TOP

By’olina okukola abagenyi bo banyumirwe omukolo

By Musasi wa Bukedde

Added 29th October 2016

Oyinza okuteekawo bbandi, abazinnyi ab’enjawulo, omwogezi asanyusa ssaako n’ebirala

Nankasa 703x422

Abazinyi nga basanyusa abagenyi ku mbaga.

Bya REBECCAH NANTONGO ne MILLY NAKALEMA

OMUKOLO gw’embaga gunyuma nga guliko abagenyi. Bano beerekereza byonna bye baba nabyo ne bajja okusobola okubasanyukirako ate ng’abasinga bakuwadde n’essente okutegeka omukolo noolwekyo osaanye obategekere mu ngeri ey’ekitiibwa.

Bino by’oyinza okukolera abagenyi bo basobole okunyumirwa omukolo gwo mu ngeri ey’enjawulo.

Bwe kiba ng’abeemikwano n’eηηanda zo batindizze eηηendo okusobola okubeera ku mukolo gwo, balage ki kye kitegeeza gy’oli.

Bw’oba olinawo akasente bategekere obulabo obubaaniriza nga sswiiti, ekyokunywa n’ebirala.

Kino kijja kubawa essanyu okulaba nga obaaniriza mu ngeri eyenjawulo bwetyo. Bw’oba weesobola bateerewo ssente z’entambula ebatwala ku mukolo.

Phiona Ssanyu omutegesi w’emikolo agamba nti oluusi abantu abamu balemesebwa okujja ku mikolo olw’obuzibu bw’entambula.

Noolwekyo kyandibadde kirungi bw’oba osobodde n’oteekawo entambula okusobozesa abagenyi bo okuba naawe musanyukire wamu.

Kakasa nti abagenyi bo bakkalidde bulungi

Kino oluusi kisinziira ku mbeera y’obudde. Kirungi nnyo okukakasa nti abagenyi bali bulungi.

Okugeza kakasa nti tebookebwa musana oba okukubibwa enkuba basobole okusigala nga basanyufu ku mukolo gwonna.

Oyinza n’okussaawo obuzannyo obumpimpi obucamula abagenyi bo. Teekawo ebisanyusa eby’enjawulo

Akaseera koomala ng’oli mu bifaananyi kanyuma nnyo naye abagenyi bo abatabeera mu bifaananyi kiyinza okubawuubaaza.

Daisy Nalule omutegesi w’emikolo agamba nti kirungi okuteekawo ebisanyusa eby’enjawulo ku mukolo kisobozese abagenyi okunyumirwa wamu naawe.

Oyinza okuteekawo bbandi, abazinnyi ab’enjawulo, omwogezi asanyusa ssaako n’ebirala.

Kino kijja kubaleetera okunyumirwa newankubadde ng’okyali mu bifaananyi. Ate era ne bwe muvaayo bano basigala basanyusa abantu.

Bakkirize okusaba obuyimba. Kino oyinza okukikola ng’oyita mu mwogezi w’omukolo n’abagamba okusaba ennyimba ze baagala. Kino kijja kuwa abagenyi essanyu.

Ffa ku bagenyi bo abato. Ssanyu, agamba nti mu bagenyi bo bwe kubaako abaana abato, teekawo embeera ebasoboseza okunyumirwa omukolo gwo. Okugeza bateerewo ebyokuzannyisa ng’ebyesuubo n’ebirala bingi.

Kino kijja kubasobozesa obutawuubaala wamu n’okunyumirwa omukolo. Teekawo abakubi b’ebifaananyi abenjawulo Wa abagenyi bo akakisa beekubise ebifaananyi, ng’obateerawo abakubi b’ebifaananyi. Kino kijja kubayambako okujjukira omukolo gwo.

Basiibule mu kitiibwa Tewali ayagala omukolo ogunyuma okuggwa naye lwakuba nti guteekeddwa okuggwa, kirungi nnyo okusiibula abagenyi bo mu kitiibwa okugeza beebaze okujja, bw’oba osobodde kikole ng’oyimirira ku mulyango ogufuluma osobole okwebaza buli omu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.