TOP

Bebe kye kiseera nange onkube embaga -Zuena

By Moses Nsubuga

Added 8th January 2017

Bino byabadde ku mbaga ya maneja wa Bebe Cool ayitibwa Joseph Luwaga kyokka nga yakazibwako lya nga Tiktak eyagattiddwa n’omusama Shapiro Mazowe akolera mu Bungereza abaasembezza abagenyi baabwe ku wooteeri ya Sheraton mu kisenge kya Victoria.

Mazowe1 703x422

Luwaga ng’amema n’owuwe. Ku ddyo ye Bebe Cool ne Zuena.

Bya MOSES NSUBUGA

ZUENA akubizza abantu enduulu bw’akutte akazindaalo n’asaba bba, e Bebe Cool okumutwala ewaabwe amwanjule mu bakadde abamuzaala e Rwanda n’e Jinja olwo bwe bavaayo bakole embaga kwe banaayitira abantu buli omu amanye nti bafumbo abateredde abatali mu kawundo akakubye eddirisa.

Zuena Kirema agambye nti bamaze emyaka 15 nga baagalana ne Moses Ssali abangi gwe bamanyi nga Bebe Cool nga balina abaana 5 kyokka tebatuuzangako bagenyi mu lujjudde ne babagabula nga bali ku mbaga eyaabwe kuba gye baasemba okukola yali ya kiyita mu luggya nga teri yagimanya.

 uena ngayogera eri abeetabye ku mbaga nga we yasabidde ebe ool okumukuba embaga Zuena ng’ayogera eri abeetabye ku mbaga nga we yasabidde Bebe Cool okumukuba embaga.

 

Zuena yabuuzizza kalabaalaba w’omukolo Roger Mugisha oba yali alidde ku keeki yaabwe n’amuddamu nti nedda.

Wano Zuena n’asaba Bebe Cool nti mu 2017 bandikoze embaga ne bakung’aanya abagenyi babeeko abajulizi nti bafumbo; omwami n’omukyala.

Bino byabadde ku mbaga ya maneja wa Bebe Cool ayitibwa Joseph Luwaga kyokka nga yakazibwako lya nga Tiktak eyagattiddwa n’omusama Shapiro Mazowe akolera mu Bungereza abaasembezza abagenyi baabwe ku wooteeri ya Sheraton mu kisenge kya Victoria.

Mu kusooka Bebe Cool bwe yaweereddwa omukisa okwogera eri abagole, n’alayira okuwoowa Zuena kuba baagattibwa emyaka 13 emabega mu ngeri eyali ey’amangu nga teri yamanya.

 azowe ngalissa bba keeki Mazowe ng’alissa bba keeki.

 

Wano Bebe Cool we yasinzidde n’ayita Zuena beepimemu mu ntebe y’abagole mwe yeekubisirizza ekifaananyi n’akkaatiriza nti 2017 w’anaggweerako nga bali mukyala na mwami.

Bebe Cool y’oku ku baasanyusizza abagenyi.

Bebe Cool olwavudde waggulu Zuena n’asaba akazindaalo n’agamba nti, “Amazima Moses omwaka guno nange njagala okyaleko mu bakadde bange e Rwanda bwe tuvaayo nkutwale e Jinja oluvannyuma tuwoowebwe mu lujjudde tugabule n’abantu.”

Oluvannyuma abagole baagabudde abagenyi baabwe ne basala keeki n’okusala ddansi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.