TOP

Embaga y'Omulangira Wassajja; Kabaka alabiseeko eri Obuganda

By Musasi Wa

Added 27th April 2013

Enduulu n'emizira bibuutikidde Lubaga ng'Omutanda atuuka ku mbaga y'omulangira David Wassajja.

2013 4largeimg227 apr 2013 173601273 703x422

 

 

 

 

 

Bya Catherine Lutwama

Enduulu n'emizira bibuutikidde Lubaga ng'Omutanda atuuka ku mbaga y'omulangira David Wassajja.

Omukolo gw'embaga y'omulangira Wassajja gugenda mu maaso, era nga wetutusirizzaako bino nga abagole bamaze okukuba ebirayiro byabwe mu Keleziya Lutikko e Lubaga. 


Omulangira Wassajja ng'alamusa Kabaka ne Nabegereka mu Lutikko e Lubaga, Ekif; Martin Ndijjo.

Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ne Nabagereka be bagenyi abakulu era babaddewo ng'abajulizi ng'omugole Nankya Marion alayira okufuuka omuzaana w'omulangira David Wasajja okutuusa okufa lwekulibaawukanya.



Abagole ng'abamema mu keleziya, ekif; Martin Ndijjo.

Ebikonge bingi okuva mu gavumenti y'e Mmengo ne ya wakati bagwetabyeko. Abalangira n'abambejja okuva mu bwakabaka obwenjawulo mu Uganda nabo omukolo bagwetabyeko.


Abalangira Crispin Kiweewa Jjunju ne Khalifan Kakungulu Lukanga bebamu kubawerekedde abagole, ekif; Martin Ndijjo


Abagole baakugabula abagenyi baabwe abayite mu Twekobe e Mmengo.

Abagole nga bafuna ekifaananyi ne Kabaka awamu ne Nabagereka, Ekif Benjamin Ssebaggala.

Kabaka ,Nabagereka n'abagole mu kifaananyi ekyawamu wabweru wa Keleziya, ekif; Martin Ndijjo


Namungi w'abantu abalindiridde abagole n'omutanda wabweru wa Keleziya okuberabirako, Ekif Benjamin Ssebaggala.

Embaga Y''omulangira Wassajja; Kabaka alabiseeko eri Obuganda

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sam2 220x290

Sam Mukasa ayingidde goloofa ye...

Yiino goloofa ya Sam Mukasa eyogeza banne obwama!

8714805438505141082996706452061019224145920o 220x290

Museveni ne Kagame basisinkanye...

Kyaddaaki Pulezidenti Museveni ne mukulu munne owa Rwanda, Paul Kagame beefumbye akafubo ku nsalo ya Uganda ne...

Kasa 220x290

Maama kalimunda tonyiga bbebi ennyindo...

ONO maama kalimunda tatya kunyiga bbebi nnyindo olw’engeri gy’akulukuunya olubuto lwe ku musajja.

Omukyalangaatudde 220x290

Laba byana biwala ebyanywa amata...

Bw’oba otambula, osanga ebyana ebitambulira mu bibinja nga byesaze obugoye obukulengeza ‘waaka’ nga ‘n’ebithambi’...

Firimu 220x290

Eyali asoma obwafaaza alumbye Mbarara...

FERDINAND Lugobe Pike eyabulako akatono okufuuka omusosodooti ayingidde ekisaawe ky’okuzannya Ffirimu.