TOP

Amasomero gakkirize abayizi amasimu?

By Musasi Wa

Added 8th February 2015

ENKULAAKULANA mu nsi yonna kati eri ku misinde gya yiriyiri. Yeeyolekera mu bintu bingi nga muno mwe muli ne tekinologiya assiddwa ku masimu ne gatuuka ku ssa ly’okuyamba abayizi okunoonyerezaako kw’ebyo ebibasomesebwa mu kibiina

2015 2largeimg208 feb 2015 142508427 703x422

Bya HAFSWA NANKANJA  NE PROSSY NABABINGE

ENKULAAKULANA mu nsi yonna kati eri ku misinde gya yiriyiri. Yeeyolekera mu bintu bingi nga muno mwe muli ne tekinologiya assiddwa ku masimu ne gatuuka ku ssa ly’okuyamba abayizi okunoonyerezaako kw’ebyo ebibasomesebwa mu kibiina. Amasimu gayamba okuyigiriza abayizi empandiika y’ebigambo entuufu, okuyigirako ebintu abasomesa bye batabamaliddeeyo, okubamanyisa ebigenda mu maaso mu nsi n’emigaso emirala ntoko.

Olw’ebirungi by’essimu ng’ebyo, wano we weebuuliza nti kye kiseera abayizi bakkirizibwe okutwalanga essimu ku ssomero? Kyokka amasomero gakubaganye empawa ku nsonga eno ng’agamu gagamba nti omuyizi okumugaana essimu oba omukuumira mabega ate amalala nga gagamba nti abayizi tebasaanidde kukwata ssimu kubanga zijja kubamalira obudde bave ku by’okusoma okukkakkana ng’ekyabatwala ku ssomero bavuddeyo tebakifunye. Tutuukiridde abakulu b’amasomero ne boogera ku nsonga eno bwe bati:

Omukulu w’essomero lya Kabo¬jja International, Emmanuel Opwa agamba;
Okutangira omuyizi okujja n’essimu ku ssomero kikyamu ku¬banga bazeeyambisa mu kusoma nga bakola
okunoonyereza ku mikutu gya yintaneti egy’enjawulo nga; C.I.E ne Extreme papers.com.

Ffe wano ku ssomero tukkiriza essimu naye twagassaako amateeka. Okugeza; abayizi bakozesa
amasimu okuva ku ssaawa 7:30 okukoma ku 9.20 ez’olweggulo.

Okwewala enkozesa embi ey’amasimu gano, okuva ku saawa 7:30 okutuuka ku
7:55 abayizi bonna bawandiisa amasimu gaabwe mu ofiisi egakuuma ate ayagala oku¬kozesa essimu ye mu kusoma, afuna olukusa olugiggyayo okuva ew’omusomesa atwala eby’okusoma.

Olumuwa essimu, agenda mu kifo ekya "E-Research Centre" gy’agikozeseza oluvanny¬uma n’agizzaayo gye ziterekebwa.
Omukulu w’essomero lya Trinity College e Nabbingo, Nakate Kikomeko agamba;

Abayizi tebeetaaga masimu ku masomero kubanga kyonna kye beetaaga okugakolerako bakyayinza okukikolera awalala. Omuyizi bw’aba aya¬gala okukola okunoonyereza ku yintaneti kino akikolera mu tterekero ly’ebitabo ne mu computer laabu nga bw’ayambibwako abasomesa be.
Ku nsonga y’okuwuliziganya n’abazadde, tulina amasimu aga ‘booth’ abayizi ge beeyambisa.

Atwala Baptist High School e Kitebi, Grace Namakula agamba;
Ku Baptist abayizi tebakkirizibwa kubeera na masimu anti gaboonoonera obudde bungi nga bakolerako ebitabayamba.

Abayizi abava awala oluusi bajja n’amasimu kyokka tugabaggyako ku lunaku lwe batuuka ku ssome¬ro ne tugabaddiza lwe bawummula basobole okuwuliziganya n’abazadde nga bali ku lugendo oludda ewaka. Okunoonyereza kwonna abayizi kwe beetaaga bakukolera mu tterekero ly’ebitabo ne ne ku kompyuta zaffe.

Akulira ebyensoma ku St. Balikuddembe SS, Kisoga, Erisa Lwanga Kakobya agamba;
Omuyizi okubeera n'essimu si kikyamu kasita tagireeta ku ssomero. Wano ku ssomero ffe kizibu okukakasa omuyizi ky’akolera ku ssimu.

Essimu esumbuwa omuyizi n’atafaayo ku bimusomesebwa mu kibiina. Klae wano omuyizi yenna asangibwa n’essimu aba amenye amateeka g’essomero era ayinza n’okugobwa ku ssomero.

Peter Muyingo, London College S.S Nansana: Abayizi ba siniya baba tebannatuuka ku ddaala lya kukwata ssimu kubanga obwongo bwe buba bukyakula, teyeetaaga bimucankalanya. Olaba abakulu essimu ebaggya ku mulamwa, naye abato? Essimu zisuula abaa¬na mu bikemo ne boonooneka. Era omutemu asobola okukubira omwana n’amutta.

Tetwetaaga ssimu okusoma’

Hakim Kintu, Victoria High School Nansana: Kino si kye kiseera eki¬tuufu. Amasimu g’ennaku zino galiko ebikyamu bingi. Omwana ayinza okudda mu kunoonyer¬eza ku bitamugasa era bw’adda mu kibiina ebyo by’abaako ne banne mu kifo ky’okusoma. Obwongo bwonna bucanka¬lanyizibwa n’endowooza enkyamu ekiyinza oku¬muggya ku mulamwa.

Steven Bazonona (Baptist High School Kitebi): Olaba abayizi balemwa okuyita obulungi nga tebalina masimu, kati bwe tunakkirizibwa okutwala amasimu ku ssomero kinaaba kitya?

Mu butuufu amasomero okugaana amasimu tekuba kusigalira mabega kubanga essimu terina w’eyambira muyizi mu kusoma. By’oba totegedde, weebuuza ku basomesa ne babikuddiramu. N’obutabo gye buli mu makuumiro gaabwo ku masomero.

Sarah Naturinda, London College Nansana: Ebirungi by’essimu ku masomero bitono nnyo. Essimu eringa kikemo naddala ku bayizi abawala. Agirina yeeraba ng’ow’ekitalo n’alemwa okuwuliriza abasomesa. Abalala anoonyezaako emik¬wano egitamuyamba ng’ayita ku Facebook, n’okusoma okwamuleeta n’akwerabira.

Sulaiman Kitaka, Mengo S.S: Essimu mbi nnyo eri omuyizi kubanga ziremesa abaana okusoma. Abasinga mu kifo ky’okusomerako bajja kudda mu kuyigirako mize mikyamu egibeera ku yintaneeti. Omwana bw’otomugenderera nnyo weekanga ttaamu eweddeko nga talina ky’ayizeeyo okuggyako bye yeenoonyeza ku yintaneeti ebitatugasa.

Gloria Nakabugo, Kasubi SS: Okugaana abayizi amasimu kitukosa era nze ndaba ekiseera kituuse batukkirize okugenda nago. Essimu etuyamba okuwuliziganya ne bazadde baffe naddala ng’ofunye obuzibu ku ssomero n’okunyumyako ne mikwano gyaffe.

Angel Namutebi, St. Joseph of Nazareth S.S Katende: Nsaba abazadde n’abasomesa bakkaanye ku nsonga eno, batukirize tutwalenga essimu ku ssomero. Zituyamba okunoonyereza naddala ku bintu bye tusomako mu kibiina ne twongera ku kumanya kwaffe.

Marion Nansirumbi,St. Mary’s Nsumba Mpigi: Ekiseera ky’okutuleka tukwate amasimu ku ssomero kyatuuka dda. Essimu zituyamba okumanya ebigenda mu maaso mu nsi naddala amawulire agabeera ku Facebook, wattsApp ne Twitt

Minisitule y’ebyenjigiriza ewabudde

Omwogezi wa minisitule y’ebyenjigiriza mu ggwanga, Patrick Muinda agamba:
Enkola ya gavumenti eriwo kati, teklkiriza masimu mu masomero kubanga abayizi bagakozesa bubi omuli okukeberako eby’obuseegu n’okukubira bannaabwe nga babatiisatiisa.

Era waliwo n’abantu abasobola okwey-ambisa omukisa guno, ne bakubira abaana amasimu nga babatiisatiisa mu ngeri yonna. Amasimu kye gandibayambye basobola okukiggya ku kompyuta ne mu materekero g’ebitabo. Amasimu malungi naye ebibi byago bingi ku bayizi okusinga ebirungi byago, kale abaana tugira tubaleka

Ebibeera ku masimu nga Facebook bibaako obwonoona abaana. Essimu zisiga emize mu baana ng’okuganza abasajja.
Nooh Kateregga, Nsambya High School: Ekiseera kino tekinnatuuka kuba n’abazadde abasinga tebannamanya mugaso gwa ssimu. Abasinga bazikozesa mu budde obukyamu nga n’abalala bazikozesa mu bukyamu ng’okuzirimbirako.

Mary Mukasa Kalyango, Mengo SS: Ekiseera tekinnatuuka kubanga abayizi tekinologiya bamuguddemu bugwi nga tebannamanya mugaso gwe. Kizibu okusanga omuyizi ng’ali ku ssimu akolerako bya magezi, abasinga babeera ku nnyimba, bifaananyi na kuweereza bannaabwe bu¬baka, ebibamalira obudde.

Mu ngeri endala, essimu nnungi ku masomero kubanga ziyamba abayizi ku mirimu egibaweebwa mu kibiina era oluusi bagenda mu materekero g’ebitabo ne batasangayo bye baagala ne baddukira ku yintanenti okwanguyirwa

 

Amasomero gakkirize abayizi amasimu?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det2 220x290

Famire ekyasattira olwa ssemaka...

Famire ekyasattira olwa ssemaka okubula

Lip2 220x290

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala...

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala ku kyeyo

Sab 220x290

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa...

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa

Fut2 220x290

Akulira kkampuni etwala abantu...

Akulira kkampuni etwala abantu ku kyeyo akwatiddwa lwa kufera

Set1 220x290

Omuyambi wa Museveni bamuloopye...

Omuyambi wa Museveni bamuloopye