TOP

Ekyabadde mu kwanjula kwa muwala wa Seroma

By Joseph Mutebi

Added 9th May 2016

Abazadde b’omuwala omukolo baagutaddemu ensimbi ezikunukkiriza mu bukadde 100 ate ab’omulenzi baagutaddemu obukadde 200 nga ebirabo by’abazadde byatikkiddwa ku loole nnya.

Cynthia1 703x422

Abagole Solomon ne Cynthia nga bwe baafaananye

Bya JOSEPH MUTEBI

ABAGAGGA b’omu Kampala Lt. Col Robert Ssekidde owa SEROMA ne William Kajoba owa Sojovalo Hotel bategekedde abaana baabwe omukolo gw’okwanjula mawuuno mwe bayiye obukadde bw’ensimbi.

Omukolo guno gwabadde mu maka ga Lt. Col. Ssekidde e Kisugu , muwala we Cynthia Pretty Nakiranda kwe yayanjulidde munne Solomon Kaziro Kajoba mutabani wa Kajoba nnannyini woteeri ya Sojovalo esangibwa ku Lubaga Road.

 mugole ynthia  ngananye Omugole Cynthia ng'ananye

 

Abazadde b’omuwala omukolo baagutaddemu ensimbi ezikunukkiriza mu bukadde 100 ate ab’omulenzi baagutaddemu obukadde 200 nga ebirabo by’abazadde byatikkiddwa ku loole nnya.

 senga ngagabula omuko olomon enkoko ye Ssenga ng'agabula omuko Solomon enkoko ye

 

Ssentebe w’embaga era ng’akulira ekibiina kya bagagga ba Kwagalana, Godfrey Kirumira yategeezezza nti embaga eteereddwaamu obukadde 500 nga yaakubeerawo ku Serena e Kigo ku Lwomukaaga lwa wiiki eno.

Okwanjula kwetabiddwaako ebikonge bingi okuva mu gavumenti ya wakati, Mmengo, abasuubuzi ab’amannya ssaako ne bannaddiini okuli Ssaabalabirizi eyawummula Mpalanyi Nkoyoyo, omumyuka w’omulabirizi wa Kampala, Hannington Mutebi ssaako Bp. David Kiganda eyakulembedde abasumba b’abalokole.

 musono gwenviiri omugole gweyakoze Omusono gw'enviiri omugole gweyakoze

 

Mmengo yakulembeddwa omumyuka wa Katikkiro owookusattu Apollo Makubuya, Omulangira David Wasajja baminisita, abakulu b’ebika gattako Ssaabawandiisi wa NRM, Justine Kasule Lumumba.

Abasuubuzi ab’amannya mu Kampala abaawerekedde ku Kajoba baakulembeddwaamu Godfrey Kirumira, Joseph Yiga, Ephraim Ntaganda, Dick Kizito, Tom Kitandwe, Agnes Babirye, Rose Kakumba, Amina owa Nakumatt n’abalala bangi.

 aama womuwala ngafuuwa ekkondeere Maama w’omuwala ng’afuuwa ekkondeere.

 

Baayiye ebintu nga bwe bajjuza eddiiro bwe baggyawo ne baleeta ebirala. Mwabaddemu ensawo za ssukkaali 50, ez’omuceere 50, entebe ez’omulembe ng’ekirabo kya taata, ente enzungu n’embuzi, gomesi za bamaama, bajjajja ne bassenga ezisoba mu 100 ne kalonda omulala. Ebintu bino obwedda bisombebwa bakanyama.

 aasita iganda ne bazadde bomuwala aseroma Paasita Kiganda ne bazadde b’omuwala Baseroma.

 

Kirumira yannyonnyodde nti bayise abagenyi 1,500 be bagenda okugabula. Omutimbi wa bukadde 85, omugole omusajja alina emperekeze 10 ng’okwambala kwa kumalawo obukadde 99 ate omukyala n’abantu be obukadde nga 100.

 azadde bomulenzi illiam ajoba nomukyala ku mukolo Bazadde b’omulenzi: William Kajoba n’omukyala ku mukolo.

 

Ebyambalo byaguliddwa Dubai, Bufalansa ne Bungereza. Abagole baakutambulira mu Range Rover Sport ng’okugatta kwakubeera Namirembe.

 eeki eyagabuddwa ku mukolo Keeki eyagabuddwa ku mukolo.

 

 

 mulangira asajja ngabuuza omugagga teven atabaazi Omulangira Wasajja ng’abuuza omugagga Steven Katabaazi.

 

 asule umumba ku kkono mina owa akumatt nomugenyi omulala Kasule Lumumba (ku kkono), Amina owa Nakumatt n’omugenyi omulala.

 

 mugagga uzzahhanda ngakwasa sekidde maapu ya uganda Omugagga Muzzanganda ng’akwasa Ssekidde maapu ya Buganda.

 

 mugagga odfrey irumira ne mukyala we usan Omugagga Godfrey Kirumira ne mukyala we Susan.
 mumyuka wa atikkiro pollo akubuya ngabuuza ku an uliika Omumyuka wa Katikkiro, Apollo Makubuya ng’abuuza ku Dan Muliika.

 

 

 mubaka ate nga muyimbi udith abirye ngasanyusa abagenyi Omubaka ate nga muyimbi Judith Babirye ng'asanyusa abagenyi

 

 asita ilson ugembe ngasanyusa abagenyi Pasita Wilson Bugembe ng'asanyusa abagenyi

 

 muyimbi ilver yagulanyi naye yasanyusizza abagenyi Omuyimbi Silver Kyagulanyi naye yasanyusizza abagenyi

 

 muyimbi ulie uteesaasira asooka ku ddyo ngasanyusa abagenyi ano ssenga yabadde aleeta omuko mu kidaala Omuyimbi Julie Muteesaasira (asooka ku ddyo) ng'asanyusa abagenyi. Wano ssenga yabadde aleeta omuko mu kidaala.

 

 bawala bawaka nga babuuza ku bagenyi Abawala b'awaka nga babuuza ku bagenyi

 

 bawala bawaka nga babuuza ku bagenyi Abawala b'awaka nga babuuza ku bagenyi

 

 muyimbi rene amatovu utaaya ngasanyusa abagenyi Omuyimbi Irene Namatovu Lutaaya ng'asanyusa abagenyi

 

 a anyama nga basitulawo ebintu mu lujja Ba Kanyama nga basitulawo ebintu mu lujja

 

 bimu ku birabo ebyaleeteddwa Ebimu ku birabo ebyaleeteddwa

 

  i am a nursing mother of a 4months baby will it not affect my milk production  Ebimu ku birabo ebyaleeteddwa
 aafuuye obukondeere okulanga omugole nti ajja Baafuuye obukondeere okulanga omugole nti ajja

 

 mugole ngatuuka Omugole ng'atuuka

 



 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ka1 220x290

Carol Nantongo bamukoledde akabaga...

Omuyimbi Carol Nantongo bamusuddeko akabaga k'amazaalibwa n'akaaba olw'essanyu.

Bak1 220x290

Omukazi afiiridde mu dduuka lye...

Omukazi afiiridde mu dduuka lye

Kab2 220x290

Museveni atongozza okugaba bbasalee...

Museveni atongozza okugaba bbasalee Bunyoro

Tum2 220x290

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera...

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera ku kuggala Banka

Rem2 220x290

Bawambye omuwala mu Kampala ne...

Bawambye omuwala mu Kampala ne bamutta