TOP

Ebintu kw'olabira obwongo bw'omwana obukula obulungi

By Vivien Nakitende

Added 11th April 2019

Biibino by'olina okwetegereza okulaba oba omwana wo akula bulungi naddala mu nkola y'obwongo bwe.

Bana41webuse 703x422

Abaana nga bazannya ne bannaabwe

Bya Vivien Nakitende

Obwongo bwe buduumira buli kitundu kya mubiri gw’omuntu okutuukiriza ebikolebwa byonna omuli: okunyiiga, okuseka, okulya, okutambula, okulowooza n’ebirala.

Era bw’olaba omwana ng'asooba mu by’akola oba nga waliwo by'atakola bulungi, oluusi abeera n'ekizibu ku bwongo, kale teri muzadde yandyagadde kulaba mwana we ng'aliko ekizibu ku bwongo, kuba ate ebimu ku bivaako kino, ate biyinza okuziyizibwa, ssinga aba alabiddwa nga bukyali.

Dr. Ritah Nazziwa, omusawo w'abaana mu ddwaaliro e Nsambya agamba nti, omuzadde osobola okulondoola enkula y'obwongo bw'omwana wo, n'omanya oba bukula bulungi.

 baana nga bakunukkiriza ebyokuzannyisa byabwe Abaana nga bakunukkiriza eby'okuzannyisa byabwe

 

Okuva nga omwana yaakagwa ku nsi, kya butonde obwongo bwe butandikirawo okukola, waliwo ebintu ebitandikirawo okweyoleka  nti omwana obwongo bwe bukola bulungi.

1. Okukaaba: Kano ke kabonero akasookera ddala okwoleka obwongo bw’omwana nti bukola. Ssinga omwana takaaba nga yaakazaalibwa, beebo be bagamba nti akooye, kitegeeza n'obwongo buba bukooye, ate obwongo bwe bukoowa, bukooya buli kitundu kya mubiri, kuba buba tebufuna bulungi mpewo ey’obulamu.

2. Okuyonka: Omwana olumuteeka ebbeere mu kamwa, ayasama ekitegeeza obwongo bwe bukola bulungi, ssinga olimuteekako n’ateenyeenya, manya nti waliwo ekizibu n'obwongo bwe.

3. Okubuusa omwana: Omwana bw’omubuusa atya n’akwatibwa ensisi n’awanika emikono mu bbanga ne yeekanga, oluusi n’akaaba, oyo obwongo buba bukola bulungi, bwatafaayo, manya obwongo buliko ekizibu.

4. Okunyweza: Ssinga okwata omwana mu ngalo, naye n'akwata akagalo ko akamu n’akanyweza omanya nti obwongo bukola bulungi, ssinga tafaayo kitegeeza obwongo buliko ekizibu.

5. Okumwenya: Omwana bw’aweza emyezi esatu, atandika okumwenya bw’atakikola wabaawo ekikyamu.

6. Okwekyusa: Ku myezi esatu, omwana aba asobola okuyimusa omutwe gwe n'ekifuba, ate ku myezi ena ng'asobola okukyukira ku lubuto lwe n’adda ku mugongo.

7. Okutuula: Ku myezi ena omwana asuubirwa okuba ng'asobola okutuula ku mubiri, ku myezi mukaaga ng'asobola okutuula wansi nga yeetengeredde, wakati w'emyezi musanvu ne munaana asuubirwa okuba ng'ayavula, ku myezi mwenda kuyimirira, wakati w'emyezi 10 n'omwaka asuubirwa okuba ng'atambula, bino bw'atabikola obwongo bwe bubaako ekizibu.

8. Obulago: Buno bulina okubeera obugumu nga tebulebera ekiraga nti obwongo bukula bulungi.

 mukyala ngazaannyiikiriza omwana we Omukyala ng'azaannyiikiriza omwana we

 

9. Okugaana: omwana  okugaana abantu b'atamanyi, kabonero akalaga nti obwongo bwe bukola bulungi, atayawula obwongo bwe buba bukulampola.

10. Okwogera: Okwogera kabonero akalaga nti obwongo bwe bulamu bulungi, ku myezi esatu omwana asuubirwa okuba ng'avaamu amaloboozi g'okuwuuna, bw'atuuka mu bbanga eryo ng'asirika busirisi omanya nti obwongo buliko ekikyamu.

Ku mwaka ogumu ng'asobola okuyita maama oba taata, bw'asukka omwaka ebigambo bitandika okweyongera ne bisukka mu bigambo mwenda. Ku myaka ebiri ng’agatta ebigambo nti, maama, taata, n’okutandika okukola emboozi ennyimpi. Ssinga asooba mu kwogera wabaawo obuzibu.

11. Enkozesa y’emikono: Omwana bw’aba tannaweza myaka ebiri, tetumusuubira kukozesa mukono gumu, ebiseera ebyo aba tannayawulawo mukono ki gw’alina okukozesa, aba akozesa gyombi mu buli ky’akola, ssinga ayawulako omukono ogumu, wabaawo ekizibu n'obwongo bwe.

13. Okwawula amaloboozi: Ku mwaka gumu n’ekitundu, omwana atandika okwawula amaloboozi g'abantu abamuli okumpi n’abo b’atamanyi, era nga bw’awulira eddoboozi ly’omuntu gw’amanyi asanyuka, awo obwongo buba bukula bulungi.

 mwana akula obulungi obwowngo amanya awokusanyukira ne waakaabira Omwana akula obulungi obwowngo amanya aw'okusanyukira ne waakaabira

 

14. Okugoberera ekintu: Ku myezi mukaaga omwana bw'omusuulira ekintu wansi aba asobola okukirondawo n’engalo ze zonna oba ekikonde, wadde ziba tezinywezezza. Ku mwaka ng'asobola okukirondawo n'engalo ze bbiri ensajja n'egiddirira naye nga tanywezezza, ate bw'asukkawo aba asobola okukinyweza n'engalo ezo ebbiri, kino bw’okiraba manya obwongo buli bulungi.

15. Okuzannya: Kamu ku bubonero obwenkukunala kw’olabira obwongo bw’omwana akula obulungi. Waliwo amatoffaali agakolebwa abaana okuzannyisa, gano ssinga ku mwaka ogumu asobola okuzimbayo emu, n’agenda ng'ayongerako nga bw'akula omanya akula bulungi.

16. Enkozesa y’amaaso: Engeri omwana gy'akozesaamu amaaso ge eraga obwongo bwe oba bukola bulungi oba buliko ekizibu, Ssinga akoppa ebintu ebyo by'alaba naye n’abikola, kitegeeza obwongo bukula bulungi, naye ssinga akitunuulira n’atabaako ky'akola, kiraga obwongo buliko ekikyamu.

 u myaka ngegya bano omwana abeera asobola okukola ekintu ekyamuyigirizibwa nga tajjukiziddwa obwongo bwe bwe bubeera bukula bulungi Ku myaka ng'egya bano omwana abeera asobola okukola ekintu ekyamuyigirizibwa nga tajjukiziddwa obwongo bwe bwe bubeera bukula bulungi

 

17: Ku myaka esatu: Omwana abeera asobola okweyambaza engoye ng’ayambiddwaako.

18. Ku myaka etaano: Aba asobola okukuba ebifaananyi ebirungi ddala ebimuweereddwa, ng’asobola okweyambaza  n’okweyambula engoye, era wano ng’asobola okwawula nti muwala oba mulenzi ng’amanyi n’ennyambala y’abawala n’abalenzi.
       Omwana okuyonka amabeere emyezi omukaaga egisooka nga talidde kintu kirala, afuna ebirungo byonna bye yeetaaga okuzimba obwongo n'omubiri gwe, n’akula bulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nwagi 220x290

Amazina n’ennyambala bizaalidde...

Amazina n’ennyambala Winnie Nwagi bye yayolesezza mu ndongo y'abayizi bimuzaalidde akabasa. Yeetondedde abazadde...

Kaputeeniwacranesonyangongaatonerakatikkiroomujoozigweyazannyiddemumuafcon1webuse 220x290

Abalina ebitone mukozese omukisa...

Abazannyi abalina kye mwekoledde muyambe ne bannammwe okwekulaakulanya nga bwe muteeka Uganda ku maapu

Naabagerekangaasomesaabaanamukisakaatewebuse 220x290

Abazade baakusomesebwa engeri y'okuyamba...

Okutendeka omwana mu Kisaakaate ate n'adda eka ng'abazadde tebamanyi ngeri ya kubalambikamu kubeera nga kwoza n'oyanika...

Yawenemunnengabakongolaenkoko1webuse 220x290

Mu kusala enkoko mwe ntandise bizinensi...

Emirimu gye nayitanga egy'abacaafu n'abataasoma mwe nfunye ssente ezinnyambye okutandika bizinensi endala n'okwetuusaako...

Annotation20190722173519 220x290

Banjoman muto wa Bobi Wine alina...

Banjoman muto wa Bobi Wine alina ke yeekoleddewo