TOP

Naleka okutunga engoye kati ndi mu kulima

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd March 2020

OMUNTU yenna bw’afungiza era n’amalirira okuteeka amaanyi mu by’obulimi amala n’abiganyulwamu era ssinga obulimi n’obulunzi obiremerako osobola okufuniramu ddala ssente eziwera.

Kola 703x422

Mpungu ng’awa ente amazzi.

Bino byayogeddwa Tebayagarika Mpungu 60,omutuuze w’e Kinaawa ekisangibwa mu Kyengera Town Council mu Wakiso disitulikiti.

Mpungu mulunzi wa nte era ffaamu ye etudde ku yiika ttaano.Ku nte agattako embuzi, enkoko alina n’olusuku olutudde ku yiika bbiri.

Agamba nti, yakolanga mu kitongole ky’amasimu ekya Uganda Telecom (UTL) wabula yafissangawo obudde ne yenyigira mu kulima n’okulunda era nga kati bye bimuyimirizaawo.

NTANDIKA OKULUNDA ENTE

Mpungu agamba nti, emisomo gya Gavumenti egisomesebwa ku bulunzi n’obulimi mu bitundu eby’enjawulo byanyamba okufuna obukugu ku ngeri y’okufuna mu kulima n’okulunda ate nga nafuna n’omukisa okusomanga emiko gy’amawulire omuli Enkumbi terimba mu Bukedde ne Harvest money mu Newvision era nga nasoma ku bantu bangi nga ndaba abalekawo emirimu gya ofiisi ne bagenda mu kulima n’okulunda ate ne bafuniramu ddala.

NGULA ENTE EYASOOKA

Mpungu agamba nti, yali mutunzi wa ngoye naye olw’okwagala okwetegekera obukadde bwe, mu 2010, yasalawo okugula ente eyasooka era natandika okugirabirira nga bw’akola.

“Bwe nabanga sinnaba kugenda ku mulimu, nga nsooka kugilabirira olwo ne mukyala wange n’atandikira we nabanga nkomye.

Nnunda ente enzungu ez’amata era nga zimpeera ddala amata agawera ge ntunda ne nneetusaako byonna bye njagala.

Wenjogerera kati nnina ttaano ezikamwa n’ennyana bbiri. Zino zimpa amata agasukka mu liita 40 olunaku ge ntunda ne nfuna ssente”. Mpungu bw’anyonnyola.

OKUKOLA SSENTE

Olunaku nkama amata agasukka mu liita 40 wabula tugenda kubala liita 40 zokka tugambe nti agasigadde ge tunnywa awaka.

Buli liita ngitunda 2000/- Bw’oddira 2,000/- ze ntunda buli liita n’okubisaamu liita 40 ze ntunda olunaku neesanga nga nfunye 80,000/-buli lunaku.

Bw’okubisaamu ennaku 30 eziri mu mwezi mba nfuna 2,400,000/-omwezi olwo mu mwaka mba nfuna 28,800,000/-okuva mu nte zange.

Wabula ssente ezo ze tubaze tetuggyeko ze nteekamu naddala mu kunoonya omuddo, okugula eddagala n’ebirala. Okusinziira ku mbala yange bwe njawulako byonna bye nkozesa mu nte,omwezi nfissa 1,500,000/-olwo omwaka ne mba nga nfuna 18,000,000/- ng’amagoba.

AKATALE K’AMATA GANGE

Ekitundu ekimu ku mata ge nkama ngatunda ku ssomero lya Kinaawa Primary School ate ng’amata agasigaddewo ngaguza abantu b’oku kitundu era abasinga baganona waka agasigalawo omwana agatambuza mu bitundu ebituliranye era tewali gafikka.

BYE NFUNYE MU KULUNDA ENTE

Mpungu agamba nti, sirabangako kisolo oba kinnyonnyi kirina mugaso ng’ente gw’erina era alaba ng’emigaso gy’ayo mingi.Buli ekiva mu nte kya mugaso era ebirungi by’enfunye mu nte zange ebbanga ly’enzirundidde bingi era kyandibadde kirungi buli muntu n’azirunda olw’emigaso emingi gye zirina.

1. Abaana bange abasinga basomedde ku ssente z’amata.

2. Nagula ettaka eddala e Mpigi yiika 3 nga lino hhenda kulilundirako nkonko ekintu kyendaba nga kijja kwongera ku nyingiza yange.

3. Obusa mbukozesa mu nnimiro okusobola okugimusa ebitooke.

OKUSOOMOOZEBWA

Eddagala effu ku katale litufiiriza nga mu kino amaduuka mangi mu kibuga gatunda eddagala ecupule olwo ffe nga abalunzi ne kitufiirizibwa.

Mu ngeri y’emu n’ebikozesebwa mu kulunda ente naddala ebbomba ezifuuyira nakyo kikyatutawanya nga ffe abalunzi abatandika.

Wennundira n’omuddo gugenze gukendeera gwe tuliisa ebisolo.ate nga ente nnunda za mu kiyumba wabula ewasinga okuva omuddo abantu baazimbawo dda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...

1bc8d9398e5f4a07a3307fdfeb1d90ad 220x290

Kasujja omukulu w'ekika ky'Engeye...

OMUTAKA Hajj Mohamood Minge Kibirige Kasujja abadde akulira ekika ky’engeye obulwadde bwa sukaali ne puleesa bimugye...

Mkncov11 220x290

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira...

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira abateeberezebwa okuba ne Coronavirus

414009d1dd2349e0bd6b4678886a42d21 220x290

Kabaka awaddeyo obukadde 100 okuyamba...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II addukiridde Bannayuganda n’obuyambi obw’enjawulo obubalirirwa obukadde 100 ng’ensimbi...

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi