TOP
  • Home
  • Embaga
  • Omwoleso gwa Bride and Groom gucamudde abantu

Omwoleso gwa Bride and Groom gucamudde abantu

By Lawrence Kitatta

Added 25th June 2016

OMWOLESO gwa Bride and Groom gucamudde abalabi nga guggulawo ku Lwokutaano e Lugogo mu kisenge ekipya eky’emyoleso.

Bride1 703x422

Abawaka nga boolesa emisono ku mwoleso gwa Bride and Groom

OMWOLESO gwa Bride and Groom gucamudde abalabi nga guggulawo ku Lwokutaano e Lugogo mu kisenge ekipya eky’emyoleso.

Gwatandise n'ekibiina kya Nankasa ekyabaddemu abaana ababonga ebiwato ng'enje nga bano be bamu ku baasinze okucamula abalabi abeeyiye mu kifo kino okwerabira ku misono gy’abagole egiri ku mulembe egyayoleseddwa mu mwoleso gwa Bride and Groom 2016.

Amazina olwawedde ku ssaawa 7:00 embooko z'abawala abanyirivu ezaabadde zitegekeddwa obulungi ne zirumba siteegi, okutandika okwolesa emisono gya gawuni z'abagole ezaacamudde ennyo abalabi abazze okwerabira ku misono egiri mu mulembe ennaku zino.

 bazinyi nga basanyusa abantu Abazinyi nga basanyusa abantu.

 

Emisono mwabaddemu n’egy’abaana abato egyayoleseddwa omuli; engoye ezitambulako mu bufo obwe bbeeyi okulya ku bulamu n’ezo eziwugirwamu.

Abalabi bangi abazze okwerabira ku misono gy’abagole egyayoleseddwa bazzeeyo bakakasizza era nga n'akamwenyumwenyu kabeetimbye ku matama olw’emisono nti ddala guno omwoleso gw’amaanyi.

Omwoleso guno ogugenda kumala ennaku ssatu gwatandise ku Lwakutaano guggwa leero ku Ssande.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kubaka9 220x290

Obuwanguzi bwa ttiimu ya Uganda...

Obuwanguzi bwa ttiimu ya Uganda ey'okubaka mu bifanaanyi

Illegalgears10 220x290

UPDF ekutte abavubi 17 ku nnyanja...

UPDF ekutte abavubi 17 ku nnyanja Nalubaale e Jinja Mayuge lwa nvuba mbi

Kasubibwafanana1 220x290

Katikkiro Mayiga alambudde Amasiro...

Katikkiro Mayiga alambudde Amasiro g'e Kasubi n'agumya Abaganda

Minisitaruhankanarugundangakwasaugandaekikopo 220x290

Uganda ekoze likodi ng'ewangula...

TTIIMU ya Uganda ey’okubaka esitukidde mu kikopo kya 2018 World University Netball Championship ezibadde ziyindira...

Kasubibwafanana2 220x290

'Abaganda temuggwaamu ssuubi, omulimu...

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga asabye Abaganda obutaggwaamu ssuubi, omulimu gw’okumaliriza Muzibwazaalampanga mu...