TOP

Amasomero galaze bwe galabirira abayizi abalina akawuka ka siriimu

By Musasi Wa

Added 5th April 2015

ABAANA bangi abazaalibwa n’akawuka ka siriimu kyokka bwe balabirirwa obulungi, basoma nabwo ne bakula bulungi.

2015 4largeimg205 apr 2015 102600217 703x422

Bya PROCOPIOS LUMU  NE PADDY BUKENYA

ABAANA bangi abazaalibwa n’akawuka ka siriimu kyokka bwe balabirirwa obulungi, basoma nabwo ne bakula bulungi.

Abaana bano balina okulabirirwa nga bamira eddagala lyabwe mu biseera ebituufu n’okulya emmere erimu ebiriisa byonna omubiri bye gwetaaga. Ekyebuuzibwa, amasomero galabirira gatya abaana abalina akawuka kano? Abaana bano babafunira akadde mwe bamirira eddagala? Babaliisa bulungi?

Ye abazadde batwala obuvunaanyizibwa okutegeeza abatwala es¬somero nti abaana baabwe balina akawuka? Bukedde Ku Ssande atalaaze amasomero ag’enjawulo, abagatwala ne balaga engeri gye balabiriramu abaana bano:

w’essomero lya Clever's Origin Ju nior School Kitintale: Abayizi abalina obulwadde ebiseera ebisinga tubalaba naye olw'okuba omuzadde abeera teyakugamba kituzibuwalira. Kyokka waliwo abazadde abatubuulira ekituu¬fu, era tutegeeza metulooni n'amanya embeera y'omwana era n'akubiriza omwana oyo okumiranga eddagala mu biseera ebituufu aleme kufuna buzibu.

Tulina eddwaaliro mwe tujjanjabira abaana bonna kyokka singa omwana oyo alina akawuka afuna obuzibu, tuy¬ita mangu omuzadde n'amutwala mu ddwaaliro gy'amujjanjabira bulijjo.

Tukubiriza abazadde okututegeeza buli ekifa ku mwana kubanga ffe tusinga okubeera nabo ebiseera ebisinga. Ate waliwo embeera enzibu omuzadde n'akisa omwana n'atamugamba nti mulwadde kyokka n'amuwa eddagala ate olumu abamu babalimba nti empeke z'amuwadde zimuyamba kufuna magezi kyokka ng'amira ARVs.

Kino kyabulabe eri omwana era tusaba abazadde basale amagezi okulaba nga bafuna engeri gye babuuliramu abaana ekituufu baleme kumira ddagala nga tebamanyi kubanga kiteeka obulamu bwabwe mu buzibu.

Micheal Funda akulira ebyenjigiriza ku St. George High School Wakiso - Kasengejje: Abayizi abalina akawuka tubalina kyokka abazadde n’abaana abasinga bakyatya okutubuulira era kye kimu bizibu bye tusanga.

Ng’essomero, twakizuula nga tetulina ngeri gye tuyinza kusosolamu baana kubanga nabo bantu era tetwagala kubasalira musango. Mu mbeera eno, tubabuulirira n’okubagumya ssaako okubawa essuubi era ne tufuba okulaba nga bamira eddagala mu biseera ebituufu.

Kyokka waliwo lwe tulaba ng’omuyizi amize eddagala naye nga tali mu mbeera nnungi nga tayagala na kudda waka. Wano twogera n’abafumbi ne bamukyu¬siza emmere okutuusa lw’atereera naye nga kino tekibeera kya buli lunaku. Tusaba abazadde okubeera abalambulukufu batubuulirenga obulwadde bwonna obutawaanya abaana baabwe kubanga ffe tusinga okubeera

Agnes Akwir akulira St. Janan Luwum SSS Kabala¬gala: Bwe tuba tuwa abayizi ebifo, tusooka kukebera bayizi musaayi era bwe tuzuulamu alina akawuka, tuyita bazadde be ne twogera nabo ku kiki kye tuyinza okukola. Olwo tuleeta bakansala okubabudaabuda emitima oluvannyuma ne tubateeka ku ddagala.

Tutwala obuvunaanyizibwa okulaba ng’omuyizi amira eddagala mu budde.Tulina abaana abaatandika edda okumira eddagala era buli mwezi bagenda mu ddwaaliro okulifuna n’okubakebera okulaba obulamu bwabwe bwe buyimiridde.

Waliwo abayizi be tu¬funa wano nga baabagoba mu masomero amalala olw’okuba amasomero ago gaazuula nti balina akawuka. Tusaba amasomero gakomye okugoba abaana olw’akawuka kubanga baba tebaakyeyagalira. N’abazadde mube beerufu mutegeeze abasomesa embeera abaana bammwe gye balimu ku bulwadde.

Augustine Mayanja omumyuka w’omukulu w’essomero lya Kiddawalime Preparatory School Namungoona: Embeera we yatuuka, tosobola kubeera na ssomero nga temuli mwana alina kawuka kano. Ffe ng’essomero singa tukizuula oba omu¬zadde n’atutuukirira mu buntu n’atutegeeza nti omwana alina akawuka, tutwala obuvunaanyizib¬wa okulaba ng’omwana oyo amira eddagala lye mu budde. Obuzibu bwe tulina, abazadde abamu kino bakitukweka kyokka abaana ne babateeka ku ddagala nga tebatutegeezezza. Wano naffe kitukaluubirira okukubiriza omwana okulimira kubanga tuba tetumanyi bw’ayimiridde ku kawuka.

Angello Kaaya, akulira essomero lya Andello Infant School Kammengo:
Abazadde abasinga bakikuuma nga kyama kyabwe tebakibuulira basomesa wadde abayizi. Ku bayizi be nnina abasoba mu 500 tewali muzadde yali avuddeyo butereevu n’atutegeeza.

Kye mmanyi, abazadde abamu bw’aba atidde nti abasomesa bayinza okukozesa omwana we emirimu gy’atasobola, bantuukirira ne bahhamba nti omwana wange alinamu ekirwadde munda ekimutawaanya temumuyisa obubi.

Naye ekyo abaazadde bakola kikyamu okukweka obulwadde buno kuba ffe ng'essomero tetunnafuna musawo wa ku ssomero era ababa balwadde tubatwala ku ddwaaliro ly’e Ggoli erituliraanye ekiyinza okuleetawo obulabe nga tuluddewo okumu¬tuusaayo olw’okuba tuba tetumanyi nti alina akawuka. Oluusi tuba tulowooza nti musujja ne tumuwa amakerenda.

 

Amasomero galaze bwe galabirira abayizi abalina akawuka ka siriimu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Troubled 220x290

Oulanya agugumbudde abazadde abataweerera...

Omumyuka wa sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanya agugumbudde abazadde abeesuuliddeyo ogwa nnaggamba okuweerera abaana...

Young 220x290

Abalokole batadde Gavt. ku nninga...

ABASUMBA b’abalokole batadde gavumenti ku nninga okubawa layisinsi ezibakkiriza okugatta abagole wabweru w’ekkanisa....

Kolayo 220x290

Bayisizza bajeti ya bukadde 200...

ABASUUBUZI mu Kikuubo ne Nabugabo bakungubagidde maama w’omugagga Moses Kayongo nnannnyini Mt. Zion Hotel esangibwa...

Kola 220x290

Agambibwa okubba kasooli bamukubye...

ABASERIKALE ba LDU baliko omuvubuuka gwe bakutte lubona mu lusuku ly’omutuuze ng’abba kasooli ne bamukuba amasasi...

Okutulugunya abakyala kweyongede...

Joan Nakilanda nga ono Alina emyaka 21 yafumbirwa nga alina omyeka 17 era nazala omwana we asoka neba. Oluvanyuma...