TOP
  • Home
  • Embaga
  • Omugagga akoze okukyala ne kusinga okwanjula

Omugagga akoze okukyala ne kusinga okwanjula

By Musasi wa Bukedde

Added 15th May 2018

OMUGAGGA w’oku Nabugabo, Steven Ssebadduka nga maneja wa kkampuni ya Bob Auto Spare Parts ku luguudo lwa Nabugabo mu Kampala yalaze amaanyi bwe yabadde akyala ewa ssenga wa mukyala we, Ammy Nabagesera ku Lwomukaaga e Wakiso ku kyalo Kasangombe okumpi n’ekitebe kya disitulikiti.

Panta1 703x422

Emikolo gy’okukyala gyabadde mu maka g’omwami Dominic Kato n’omukyala Faridah Nakimera ng’ono ye ssenga wa Nabagesera.

Omuko Ssebadduka yasimbudde mu maka ga kitaawe, Charles Mugalu ne nnyina Betty Mugalu e Kasubi-Lubya ng’awerekerwako oluseregende lw’emmotoka ezaasobye mu 20.

Ye omuko yatambulidde mu mmotoka ey’ekika kya Benz embikkule ng’awerekerwako pikipiki za poliisi nga ziringa eziyisa ebivvulu.

Abatuuze b’e Kasangobe ewaabadde omukolo baasigadde batenda omuko Ssebadduka olw’ebintu ebitali bya bulijjo ebyabadde mu kukyala kuno kuba ebirabo bye baatonedde ssenga w’omukyala byabadde biyitirivu ng’oyinza okukuyita okwanjula.

Omuyimbi Carol Nantongo ye yasanyusizza abagenyi ku mukolo era omuko bwe yabadde asiibula baakubye ebiriroliro mu bbanga ebyasombodde abatuuze okujja okwerabirako okusinga okunyumizibwa.

Nabagesera bwe yalabye ebirabo nga bisusse obungi, yasoose kutyamu n’ategeeza nti bandiba nga babakoze kakodyo ka butadda kwanjula kyokka oluvannyuma omwogezi w’oludda lwa Ssebadduka yategeezezza nga bwe bagenda okudda mu bbanga ttono bakole okwanjula.

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bobiwineatmagere 220x290

Bobi Wine ayogedde ku ngeri gye...

" Akawungeezi ka Mmande nnabadde mu kisenge kya wooteeri mwensula ne mpulira abantu nga bagamba ggulawo kyokka...

Long1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA YAFULUMYE...

Bobi Wine, mukazi we amutunuddeko e Makindye gy’akuumirwa n’azirika olw’embeera gy’alimu. Omubaka Zaake bamuleese...

Candia 220x290

Nnannyini wooteeri ya Pacific e...

NANNYINI wooteeri ya Pacific Hotel mu kibuga Arua asambazze ebyayogeddwa poliisi nti emmundu ez’ekika kya SMG ebbiri...

Genda1 220x290

Baka balamu bange bannemesezza...

NZE Shifrah Nalwadda 25. Mu 2016 omusajja ayitibwa Akim yankwana era nange ne musiima ne mmukkiriza n’antwala ewuwe...

K3 220x290

Ab'e Kamwokya bazzeemu okwekalakaasa:...

Ab'e Kamwokya bazzeemu okwekalakaasa: Baagala Bobi Wine ayimbulwe