TOP

Engeri gy’okwata omwana ayaayaana okumanya

By Musasi wa Bukedde

Added 9th April 2019

Engeri gy'ozuula n'okuyamba omwanawo okumanya n'osobola okugaziya n'okuzimba obwongo bwe ng'akula.

Curiosity1webusebig 703x422

Omwana Jephins Kizito nga yekkaanya ekikoola

Bya Prossy Nababinge 

Maama, Katonda y’ani? Amazzi gava wa? Mpita wa nga njagala okugenda mu Ggulu? Bye bimu ku bibuuzo abaana bye babuuza abazadde olwo bbo ne basigala nga beewuunaganya abaana bano kye basinziddeko okubibuuza sso ng’abalala babinyigiramu.

Mwattu okumanya tekuggwaayo era nga bwegutyo bweguli mu baana abato anti buli lukya ekintu ekipya kyeyongera ku kumanya kwabwe. Ng’oggyeeko endabika ennungi n’obulamu obweyagaza, omwana okugaziya obwongo kabeera kabonero nti akula bulungi.

Era mu kifo ky’okutunula kyamuli olw’ekibuuzo omwana ky’akubuuzizza oba okubinyiigiramu, waliwo engeri ez’enjawulo z’osobola okuyamba omwana wo.

Rogers Kakaire, omusomesa mu Yudesi Primary School agamba nti omwana ateebuuza ku muzadde oba omusomesa we kw’ebyo ebibeera bimukaluubiriza oluusi teyeeyongera ku kumanya era asigalira emabega.

muto ephins izito abuuza kitaawe lwaki emmotoka ye tebagiteekamu mafutaOmuto Jephins Kizito abuuza kitaawe lwaki emmotoka ye tebagiteekamu mafuta?

 

Agamba nti, omwana ayaayaana okumanya abeera musanyufu kubanga buli lukya ekintu ekipya kyegatta kw’ebyo by’amanyi era ng’omuzadde okusobola okukwata obulungi omwana ono okulaba ng’ate tamumalaamu maanyi. Alina okubeera omwetegefu okwogerezeganya n’omwana we, okumuwa obudde n’okumutuusaako ebyo bye yeetaaga okumanya mu kunoonyereza kwe.

Engeri gy’oyamba omwana okwagala okumanya

Kakaire agattako nti, waliyo n’abo abatayagala kugaziya kumanya kwabwe nga bakiraba ng’ekibakaluubiriza. Omwana ow’ekika bwekiti naye yeetaaga okuyambibwa asobole okukula nga mugezi era omumanyi mu nsi eno ekulira ku misinde.

Kino, ng’omuzadde, osobola okukituukako ng’okola bino:

1. Gabana n’omwana wo ekintu ekipya ky’oyizeeyo ku lunaku olwo. Kino kiwa omwana omulimu ogw’okuzuulayo ekipya naye asobole okukigabanako ne muzadde we, mu mbeera eno, obwongo bw’omwana busigala bwokya buli kiseera.

 muto nga yeekebejja ekimotoka kye kyazannyisa Omuto nga yeekebejja ekimotoka kye ky'azannyisa.

 

2. Tunuulira omwanawo ky’asinga okwagala, wadde nga gwe ebiruubirirwa byo eri omwana wo biyinza okwawukanamu n’ebibye. Kakasa ng’ate essira osinga kuliteeka ku kumuyamba okuyiga ebintu ebyo ate ye by’asinga okwagala era nga kino si kizibu kubanga osobola okumanya omwana wo ky’asinga okwagala okuva mu buto.

3. Omwana wo mukwate mpola, okusinga okumukambuwalira ng’akoze ensobi, muwe obudde akunnyonnyole lwaki ekintu ekyo ky’akoze kiri bwekityo.

4. Mu kunoonyereza kwe, omwana muwe obudde yeezuulire eky’okuddamu eri ebibuuzo bye oba okwesalira amagezi kw’ekyo ky’abeera aliko, kino kimuyamba okugaziya obwongo bwe mu ngeri emu oba endala.

5. Omwana musoye ebibuuzo era omuwe omukisa okukwanukula, kino kimuyamba okukozesa obwongo bwe ng’anoonya eky’okuddamu ekituufu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Firimu 220x290

Eyali asoma obwafaaza alumbye Mbarara...

FERDINAND Lugobe Pike eyabulako akatono okufuuka omusosodooti ayingidde ekisaawe ky’okuzannya Ffirimu.

Rally 220x290

Laba ebbinu eribeera mu mmotoka...

ONOONYA ssanyu lya ku nsi, olina situleesi oba onoonya wa kuliira bulamu.Alina mmotoka gikube ekisumuluzo, owa...

Thumbnailrevmwesigwabyjmutebi5 220x290

Rev. Mwesigwa ebintu bimukyukidde:...

REV. Isaac Mwesigwa poliisi bwe yamukwasa aba famire ye, yalowooza nti ebintu biwedde kyokka ebigambo byamukalidde...

Mze 220x290

Owapoliisi atuuyanye mu gwa Kanyamunyu...

OMULAMUZI Steven Mubiru akiguddeko oluvannyuma lw’omuserikale wa poliisi eyabadde azze okulumiriza Mathew Kanyamunyu...

Bobi 220x290

Mayinja ensi ekulaba - Bobi

Bobi yasabiddwa okwongera okuttaanya ku njawukana eziriwo wakati w'abakulembeze ba People Power ne Ronald Mayinja...