiro nze mba ngenda kusasanyako ntono ezisigalawo ne nzeeyambisa mu bintu ebirala ebyetaagisa ku ffaamu gamba okugula eddagala, okusasula abakozi n’ebirala.
 
FFAAMU ENGERI GY’EKYUSIZZA EKITUNDU
1 Abatuuze be nayogeddeko nabo bantegeezezza nti, ekizibu kye basinga okuba nakyo kyali kya bbula lya mazzi era ng’ek- idomola bakigula ssente eziri wakati 
we 500/- ne 1,000/- naye okuva Masembe lwe yatandikawo ffaamu n’asima amazzi g’omu ttaka abatuuze kati okwetooloola ekyalo kyonna amazzi bagaggya ku 
ffaamu.
 
Ekidomola akibaguza ku 200/- ate nga buli mukadde ali ku kitundu amazzi atwala ga bwereere awatali kusasula wadde ateekamu ssente ezigula amafuta okukuba amazzi ago okuva wansi okwambuka mu ttanka.
 
2 Masembe alaze abantu b’ekitundu nti, okulunda n’okulima bisoboka era bangi kati batandise okubaako bye bakola  naddala nga basimba ebitooke, okulunda ,ate kati ne bwe bawulira nti waliwo awali omusomo nga gukwatagana ku bulimi  bagenda ne bongera okubangulwa.
 
3 Abavubuka  b’ekitundu baweereddwa  emirimu ku ffaamu ne bakola, abamu bakola mu bitooke, mu mmwaanyi ate abalala bakola  mu bintu ebisigadde ne bafuna ssente ezibayimirizaawo ne famire zaabwe.
 
ENKUUMA Y’OBUTONDE KU FFAAMU
●    Bw’otuuka ku ffaamu ya Masembe, kw’alundira embizzi ate ng’alimirako n’ebintu ebirala wakwewuunyisa naddala mu biyumba omubeera embizzi, toyinza kusanga- mu wadde enswera era n’ekiyumba bw’oba tolabye mbizzi toyinza kumanya nti mweziri kubanga obuyonjo buli waggulu.
 
● Masembe yeeyambisa obusa okuliisa ettaka era buli kintu ky’akola nga kirimu okujimusa bwe yeeyambisa awatali wadde okufuuy- ira  eddagala. Kino kimuyambye 
okukuuma  ettaka lye nga ggimu y’ensonga lwaki ne by’asimba bivaamu nga birungi.
 
● Mu lusuku yeeyambisa ensalosalo okutangira ettaka okukulugukka  era ne zimuyamba okutambuza ebigimusa bye by’afuna okuva mu biyumba by’embizzi okutuuka mu buli kifo ky’ayagala bituukemu.
 
OKUSOOMOOZEBWA KWE NSANGA
1 Ekitundu tekirina masannyalaze ate ng’emirimu egisinga obungi egikolebwa ku ffaamu gyetaaga  amasannyalaze okutambula obulun- gi gamba okukuba kasooli embizzi gwe zirya n’ebirala.
 
2 Eddagala oluusi lye tweyambisa okujjanjaba embizzi balicupula  ne kitufiiriza.
3 Akatale weenda okutunda ennyama nga ntandise okugifu- lumya mu mwezi ogwokusatu kakyali katono nga tukyetaaga ebifo bingi bye tulina okugabira.
 
4 Ebirungo bye nkozesa okutabula emmere oluusi birinnya ne kimbeerera kizibu okuliisa embizzi zino zonna ze nnina  ne mba nga nkozesa ssente nnyingi ate nga mbadde sinnatandika kuziyingiza kuva mu ffaamu.
 
Newankubadde ffaamu eno mbadde sinnatandika kugifunamu ssente, nnina essuubi nti mu ka- banga katono ssente ze ntaddemu zigenda kuvaayo ate nfune ne ze nali sisuubira kubanga ebintu bye nteeseteese okufunamu ssente nga mpita mu kulunda n’okulima bingi.
 
Nkubiriza abantu bongere okwenyigira mu bulimi ate beetegeke bulungi bwe baba tebannayingira kulunda buna ebisinga obulungi.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Luke 220x290

Mmotoka y’abagole egudde mu mugga...

MMOTOKA ebaddemu abagole n’abooluganda lwabwe 7 egudde mu mugga abantu bataano okuli n’abagole ne bafiiramu

Employed 220x290

Akwana abawala n'ababba poliisi...

POLIISI ekutte omusajja agenda mu bbaala n’ebifo ebirala ebisanyukirwamu n’akwana abawala n’ababbako ebintu byabwe....

Sit51 220x290

UCU ne KIU balwana kuva mu kibinja...

UCU ne KIU balwana kuva mu kibinja kya University League

Kubayo 220x290

‘Bobi teyeewandiisanga kuvuganya...

WADDE ng’akakiiko k’ebyokulonda ke kakkiriza omubaka wa Kyadondo East, Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) okwebuuza...

Un 220x290

Abooluganda lwa Nabukenya owa Poeple...

OMUBAKA wa Kyaddondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine, asinzidde mu kuziika, Ritah Nabukenya...