TOP
  • Home
  • Embaga
  • Museveni asibiridde muwala wa Brig Nalweyiso entanda y’okuwangaaza obufumbo

Museveni asibiridde muwala wa Brig Nalweyiso entanda y’okuwangaaza obufumbo

By Musasi wa Bukedde

Added 26th December 2016

Museveni yagambye nti abafumbo abakolera awamu basobola okukwatagana obulungi n’okuvuganya nga kino kiyamba okwongera amaanyi mu nfuna yaabwe.

Buganda1 703x422

Okuzaala kujaagaana...Brig. Nalweyiso nga muwala we Gloria amugabula keeki.

BYA TERAH KAAYA

PULEZIDENTI Yoweri Museveni akubirizza abafumbo bulijjo okukolera awamu nti lwe banaasobola okukyusa ku byenfuna by’amaka gaabwe.

Museveni yagambye nti abafumbo abakolera awamu basobola okukwatagana obulungi n’okuvuganya nga kino kiyamba okwongera amaanyi mu nfuna yaabwe.

 aaza ato ye yagasse abagole Faaza Kato ye yagasse abagole.

 

Okwogera bino yabadde ku mbaga ya muwala wa Brig. Proscovia Nalweyiso ayitibwa Gloria Namubiru eyagattiddwa ne Nelson Alfred Okello ow’e Nakabago Mukono mu bufumbo obutukuvu.

Museveni obubaka buno yabutisse Nnampala wa Gavumenti Ruth Nankabirwa nga yabawadde n’ebbaasa okufunamu ente.

 loria ngatema ddansi ngakulembedde kabiite we lfred kello Gloria ng’atema ddansi ng’akulembedde kabiite we Alfred Okello.

Emikolo gyatandise n’okugatta abagole mu Lutikko e Lubaga era Rev Fr. Joseph Mary Kato n’akuutira Okello ne Gloria obufumbo bwabwe babutambuze nga balabira ku Bukedde TV, leediyo n’olupapula lwa Bukedde kuba buli lunaku olukya babeere na bipya mu bulamu bwabwe .

 bagole nga basala keeki Abagole nga basala keeki.

Yagambye nti n’olupapula lwa New Vision lulina amakulu g’okwolesebwa bwe batyo nabo babeerenga n’okwolesebwa okupya mu maka gaabwe.

 ema amakula omu ku baasanyusizza abagenyi ngakulembedde loria nga basala ddansi Rema Namakula, omu ku baasanyusizza abagenyi ng’akulembedde Gloria nga basala ddansi.

Oluvannyuma abagole baasembezza abagenyi baabwe mu kibangirizi kya Bannamakolera e Lugogo nga mu beetabye ku mukolo ye minisita w’amakolero n’obusuubuzi Amelia Kyambadde, omuwanika wa NRM, Rose Mary Namayanja, akwanaganya emirimu mu maka g’obwapulezidenti Nakyobe, omwogezi wa poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi, abasuubuzi b’e Mukono n’abalala.

 amayanja ngalamusa ku bagole Namayanja ng’alamusa ku bagole.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...

Kenzomuzaata 220x290

Fr. Lokodo ayise Muzaata ku by’okujolonga...

MINISITA avunaanyizibwa ku empisa, Faaza Simon Lokodo, ayingidde mu by’omuyimbi Eddy Kenzo ne Sheikh Nuhu Muzaata...

Muza1 220x290

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka...

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka ga Sheikh Muzaata ne bakola efujjo nga bee

Mwana1 220x290

Abafumbo bakwatiddwa lwa kutulugunya...

Poliisi ekutte abafumbo n'ebaggalira lwa kutulugunya mwana.

Mutungo2jpgrgb 220x290

Agambibwa okukuba omuserikale akwatiddwa...

Timothy Lubega 27, ow'e Mutungo akwatiddwa poliisi y’e Mutungo ng'eyambibwako aba LC1 mu kitundu kino. Lubega okukwatibwa...