Bya Lilian Nalubega
Nga enteekateeka ez’okutongoza ekisaakaate kya Gatonnya 2020 zigenda mu maaso, abateesiteesi baakyo bali mu kaweefube ow’okutema empenda ez’okulaba nga bamalawo obumulumulu obubadde bweyolekera mu Kisaakaate ebbanga eriyise.

Akulira Nnaabagereka Development Foundation (NDF), Adrian Mukiibi yagambye nti abaana bangi bwe bava mu kisaakaate balemwa okuyambibwako okussa mu nkola ebyo ebiba bibasomeseddwa n’okubuulirirwa okuba kubaweereddwa nga baakuteekawo enkola ey’okukyaza abazadde nabo mu Kisaakaate basomesebwe ku nkwata y’abaana nga bazzeEyo awaka.
“Amangu nga tumaze okumanya ebifa ku baana kumpi wakati mu nnaku z’Ekisaakaate tugenda kuyita abazadde, tujja kubamanyisa ebifa ku baana baabwe era n’engeri ey’okubayambamu tuleme kwoza nga twanika mu ttaka,” Mukiibi bwe yagambye.

Yannyonnyodde nti, Ekisaakaate kisoomoozeddwa n’ebisale by’okukiyimirizaawo ebbanga erya wiiki bbiri ng’abamu balowooza nti ensimbi ezisasulwa abaana ziba zimala ekitali kituufu kubanga ebyetaagisa okuyamba omwana okulabirira atuuke ku bigendererwa bye ziba nnyingi era wano we yasinzidde n’ategeeza nga bwe bakyetaaga abavujjirizi.
Ekisaakaate Gatonnya 2020 kyakutongozebwa nga August 7, omwaka guno ab’essomero lya St. Joseph of Nazareth bakwase aba Hanna International School akabonero k’embuga y’Ekisakaate.

Omulundi guno Ekisaakaate kyakutambulira ku mulamwa ogugamba nti, “Obuntubulamu empagi y’e Nkulaakulana”.