TOP

Omwana muyigirize omulimu gw'okola aleme okukumenya ng'akuze

By Musasi wa Bukedde

Added 10th September 2018

Omwana wo muyigirize omulimu gw'okola akuyambeko ne bw'oba toliiwo oleme okumenyeka

Zam2webuse 703x422

Precious ng'atunga ku kyalaani kya maama we

Bya Stella Naigino

Abazadde abasinga bwe baba bakola emirimu egy’ebyemikono, tebafaayo kugiyigiriza baana okuggyako okulaba nga banoonya ssente ezibayimirizaawo n’okubasomesa  bayige ebyo eby’emirimu gy’omu ofiisi. Kino abamu balowooza kubeera kubonyabonya baana baabwe wabula nga kibayamba kubasibirira ntanda kuba basobola okubiyiga ne babikola ne bafuna ssente ezibayamba ne ku bisale by’essomero.

Precious Zam, abeera ne bazadde be e Kawempe - Kazo asoma kibiina kyamusanvu, y’omu ku baana abaagala bazadde baabwe kye bakola era ng’akyenyumirizaamu.

Zam agamba nti, maama we buli lwe yasambanga ekyalaani nga tava w’ali era nga bw’akivaako nga ye akiddako okwegezaamu.

recious ngalaga akasawo kosobola okussaamu essimu kamaze okutungaPrecious ng'alaga akasawo k'osobola okussaamu essimu k'amaze okutunga

 

Maama we bwe yakimanya nti muwala we ayagala okuyiga ekyalaani yamuyigiriza era kati Zam, asambira ddala ekyalaani ng’asobola okutunga obusawo obutono obubeeramu ekkalaamu ze, oba bw’oyinza okussaamu essimu n’obwa Bayibuli era asuubira bw’aneeyongera okukisamba ajja kutungira ddala n’okusinga nnyina.

By’atungamu

Zam akwata obugoye maama we bw’asala ku ngoye za bakasitoma n’atunga ebintu bye era nga bw’amala agenda nabyo ku kkanisa era ng’eno gy’abitunda.

Bakasitoma be beeyongera buli kiseera anti balaba omwana omuto okubeera ng’aliko ky’akola tekisangika era nga bamuwagira okumuzzaamu amaanyi.

 recious ngalaga akasawo koteekamu ayibuli yo ke yatunze Precious ng'alaga akasawo k'oteekamu Bayibuli yo ke yatunze.

 Abakugu bawabula

Abakugu bagamba nti, ebintu nga bino biyamba okuggula n’okugaziya obwongo bw’omwana n’asoma ng’amanyi nti emirimu bwe girema abeerako ne ky’asobola okukola n’afuna ssente.

Rehema Kyampire, omukugu mu by’abaana agamba nti abazadde balina okwettanira okuyigiriza abaana baabwe emirimu egy’emikono  baleme kubatwala ku masomero kusoma kyokka.

“Omwana buli lw’akulaba ng’okola ekintu olumu abeera akyagala era kikukakatako ng’omuzadde okumuyamba n’omuyigiriza,” Kyampire bw’agamba.

Fagil Mandy, omukugu mu byenjigiriza agamba nti mu kino abazadde balina okutunuulira ebitone by’abaaba baabwe era babisseeko essira n’okubayamba okubikuza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embuutu1 220x290

Ekivvulu ky’Embuutu y’Embuutikizi...

Buli ayingira mu Mbuutu y’Embuutikizi ajja kuvaayo n’ebirabo.

Kapyata1 220x290

Baminisita b’e Mmengo babayiyeemu...

BAMINISITA ba Kabaka baayiriddwaamu emmotoka ensajja okubanguyiza emirimu gy'Obwakabaka. Kyategeezeddwa nti emmotoka...

Hoima 220x290

Amasasi ne ttiyaggaasi binyoose...

POLIISI yakubye amasasi ne ttiyaggaasi okugumbulula abawagizi ba Asinansi Nyakato avuganya mu kalulu ku kifo ky’omubaka...

Lukwago1 220x290

KCCA egobye abakulira akatale k’e...

OLUKIIKO olufuga ekibuga Kampala lwongedde okuluma. Lugobye ssentebe w’akatale k’e Wandegeya Jonathan Gitta ne...

Mbuga1 220x290

Abavunaana SK Mbuga babawadde nsalessale...

Ayolekedde okuyimbulwa ssinga babulwa abajulizi