TOP

Engeri gy'oyigiriza omwana okukola mu luwummula

By Musasi wa Bukedde

Added 6th September 2018

Akware muyizi mu kibiina kyakubiri wabula mulunzi wa nkoko era musanyufu kuba bw'ayagala okulya ku nkoko atoola ku zize ate ng'afunamu ne ku ssente.

Akwarewebuse1 703x422

Akware ng'alongoosa ebinywerwamu enkoko z'alabirira mu luwummula

Bya Stella Naigino

Isabella Akware, muyizi ng’asoma mu kibiina kyakubiri, naye okwawukanako ku baana abalala mu luwummula Akware abeera alabirira nkoko ze.

Eky’okulabirira enkoko yakirabira ku nnyina omulunzi w’enkoko era buli bwe yamulabanga ng’agenda mu nkoko nga naye amugoberera ekyalaga nti yali yeegomba nnyina kye yakolanga.

Bwe yakula n’atandika okusoma, yasaba nnyina amuwe enkoko ento azirabirire era kino maama we kyamusanyusa n’amuwaayo enkoko z’alunda mu luwummula.

Akikola atya?

Buli ku makya, azuukuka, n’azikeberako nga tannateekateeka kuziwa mmere. Bw’amala okulaba bwe zaasuze, ng’olwo ateekateeka okuziwa ekyokulya n’amazzi era alongoosa bulungi ebiriiro n’ebinywero byazo nga tannasaamu kintu kyonna.

Bw’amaliriza okuziwa ekyokulya ng’azitunuulira alabe bwe zilya sikulwa ng’ezimu tezirya kuba olwo lw’amanya ennamu n’ezirina obuzibu.

Bw’alaba enkyukakyuka mu nneeyisa yaazo, ategeeza nnyina ne basalira wamu amagezi okulaba nga ziwona bwe ziba endwadde.

Akware alunda enkoko eza Kuroiler era ng’agamba nti afunamu ssente n’atereka era ng’omwaka guggwaako, agulamu ebirabo n’agabana ne banne.

Akware agamba nti, enkoko zino era oluusi zibayambako ku nva awaka kuba tekikyabeetaagisa kugula nkoko.

 kware enkoko azirabirira nga mwana era amanyi nokuzeekebejja Akware enkoko azirabirira nga mwana era amanyi n'okuzeekebejja

 

Abakugu boogera:

Lydia Nyesigomwe, dayirekita wa Parenting Uganda agamba nti, oluwummula lukyaliko era abazadde, banyiikire okukubiriza abaana okwetaba mu mirimu egy’enjawulo awaka wadde tegivaamu ssente.

Kino kiyamba omwana okukula ng’alina obuvunaanyizibwa era kimuyamba okulaba ensi mu ngeri ey’enjawulo.

“Emirimu naddala egy’okulunda mirungi era omwana akula amanyi nti si mirimu gya bataasoma. Ne bw’oba tolina nnimiro oba byakulunda, omwana mutwaleko mu kyalo alabe bwe balima ne bwe balunda.

Ronald Balisanyuka, omukulu w’essomero erimu e Mukono agamba nti omuzadde yaalibadde akubiriza abaana okwenyigira mu mirimu gy’awaka olwo abakozi ne bawummula.

“Nga tonnagenda ku mulimu, abaana bawe eby’okukola era bw’okomawo manya oba buli omu akoze ekyo kye walese omulagidde. Kino kibayamba okumanya nti, buvunaanyizibwa bwabwe okukola emirimu nga bali awaka, ate mu dda tomanya nteekateeka za Katonda ayinza okuyitira mu ekyo ne yeekulaakulanya,” Balisanyuka bwe yagambye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono