TOP

Manya omwanawo ky'ayagala omukuze mu mbeera ennambulukufu

By Musasi wa Bukedde

Added 15th March 2019

Obutamanya mwana ky'ayagala kivaako okukula nga mumenyi w'amateeka

Okumutambuzakokikuleteraokumanyabyayagala2webuse 703x422

Omwana ng'akola omulimu gwe awaka, kino kisoboka ng'omuzadde amuwa obudde.

Bya Stella Naigino

Ennaku zino abazadde bakola ne beerabira n’obuvunaanyizibwa bw’abaana baabwe be balekera abakozi ekikosa omwana.

Wabula abakugu bagamba nti ky’ekiseera abazadde batandike okuwa abaana baabwe obudde olwo basobole okubafunamu.

Lydia Nyesigomwe, omukugu mu by’abaana agamba nti abazadde ennaku zino bettanidde okubeera ku mikutu gya yintaneeti egibatwalidde ebiseera olwo ne baleka abaana nga bali n’abakozi abatabazimba.

Kino kivaako abaana okukola ebyo ebibasanyusa, ng’omuzadde bwatafaayo omwana amwonoonekako era ng’okumukyusa okukola ekimugwanidde ng’omwana kikaluba.

Ekirala, omuzadde buli lw’amala obudde n’omwana we amanya ky’ayagala ne kyatayagala, n’amanya embeera ze ezimwawula ku baana abalala n’engeri y’okumukwatamu.

Lynette Apondi, naye akola mu baana agamba nti tekikola makulu muntu yenna kuzaala nga tajja tufuna budde kulabirira oyo gw’azadde.

Akubiriza abazadde okukola ennyo naye ate buli kimu bakiwe obudde. Abaana babeere n’obudde bwabwe n’emirimu gyabwe emirala bagiwe obudde.

Omuzadde yenna alina okufuna ekiseera azannyeko n’abaana era abatwaleko ne mu bifo eby’enjawulo okubasanyusa.

Ekibaleeta nabo okukola ebyo ebisaanidde n’okuwuliriza by’obagambane bakula nga balambulukufu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lib2 220x290

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka...

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka kutwala ssabawolereza wa Gavumenti mu kkooti

Web 220x290

Nnaalongo akubye omwana wa muggya...

OMUKAZI atuze omwana wa muggya we n’amutta poliisi n’emutaasa ku batuuze nga baagala kumugajambula.

Kit2 220x290

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa...

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Hip2 220x290

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa...

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte