TOP

Abaana basinga kuyigira ku bikolwa bya muzadde

By Musasi wa Bukedde

Added 16th April 2019

Abaana basinga kuyigira ku bazadde mu bye boogera ne bye bakola.

Sylviakusasirawiththefatherrevelandrichardmuwanguziwebuse 703x422

Rev. Richard Muwanguzi ne muwala we Sylvia Kusasira buli omu yeenyumiriza mu munne era basanyufu.

Bya Stella Naigino

Abaana abamu bafuna emize abazadde gye banenyeza abasomesa ku masomero ne batamanya nti be basooka mu kubayigiriza nga  bayita mu bye boogera n’e bye bakola.

Abakugu mu by’abaana bagamba nti, omuzadde oba omuntu yenna abeela n’abaana alina okwegendereza ebintu by’akola, by’ayambala  ne by’ayogera nga waliwo abaana.

Paul Nyende, omukugu mu by’abaana agamba nti omwana buli lw’alaba omuzadde nga yeeyisa mu ngeri yonna amanya nti naye asobola okweyisa bw’atyo naye ng’amukoppa.

Ensonga lwaki osaanye okweyisa obulungi mu baana

  1.  Kiwa omwana engeri entuufu ey’okweyisaamu. Omuzadde buli lw’akola ebintu ebirungi eri omwana we, omwana amwenyumirizaamu era n’akola ebintu abalala bye basiima. Kino kimuleetera okusiimibwa abo b’abeeramu era omwana oyo ne yeenyumiriza mu bazadde be.
baana abemyaka nga gino bakwata buli kye balaba ne kye bawulira ano usa ukiibi artha ansamba illian antaba ill umwine ichard ukambwe ne ohnson wire nga basanyufuAbaana ab'emyaka nga gino bakwata buli kye balaba ne kye bawulira. Wano Musa Mukiibi, Martha Nansamba, Lillian Nantaba, Bill Tumwine, Richard Mukambwe ne Johnson Bwire nga basanyufu.

 

  1.  Omwana wo omwenyumirizaamu. Ronald Balisanyuka, akolagana n’abaana agamba nti omuzadde aliwo nga kabona eri omwana era nga buli lwe yeeyisa obulungi n’alagira omwana okukola kye kimu mu bantu omwana akopa ekyo kyennyini.
  2.  Omwana ono eneeyisa ye emuyamba okukola emikwano emirungi era n’akola ebintu ebisanyusa omuzadde. Kino kiwa omuzadde essanyu.
  3.  Omwanawo tatera kufuna bizibu.

Balisanyuka agamba nti, ebiseera ebisinga abaana abeeyisa obulungi tebafuna buzibu era nga lwe babufuna buli omu afaayo okumanya kwe kivudde. Naye abaana abakopperera emize okuva mu bye balaba mu bazadde, bafuna obuzibu. Bano be bagobwa mu masomero, be beegatta mu bibinja ebimenyi by’amateeka ne basibwa n’ebirala.

sylvia Kusasira with the father Reveland Richard Muwanguzi

Omwana owe mpiisa ayagalwa baane(Musa Mukiibi Martha Nansamba Lillian NantambaBill tumwine Richard Mukambwe ne Johnson Bwire_.JPG

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Unit8 220x290

Enjawulo etabudde Aganaga ne Chris...

NGA tegunnawera mwaka ng’abayimbi Aganaga ne Chris Johnz batadde emikono ku ndagaano ey’okukolera awamu, baawukanye...

Gd1 220x290

Omugagga Ham ne Kirumira banaazizzaako...

Omugagga Ham ne Kirumira banaazizzaako Sheikh Muzaata ennaku ya January

Kanta 220x290

‘Muntaase ku baana bange abanzibako...

OMUKADDE ow’emyaka 93 atabuse n’abaana be ng’abalumiriza okubeera mu kkobaane erimugoba ku ttaka lye balyeddize....

Bonnyjpgweb 220x290

Abadde ayanula engoye z'abatuuze...

Bonny Tamale omutuuze w'oku Kalerwe Kiggundu Zooni y'asimattuse okuttibwa abatuuze b'e Bwaise oluvannyuma lw’okumusanga...

Agende 220x290

Kkooti egobye egimu ku misango...

KKOOTI y’e Nakawa egobye omusango gw’obuyeekera ogwali gwaggulwa ku basajja 14 abagam- bibwa nti beenyigira mu...