TOP
  • Home
  • Embaga
  • Mukwano gwange yali ayagala kunzita nga wabulayo wiiki 2 nnyanjule

Mukwano gwange yali ayagala kunzita nga wabulayo wiiki 2 nnyanjule

By Musasi wa Bukedde

Added 10th February 2018

OMUKOLO gwaffe ogw’okwanjula sirigwerabira! Nze Catherine Namirembe Mbaziira.

Vuga 703x422

Omwami wange ye Alex Mbaziira era nga tubeera Wakaliga. Tulina abaana musanvu era twagalana nnyo.

Baze namwanjula nga November 22, 2008 ate embaga yaliwo nga December 6, 2008.

Ku mukolo gwaffe ogw’okwanjula bazadde bange baasunyuka nnyo bwe nabawa amawulire nti ηηenda kuleeta omusajja wange mubanjulire mu butongole ate nga mu kaseera ako famire yaffe yalina enjawukana nga bataata baafuna obutakkaanya wabula olw’omukolo baddamu ne bakwatagana.

Ebirungi ebyali ku mukolo gwaffe Omwami wange yannyamba nnyo ku mukolo anti nga tayagala kintu kyonna kunsumbuwa era ebisinga ye yabingulira.

Twawuliziganyanga bulungi ate nanfunira n’abantu abannyamba ngako mu kutegeka omukolo gwaffe. Obudde bwali bulungi nnyo ate ne ssenga wange yannyamba nnyo.

Emmere yaliwo mu bungi ate n’abafumbi baali balungi nnyo era abantu baalya emmere okuva ku Lwokutaano okutuuka ku Ssande.

Naye kye siryerabira ku mukolo gwaffe ogw’okwanjula, nga wabulayo wiiki bbiri zokka omukolo okutuuka, mukwano gwange ate nga muliraanwa wange yampa ekyennyanja ekinene ng’akisiise bulungi nga akirunzeemu obutwa nakindeetera ewange n’aηηamba nti omwami wange yakireese nange nga ndya kubanga twali tukolagana.

Olwamala okulya ekyennyanja ne ntandikirawo okusesema n’okuddukkana era kulwo nasula mu kaabuyonjo.

Omwami wange yatya nnyo era n’antwala mu ddwaaliro n’alagira abasawo okukola kyonna ekyetaagisa okulaba nga bataasa obulamu bwange era ssente zonna ze baagala agenda kuzibawa kasita bawonya obulamu bwange.

Abasawo baafaayo nnyo era ne bakola buli kimu okutuusa lwe nateerera ne ηηenda mu kyalo okwongera okundabirira okutuusa omukolo nga gunaatera okubeerayo.

Nneewuunya nnyo okulaba nti mukwano gwange ennyo ate ye yali ayagala okunzita nsubwe omukolo gwange n’ekigendererwa eky’okweddizza omwami wange kubanga yali amwegwanyiza.

Ne mukulu wange naye yali tayagala mukolo kubaawo era ono yagenda ne ku musawo w’ekinnansi n’aleeta ebyawongo nabimansa okwetooloola ennyumba yonna, kyokka mba ηηenze wabweru okulaba omwana wange ne musanga naswala nnyo n’adduka.

Ono yali ankoledde ne keeki wabula olw’okuba yaswala nnyo yagaana okugireeta mu kiddaala n’agisibira mu kisenge, ekyannyamba nti nalina keeke gye nnali nkoze nga ηηenda kuzigabira abantu ze twakozesa.

Wabula yo embaga yali nnungi nnyo era baatugattira ku Redeemed of the lord Evangelist Church e Makerere.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mze 220x290

Owapoliisi atuuyanye mu gwa Kanyamunyu...

OMULAMUZI Steven Mubiru akiguddeko oluvannyuma lw’omuserikale wa poliisi eyabadde azze okulumiriza Mathew Kanyamunyu...

Bobi 220x290

Mayinja ensi ekulaba - Bobi

Bobi yasabiddwa okwongera okuttaanya ku njawukana eziriwo wakati w'abakulembeze ba People Power ne Ronald Mayinja...

Audience 220x290

Akubye amasasi mu badigize n'attirawo...

OMUVUBUKA alumbye abadigize mu bbaala n’abasindirira amasasi agattiddewo abantu mwenda. Poliisi bw’egezezzaako...

Kagame 220x290

Bateeze omusawo ne bamutta mu ntiisa...

OMULAMBO gw’omusawo abadde amaze olunaku nga talabika, abatuuze baagusanze gufumitiddwa ebiso ku mutwe ne mu bulago...

Looti 220x290

Gavumenti ewadde ebibiina by’obwegassi...

GAVUMENTI edduukiridde ebibiina by’abalimi n’abalunzi e Buikwe bw’ebawadde ttulakita ssatu zibayambe okwongera...