TOP

Nnaalongo ku gwe omutima gwange kwe gwasibira- Ssalongo

By Deo Ganyana

Added 5th June 2017

LYABADDE ssanyu jjereere ng’omukozi w’olupapula lwa Bukedde Prossy Nanziri agattibwa mu bufumbo Obutukuvu ne bba Solomon Aaron Muyita omwogezi w'ekitongole Ekiramuzi.

Nanziri1 703x422

Abagole Ssalongo Solomon Muyita ne Nnalongo Prossy Nanziri Muyita

Bya DEO GANNYANA

LYABADDE ssanyu jjereere ng’omukozi w’olupapula lwa Bukedde Nnaalongo Prossy Nanziri agattibwa mu bufumbo Obutukuvu ne bba Solomon Aaron Muyita omwogezi w'ekitongole Ekiramuzi.

Ku ssaawa 6:00 zennyini abagole baayingiddewo nga beevuga mu mmotoka embikkule era essaawa y’okugatta bwe yatuuse omuko era mukulu wa Nanziri, Rev. Fr. Oscar Ssuuna yamututte ewa kabona okumugatta.

 bagole olomon uyita nowuwe rossy anziri ne saabalamuzi art aturebe oluvannyuma lwokubagatta mu kanisa ya ll aints e akasero Abagole Solomon Muyita n’owuwe Prossy Nanziri ne Ssaabalamuzi Bart Katurebe oluvannyuma lw’okubagatta mu Kkanisa ya All Saints e Nakasero.

 

Okugatta kwabadde mu Kkanisa ya All Saints Church e Nakasero era nga baagattiddwa Rev. Canon Geoffrey Byarugaba eyabakubirizza okuwa obufumbo bwabwe ekitiibwa.

 kulira abalamuzi mu ganda olokamu amwine ne mukyala we nga babuuza ku bagole ku mbaga Akulira abalamuzi mu Uganda Yolokamu Bamwine ne mukyala we nga babuuza ku bagole ku mbaga.

 

Ekkanisa yabadde ekubyeko abakozi okuva mu kitongole ekiramuzi abaabadde bakulembeddwaamu Ssaabalamuzi Bart Katureebe, Eyaliko Ssaabawolereza wa Gavumenti Fred Ruhindi, omulamuzi Catherine Bamugemereire n’abalala bangi.

 muko ev r scar suuna ngakwasa mwannyina rossy eri musumba okubagatta mu bufumbo butukuvu Omuko Rev. Fr Oscar Ssuuna ng’akwasa mwannyina Prossy eri Omusumba okubagatta mu bufumbo Obutukuvu.

 

Ate ng’oludda olulala luliko abakozi ba Bukedde abaabadde bakulembeddwaamu akulira empapula z’amawulire ez’ennimi ennansi, Godfrey Kulubya, atuukirwako amawulire ga Bukedde Richard Kayiira Ssaalongo, ow’ebyemizannyo, Kato Kawuma n’abalala.

 bagole saalongo olomon uyita ne naalongo rossy anziri wamu nabaana baabwe ku mbaga Abagole Ssaalongo Solomon Muyita ne Nnaalongo, Prossy Nanziri wamu n’abaana baabwe ku mbaga.

 

Oluvannyuma abagole baasembezza abagenyi baabwe mu bimuli bya Moonland Gardens e Nsambya.

 saalongo olomon ne naalongo we nga beeraga amapenzi Ssaalongo Solomon ne Nnaalongo we nga beeraga amapenzi.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabaka 220x290

Mayiga atongozza olukiiko olutegeka...

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga alagidde akakiiko akagenda okutegeka olunaku lw’abantu ba Kabaka ababeera ebweru...

Lab1 220x290

Omusolo gutabudde aba Takisi bakubaganye...

Omusolo gutabudde aba Takisi bakubaganye katono battingane!

Mariach5 220x290

MC Mariach akiggadde! Kabiite we...

MC Mariach akiggadde! Kabiite we Mirembe Lydia Bogere amwanjudde mu bakadde be

Kaba 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO AFULUMYE...

Tukulaze ebyakoleddwa okumatiza amagye okuyimbula muka Mugabe. Ate agenda okusikira Mugabe bamulagidde annyonnyole...

Mak1 220x290

Buganda esiimye emirimu gya AD...

Obwakabaka bwa Buganda busiimye emirimu gya AD Lubowa