TOP

Mujjumbire emisomo gy'obulimi egibaweebwa

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd February 2020

Ab’e Bukunja bababuulidde emigaso gy’okujjumbira emisomo gy’ebyobulimi n’emirala egitegekebwa ku kyalo

Matiamusisiakulembeddengalambuzasekiboobonabamukubakunguokuvamubwakabakabwabugandaennimiroyobwakabakaeyamuwogowebuse 703x422

Matia Musisi (akulembedde) ng'alambuza Ssekiboobo emu ku nnimiro za Kabaka eza muwogo

Bya Joanita Nakatte

Minisita avunaanyizibwa ku by’obulimi, ettaka ne bulungibwansi mu lukiiko lwa Buganda, Mariam Mayanja Nkalubo akalaatidde ab’e Bukunja mu disitulikiti y’e Buikwe okujjumbira emisomo gy’ebyobulimi egitegekebwa mu kitundu kyabwe beeyongere okufuna obukugu mu nsonga zonna ezeekuusa ku bulimi.

Mu bubaka bwe yatisse Daniel Kitaze, omu ku batuula mu lukiiko lw’Obwakaba bwa Buganda, minisita Mayanja Nkalubo yategeezezza nga Bannayuganda bwe batuulidde eby’obugagga ku bitundu byabwe olw’obutamanya ate nga mu misomo egyo mwe bayinza okuggya amagezi okubaako bye batandikawo mu bintu ebibeetoolodde.

 sekiboobo lijah ogere ngayogerako eri annakyaggwe ku kukulaakulanya obulimi Ssekiboobo Elijah Bogere ng'ayogerako eri Bannakyaggwe ku kukulaakulanya obulimi

 

Yabadde ku kyalo Kkoba - Nabutiti ekisangibwa mu disitulikiti y’e Buikwe mu ggombolola y’e Ngogwe, ku mukolo ogwabadde gutegekeddwa Ssekiboobo omuggya Elijah Bogere.

Yatongozza ennimiro y’Obwakabaka bwa Buganda eya muwogo eya yiika 25 n’okulambula ennimiro za Bannabukunja ezaasobye mu ttaano.

“Mubuusa amaaso emisomo egy’ebyobulimi n’emirala gyonna egitegekebwa ku byalo byammwe nga mwekwasa okuba nti, mulina eby’okukola ekintu ekitali kirungi. Mu misomo gino mw’ozibukira amaaso nti, ekintu ky’obadde otwala ng’ekitali kya mugaso osobola okubaako ky’okiggyamu n’obukodyo obw’enjawulo bw’oyinza okweyambisa mu nnimiro yo n’ogifunamu ensimbi okuva mu by’osimbye,” Kitaze bwe yagambye.

Yasabye Bannakyaggwe okusimba emmere eneebaleetera enkulaakulana mu kitundu kyabwe naddala eyettanirwa bannamakolero abayitirivu mu ssaza lino, basobole okwenogera ensimbi.

 bamu ku baabadde ku mukolo gwokutongoza ennimiro za abaka e yaggwe Abamu ku baabadde ku mukolo gw'okutongoza ennimiro za Kabaka e Kyaggwe

 

Ssekiboobo yawanjagidde abaami b’eggombola eno ey’e Ngoggwe okunnyikiza obumu n’enkolagana wakati waabwe babeere ekyokulabirako eri Bannabukunja nga yasinzidde ku byamutegeezeddwa omu ku baami b’eggombolola eno gw’ataayatuukirizza.

Yalayidde okufaafaagana n’akakundi k’abaami b’eggombolola y’e Ngogwe abaagala okweddiza ettaka ly’obwakabaka bwa Buganda n’asuubiza nga bw’atagenda kuzza Ssaza lino mabega era nga wa kwongereza kw’ebyo Ssekiboobo Benjamin Kigongo Kikonyogo abaddeko by’alese akoze.

“Mbakuutira okukolagana obulungi mutambuze emirimi gy’eggombolola, nnina obweraliikirivu nti eky’okweyawula kyandizaala ebizibu mu ggombola eno abamu ne muwunzika ng’obwami bubafudde, mubeere bumu musobole okubeera ekyokulabirako eri Bannabukunja,” Bogere bwe yagambye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’

Lwe11 220x290

Obugubi abasajja bwe bayitamu olw’okusiiba...

Obugubi abasajja bwe bayitamu olw’okusiiba awaka

Lv1 220x290

Engeri gy’okozesa ekiseera kino...

Engeri gy’okozesa ekiseera kino okunyweza laavu yammwe

Kab19 220x290

Bakubye owa LDU mu kafiyu

Bakubye owa LDU mu kafiyu

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...