TOP

Ssaabalangira alaze Abambejja we balagira obukkakkamu

By Musasi wa Bukedde

Added 7th January 2017

SSAABALANGIRA Godfrey Musanje abuuliridde Abambejja bakkakkanyeeko ekitiibwa ky’Obwassebo nga bali mu maka gaabwe kibasobozese okuba abeetowaze eri abaami baabwe n’okunywerera mu bufumbo.

Nassiwa1 703x422

Nassiwa ne Zirimenya nga bamema.

Bya Musasi waffe

SSAABALANGIRA Godfrey Musanje abuuliridde Abambejja bakkakkanyeeko ekitiibwa ky’Obwassebo nga bali mu maka gaabwe kibasobozese okuba abeetowaze eri abaami baabwe n’okunywerera mu bufumbo.

Yagumizza abawasa Abambejja nti bakyala beetowaze era bawulize n’abasaba okubakwata obulungi ng’enjawulo eri ku baana be bazadde, olulyo Olulangira lwe lusooka okubatuuma ag’Ekirangira.

saabalangira usanje ngalamusa abamu ku bazzukulu be Ssaabalangira Musanje ng’alamusa abamu ku bazzukulu be .

 

Okubuulirira kuno, Ssaabalangira Musanje yakwogeredde ku mukolo gwa muzzukulu we, Omumbejja Rose Nnassiwa kwe yayanjulidde bba Joseph Zirimenya mu maka g’omugenzi Omulangira Francis Mawanda e Busoga, Kyamuliibwa mu Kalungu.

Omusika w’oluggya, Joseph Kimera n’omukuza waabwe Gerald Nnakibinge abasibuka mu Ssekabaka Kiggala e Ddambwe be baakyazizza Ssabalangira Musanje.

Abagole ba wiiki

 oseph wanga ne mily akimuli nga bamema mu bimuli bya ahigh emple e isaasi oluvannyuma lwokugattibwa nga ecember 16 2016 Joseph Lwanga ne Emily Nakimuli nga bamema mu bimuli bya Bahigh Temple e Kisaasi oluvannyuma lw’okugattibwa nga December 16, 2016.

 

 oseph utaka akola mu ank of ganda yagattiddwa ne mwana munne oncepta ambejja utaka ku lezia ya ezu abaka mu ampala luvannyuma baasembezza abagenyi baabwe ku oonland ardens e sambya Joseph Mutaka akola mu Bank of Uganda yagattiddwa ne mwana munne Concepta Nambejja Mutaka ku Klezia ya Yezu Kabaka mu Kampala. Oluvannyuma baasembezza abagenyi baabwe ku Moonland Gardens e Nsambya .

 

 sther amirembe yayanjudde mwanamunne avio ogers bosa mu maka ga bazadde be mw nmuky ose alungi ne amuel emugembe e abaale ku bayitababiri ku wokutaano nga ecember 2 Esther Namirembe yayanjudde mwanamunne Savio Rogers Bbosa mu maka ga bazadde be Omw. n’Omuky. Rose Balungi ne Samuel Semugembe e Kabaale ku Abayitababiri ku Lwokutaano nga December 2.

 

 enry sewankambo owe imwanyi mu ira unicipality yagattiddwa ne arah wujo mu kkanisa ya ireka iracle entre oluvannyuma ne basembeza abagenyi baabwe ku reamland arden e amugongo Henry Ssewankambo ow’e Kimwanyi mu Kira Municipality yagattiddwa ne Sarah Awujo mu kkanisa ya Kireka Miracle Centre oluvannyuma ne basembeza abagenyi baabwe ku Dreamland Garden e Namugongo.

 

 r saac ne twine ugisha baagattiddwa omusumba onald akumbi mu kkanisa ya ictory hristian entre mu deeba oluvannyuma ne basembeza abagenyi baabwe e ateete Dr. Isaac ne Atwine Mugisha baagattiddwa omusumba Ronald Makumbi mu kkanisa ya Victory Christian Centre mu Ndeeba oluvannyuma ne basembeza abagenyi baabwe e Nateete.

 

 muyimbi mu kkwaya ya t gnes hoir e ibuyeakindye arriet akayobe yagattiddwa nomukozi wa banka enkulu eya ganda ontiano usiba uteekanga mu lezia ya t gnes e akindye ate abagenyi baabwe ne babasembereza mu kisaawe kya ubiri  gye buvuddeko Omuyimbi mu kkwaya ya St. Agnes Choir e Kibuye-Makindye, Harriet Nakayobe yagattiddwa n’omukozi wa banka enkulu eya Uganda, Pontiano Lusiba Muteekanga mu Klezia ya St. Agnes e Makindye ate abagenyi baabwe ne babasembereza mu kisaawe kya Lubiri SS gye buvuddeko.

 

 ianah amirimu ngamema ne imon tege eefe ssentebe womuluka gwe tikkalu mu ivisoni ye ombe mu akiso gwe yayanjudde mu maka ga bakadde be aul sennyonga e enga mu ivizoni ye ombe Dianah Namirimu ng’amema ne Simon Ntege Teefe, ssentebe w’omuluka gw’e Ttikkalu mu Divisoni y’e Gombe mu Wakiso gwe yayanjudde mu maka ga bakadde be Paul Ssennyonga e Senga mu Divizoni y’e Gombe.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gaba 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUSATU ALIMU BINO...

Tukulaze ebyabaddewo ku by’okuggya ekkomo ku myaka gya pulezidenti mwe baakwatidde abawakanya n’entegeka aba NRM...

Tola1 220x290

Poliisi yeezoobye n'aba DP ng'ebatangira...

ABAKULEMBEZE ba DP okuli Pulezidenti Nobert Mao ne ssentebe w’ekibiina Mayambala Kiwanuka bakwatiddwa n’abavubuka...

Bab1 220x290

Ssentebe w'e Gombolola y'e Ndagwe...

Ssentebe w'e Gombolola y'e Ndagwe aweze ku bakozi ba Gavumenti

Img0486copy 220x290

Kalusha Bwalya ali mu Uganda

OMUKUNGU okuva e Zambia Kalusha Bwalya eyalondebwa okukulira akakiiko ak’abantu abataano abagenda okuyambako FUFA...

Presidentail 220x290

Omuwabuzi wa Museveni aleppuka...

OMUWABUZI wa Pulezidenti omukulu ku nsonga z'ebyobufuzi Yekoyada Nuwagaba aziddwaayo mu kkomera e Luzira olwokusangibwa...