TOP
  • Home
  • Embaga
  • Batongozza omwoleso gwa ‘Bride and Groom

Batongozza omwoleso gwa ‘Bride and Groom

By Martin Ndijjo

Added 2nd June 2018

ENTEEKATEEKA z’omwoleso gw’ebyemikolo n’embaga (Bride and Groom Expo) ziri mu ggiya.

Promote 703x422

Susan Nsibirwa (owookusatu okuva ku kkono) akulira okutumbula ebya Vision Group ng’ali n’abamu ku bagenda okuwagira omwoleso gwa Bride and Groom Expo 2018 ku Lwokusatu. Baabadde batongoza enteekateeka y’omwoleso guno.

Gwakubaawo nga June 22- 24 e Lugogo mu kibangirizi kya bannamakolero (UMA) mu ‘Multipurpose hall’ era abategesi aba Vision Group efulumya ne Bukedde ku Lwokusatu baasisinkanye ab’ebitongole n’amakampuni abawagidde omwoleso gw’omwaka guno okubayitiramu enteekateeka we zituuse.

Joweria Nabuuma avunaanyizibwa ku kutegeka ebivvulu bya Vision Group, mu nsisinkano eno eyabadde ku kitebe kya Vision Group yategeezezza nti abantu tebasaanye kusubwa mwoleso gwa mwaka guno kubanga gutegekeddwa nga gwanjawulo okujaguza emyaka 10 bukya mwoleso gwa Bride and Groom Expo gutandikibwawo.

“Omwoleso guno guzze gweyongera amaanyi buli mwaka ate ku mulundi guno kigenda kuba kisuffu eri ffe abategesi n’abagenda okwolesa.

Tubakuutira okuleeta ebintu ebiri ku mulembe ebisobola okusikiriza abaguzi nga babawa ekyo kye beetaaga.” Nabuuma yayongeddeko nti, “Buli kimu kye weetaaga okumanya oba okugula ekikwatagana n’emikolo n’embaga gyekiri.

Tukuleetedde abakugu mu byemisono okuli; Anita Beryl, K Rap, Glitz by Nalu n’abalala.” Mu birala ebitegekeddwa mu mwoleso guno gy’emisomo gy’abaagalana era kojja Kevin Nyanja ne Ssenga Hamida Namatovu gyebali nnyo.

Namatovu agamba yeesunze okusisinkana abanoonya ababeezi n’abalina abaagalwa okubawa obukodyo bw’okuzza laavu yaabwe obuggya.

Buli aneetaba mu mwoleso waakuwangula Ng’oggyeeko okugula n’okunyumirwa ebigenda okwolesebwa, Nabuuma agamba nti buli muntu alina omukisa okufuuka omuwanguzi mu mwoleso guno.

Ng’oggyeeko okugula tikiti 10,000/- ekuyingiza mu mwoleso, waliwo obukonge obussiddwaawo ku 2,000/-buli kamu.

Wonna w’onookagula osooka kuwangula kirabo ekya kagwirawo ate oluvannyuma akakonge ko kajja kussibwa mu kalulu akagenda okukwatibwa olwo abawanguzi bafune ebirabo ebyenjawulo omuli n’ebintu ebikozesebwa mu maka nga ttivvi ez’omulembe ne firiigi.

Tosubwa amasanyu Mu mwoleso guno oguwagiddwa aba Pepsi, Kenya Tourism Board, Bridal World, Darling, Afdal Bistro ne Silk Events, mulimu enteekateeka eyenjawuuo ekoleddwa okusanyusa abantu era tosubwa abayimbi okuli; David Lutalo, Rema, Cindy, Michael Owuma n’abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Salawo 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Bobi Wine alaze ky’agenda okuzzaako kyokka poliisi nayo erabudde aba People Power ku kugondera amateeka. Mulimu...

Giroud2 220x290

Besiktas eswamye Giroud okumuggya...

Giroud, yali omu ku bazannyi abaayamba Bufalansa okusitukira mu World Cup mu July wabula mu Chelsea, ennamba etandika...

Herreranerojo1 220x290

Abazannyi 4 ogwa ManU ne Wolves...

Rojo tannatereera bulungi buvune wabula okudda kwa Phil Jones kwakuggumiza ManU.

Meeyassenoganomumyukawekansalakaggwangaayogeramulukiikolwampigitowncouncil 220x290

Kirumira bamubbuddemu oluguudo...

Abakiise batenderezza Kirumira omwana waabwe enzaalwa y’e Mpambire mu Mpigi Town Council okubeera omusaale mu kutunda...

Omuvubukaabaddeyefuddeomulalungalikukabangaliyapoliisiempigi 220x290

Yeefudde omulalu n’ayingira ofiisi...

Omuvubuka ono yasoose kwesuula mu kidiba ky’ebbumba mu kabuga k’e Mpigi kyokka poliisi y’e Mpigi n’emunnyululayo...