TOP

Embaga ya Messi; nnyina yavuganyizza ne mukamwana

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd July 2017

SSITA wa Barcelona, Lionel Messi, ku Lwomukaaga yakubye muganzi we, Antonella Roccuzzo embaga ku mukolo makekeke ogwabadde mu wooteri ya City Center Hotel and Casin, mu Argentina mu kibuga Rosario, bombi gye bazaalwa.

Messi1 703x422

Messi, Rocuzzo ne mutabani waabwe

SSITA wa Barcelona, Lionel Messi, ku Lwomukaaga yakubye muganzi we, Antonella Roccuzzo embaga ku mukolo makekeke ogwabadde mu wooteri ya City Center Hotel and Casin, mu Argentina mu kibuga Rosario, bombi gye bazaalwa.

Wabula ekyewuunyisizza abantu ye Celia Maria Cuccittini, nyazaala wa Roccuzzo (maama wa Messi) okujja ng'ayambadde olugoye olweru (okukira olw'omugole) nga lujjudde amatiribona g'amayinja, nga yenna amasamasa nga zaabu.

 

Bangi baawuliddwa nga bagamba nti Cuccittini kye yakoze kivve kuba mu buwangwa bwa Argentina tewali mugenyi yenna akkirizibwa kwambala kiteeteeyi kiri mu langi ya mugole wadde ekigyefaananyirizizaako.

 uarez ne mukyalawe ofia Suarez ne mukyalawe Sofia

 

Abalala baagambye nti kino tekyabeewuunyizza kuba Cuccittini abadde alwanyisa Roccuzzo okuva ku ntandikwa, ng'akyogera lunye nti kikafuuwe mutabani we omwatiikirivu mu nsi yonna, okuwasa omuwala atalina k'alagawo.

Olukongoolo luno lutwaliramu famire zombi (eya Messi ne Roccuzzo), era ku wooteeri buli emu yasuze ku ludda lwayo.

 aama wa essi kitaawe ne mwanyyina Cuccitini, (maama wa Messi), kitaawe ne mwanyyina

 

Kyokka Messi yasinzizza nnyina amaanyi n'amugamba nti si y'amusalirawo, n'asalawo okuwasa Roccuzzo gwe yasisinkana nga wa myaka 13, nga kati amulinamu abaana babiri, Thiago ne Mateo.

Wabula Cuccittini empisa embi takoma ku kuziraga mukaamwana we, wabula ne balamu be (bannyina ba bba).

 

Abazannyi okuva ku kkono; Xavi, Fabregas ne Puyol nga bali ne bakyala baabwe.

Omu ku bassenga ba Messi, yategeezezza nti teyayitiddwa ng'entabwe eva ku Cuccittini " Omukazi oyo yeefuze omukolo era gubadde gujjuddeko bantu ba ludda lwe.

 

Ewa mwannyinaze yayiseeyo ba lubatu!" bwe yategeezezza omukutu ogumu nga bw'akulukusa amaziga.

Embaga yabaddeko bassita nga Neymar, Cesc Fabregas, Samuel Eto'o, Carles Puyol, Sergio Aguero, Xavi Hernandez, Luis Suarez, Sergio Busquets, n'abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tembeya 220x290

Walukagga atadde akaka mu luyimba...

Nga yaakamala okugaanibwa okuyimba ku mukolo ogumu e Mpigi gyebuvuddeko, omuyimbi Mathias Walukagga embeera agiyimbyemu...

Tin1 220x290

Pressure esse abafamire babiri...

Pressure esse abafamire babiri omulundi gumu

Harvest 220x290

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito...

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito n'alekulira

Abetz 220x290

Abtex totya abasajja tubalina -...

POLIISI yagaana Bobi Wine okuddamu okulinnya ku siteegi. Bino byagenda okubaawo ng’abategesi b’ebivvulu, Abbey...

Kenzo 220x290

Aziz wangoba kati oyagala nkusiime...

OMUYIMBI Eddy Kenzo addizza Aziz Azion omuliro olw’okumulangira nga bwe yamuyamba n’atamusiima n’agamba nti Aziz...