TOP

Omwana muwe omusingi ng'omuyigiriza okwekolera

By Musasi wa Bukedde

Added 17th October 2018

Vivian Nassuuna ku myaka mukaaga yeetegekera ebikozesebwa ku ssomero buli lunaku ng'avudde ku ssomero. Alaga bw'ayita mu kawungeezi ke ate ng'afuna n'obudde obuzannyamu.

Webuse1 703x422

Vivian Nassuuna ng'akuba eddagala ku ngatto ze z'asomeramu

Bya Stella Naigino

Ennaku zino abazadde bajjumbidde okukozesa abakozi abasuubirwa okukola buli kimu awaka ne battira abaana ebiseera byabwe eby'omu maaso.

Wabula abakugu bagamba nti, ky’ekiseera abazadde bakubirize abaana baabwe okwefaako nga bakyali bato kubanga wadde omukozi asasulwa, alina okuyambibwako n’okuwa omwana wo omusingi omugumu ogunaamuyisa mu nsi muno nga takaluubiriziddwa.

Vivian Nassuuna, ow’emyaka mukaaga nnyina yamuyigiriza okwefaako era oluva ku ssomero, awummulamu katoni olwo n’atandika okutegeka ebintu bye ebinaakola enkya ng’agenda ku ssomero.

 assuuna nga yeetegeka okukola omusomesa byamuwadde okukolera awaka Nassuuna nga yeetegeka okukola omusomesa by'amuwadde okukolera awaka.

"Bwe ntuuka awaka, nsooka ne ndya ku mmere olwo ne mpummulamu nga sinnatandika kutegeka yunifoomu yange n’engatto ze naakozesa enkya nga ng’enda ku ssomero," Nassuuna annyonnyola.

"Bwe mmaliriza okuwummulamu olwo ntandika okubitegeka era nga yunifoomu yange ngiwa Auntie annyamba okugigolola era bw’amala n’agimpa ne ngiteeka mu kifo we naagisanga ku makya.

Ekyo nga nkimaze, ntandika okulongoosa engatto zange, ne nzikubako eddagala era nazo ne nziteeka we nsobola okuziraba amangu ku makya.

Ntegeka ensawo yange n’ebitabo, akasenya era nga mmalirizza olwo ng’enda ne nzannya ne bato bannange nga bwe nneetegeka okunaaba ndye ekyeggulo nneebake,” Nassuuna bw’anyumya.

 assuuna ngategekla ensawo ye gyatwala ku ssomero Nassuuna ng'ategeka ensawo ye gy'atwala ku ssomero.

Ssenga wa Nassuuna, Sharifah Kayondo omu ku abo ababeera ne Nassuuna agamba nti kino bakikola okuyigiriza omwana nti wadde waliwo omukozi, alina okweyamba.

Bw’amaliriza okubitegeka, tubikebera ne tukakasa nti buli kimu akikoze nga bwe kirina okubeera era ne tumuwaana okumuzzaamu amaanyi.

Abazadde  abasinga kino bakiyita kubonyabonya naye watya nga tolina mukozi ate ng’oli mulwadde, kitegeeza nti omwana tajja kusobola kweyamba era aba taasome.

 assuuna ngamalirizza okwambala yunifoomu agende ku ssomero Nassuuna ng'amalirizza okwambala yunifoomu agende ku ssomero

Lydia Nyesigomwe, dayirekita wa Parenting Uganda, agamba nti abazadde balina okukuza abaana nga baabuvunaanyizibwa okusobola okwebeezaawo omuzadde w’atali.

“Omwana mukolere nga bw’omuyigiriza, ate bw’akola ekirungi, muzzeemu amaanyi agaddamu okukola ekisingawo. Ne bw’akola n’atakola bulungi, tomukuba wabula faayo okumanya lwaki takoze bulungi era omubuulire bw’abadde alina okukikola.

Kino kijja kutuyamba okukuza abaana nga bagunjufu ddala era nga bafaayo. Naawe bw’oba toliiwo tojja kubeera mweraliikirivu kuba omwana wo wamutendeka,” Nyesigomwe bw’amaliriza.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kazimba8webuse 220x290

Ssaabalabirizi omulonde Dr. Stephen...

Ssaabalabirizi omulonde, Dr. Stephen Kazimba asuubizza okusigala ng'assa ekitiibwa mu Bwakabaka bwa Buganda

Embuutu1 220x290

Ekivvulu ky’Embuutu y’Embuutikizi...

Buli ayingira mu Mbuutu y’Embuutikizi ajja kuvaayo n’ebirabo.

Kapyata1 220x290

Baminisita b’e Mmengo babayiyeemu...

BAMINISITA ba Kabaka baayiriddwaamu emmotoka ensajja okubanguyiza emirimu gy'Obwakabaka. Kyategeezeddwa nti emmotoka...

Hoima 220x290

Amasasi ne ttiyaggaasi binyoose...

POLIISI yakubye amasasi ne ttiyaggaasi okugumbulula abawagizi ba Asinansi Nyakato avuganya mu kalulu ku kifo ky’omubaka...

Lukwago1 220x290

KCCA egobye abakulira akatale k’e...

OLUKIIKO olufuga ekibuga Kampala lwongedde okuluma. Lugobye ssentebe w’akatale k’e Wandegeya Jonathan Gitta ne...