TOP

Engeri y’okwegemamu obusungu

By Musasi Wa

Added 30th March 2012

Abantu abamu bafuna ebizibu olw’obusungu obuyitiridde era abamu be babwereetera ate abalala ne bubaleetebwa.

Bya Samia Nassolo

Abantu abamu bafuna ebizibu olw’obusungu obuyitiridde   era abamu be babwereetera ate abalala ne bubaleetebwa.

Obusungu kintu kizibu nnyo era n’omubaka Isa yakyogerako bwati: Olunaku lumu omutume Yahya yabuuza Isa nti:

“Kintu ki ekisinga obubi oba obuzibu?” yamuddamu nti: “Busungu bwa Katonda.”

Yahya era yaddamu n’amubuuza nti: “Kiki ekisembeza obusungu bwa Katonda?” Isa yaddamu ng’agamba nti: “Obusungu” era yaddamu n’amusaba amubuulire ebireeta n’ebyongera obusungu, Isa yamugamba nti: “Okwewulira, okwagala okuweebwa ekitiibwa n’okugulumizibwa, ekyejo.”

Ebireeta obusungu bingi ng’obutakkaanya mu maka okugeza omwami n’omukyala obutakkiriziganya ku nsonga ezimu ng’omukyala okukola, omwami okudda ekikeerezi, okwewulira n’ebirala bingi.

Eddagala ly’obulwadde bwonna kwe kuggyawo ekiba kibuleese era na bwe kityo eddagala ly’obusungu kuggyawo kiba kibuleese nga kino kikolebwa mu ngeri ez’enjawulo:

1 Okulowooza ku mpeera za Allah: Omuntu bw’alowooza ku mpeera gy’agenda okufuna okuva ewa Allah olw’okukkakkanya obusungu bwe, kimuwaliriza obutanyiiga oba okubaako ky’akola ekinyiiza abalala.

2 Okumanya okugera kwa Allah: Allah ky’aba ayagadde n’asalawo kye kiba.

3 Okusirika: Omuntu bw’aba anyiize kiba kirungi n’atayogera kintu kyonna. Omuntu yenna bw’aba omunyiivu n’ayogera aba ayongera busungu kuba awalirizibwa okwogera by’atandiyogedde ate n’alumya abalala. 

4 Okwesonyiwa n’okussa: Abantu abamu bagenderera okunyiiza bannaabwe naye bwe weesonyiwa ebikolwa byabwe ne bye boogera tewejjusa kuba bye boogera tebikuluma era baba nga abatema ku lwazi.  

Omuntu yenna bw’aba asunguwadde n’assa omukka nga bw’agufulumya kimuyamba okukkakkanya ku busungu.

Omubaka Muhammad,  (S.A.W) yatusomesa engeri z’okukkakkanyaamu obusungu nga ziri mu bikolwa okugeza nga: okutuula bw’oba oyimiridde, okugalamira bw’oba otudde n’okufuna wudhu oba okunaabako nga bwe kiri mu Hadith eno:

“Obusungu bulinga muliro, temulabanga ebisige byammwe nga bigaziye oba amaaso nga gamyuse.

Oyo yenna aba asunguwadde, atuule wansi bw’aba ayimiridde, agalamira bw’aba atudde naye bw’aba nga tawulira nkyukakyuka, afune wudhu n’amazzi agannyogoga oba okunaabako kuba amazzi gazikiza omuliro.” (Bukhari)
 

Engeri y’okwegemamu obusungu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kibowa13webuse 220x290

Abakyala mwekolemu ebibiina mufune...

Abakyala b'e Mukono bakubiriziddwa okwekolamu ebibiina bafune ku ssente za Gavumenti ezitaliiko magoba n'okuwagira...

Acaya1webuse 220x290

Omuyizi akoze mmotoka ne yeewuunyisa...

Omuyizi Francis Ocaya akoze mmotoka ne yeewuunyisa Ababaka ba Palamenti ne bamusuubiza omulimu

Abamukubamusigansimbiabataddemuensimbiokuzimbazikabuyonjongabawayaamunabamukubaanawebuse 220x290

Temusimbira nkulaakulana kkuuli...

Abagirimaani bazimbidde essomero ly'e Ntenjeru kaabuyonjo ey'omulembe

Omulyangogwambabaziogwateeredwaakoebyokoolawebuse 220x290

Ebigambibwa okuba ebyokoola bisasamazza...

Omusaayi ogumansiddwa ku luggi lw'omutuuze nga kuliko ebbaluwa etiisatiisa okufa okumusemberedde bisattizza ab'e...

Abolukiikolwamukonodevelopmentforummdfngabatandiseokukolaemirimugyabwe 220x290

Olukiiko oluyamba Mmeeya okukulaakulanya...

Olukiiko olw'okuyambako Mmeeya w'e Mukono okukulaakulanya ekibuga lusomeseddwa ku nkola y'emirimu gyalwo