TOP
  • Home
  • Gallery
  • Libadde ssanyu na maziga nga Maama Lususu ayanjula omulenzi we

Libadde ssanyu na maziga nga Maama Lususu ayanjula omulenzi we

By Moses Nsubuga

Added 8th October 2018

ESSANYU nga Maama Lususu ayanjula omulenzi we mu maka ga bakadde be ate lyaggweredde mu maziga bwe yatulise n’akaaba nnyina n’amuwoayawoaya ate bombi ne basirittuka ne bagwa wansi!

Mamalususu18 703x422

Bino byabadde mu maka ag’omugenzi Wilson Senoga e Kabunza e Matuga, Irene Nalubwama amanyiddwa nga Maama Lususu gye yayanjulidde musajja we Emmanuel Kayondo ku mukolo ogwabadeko basereebu abenjawulo, n’abeebitiibwa omwabadde Major Juma Seiko, Polof. Kateregga owa Kampala University eyazze ne Nnalongo we  saako n’abayimbi ab’enjawulo obwedda abacamula abeetabye ku mukolo.

Omukolo era gwetabiddwaako ne basuubuzi banne ku kizimbe Galiraaya kw’akolera wamu n’abasuubuzi abalala okwabadde ne Hajji Kamoga eyazze ne mukyala we omugole eyakubizza abantu enduulu ng’atuuse mu kidaala.

Ku ssaawa 9: 49, Mama lususu yafulumye ennyumba ng’awerekeddwaako omuyimbi Full Figure eyasuddemu oluyimba lwe ‘Obanzibidde emimwa’ lwe yawandiikidde Maama Lususu nga luwaana bba era obwedda ayimba ng’eno Maama Lususu bw’alumya abateesi n’okukuba bba otuuso mu ngeri eroola!.

Omukolo gwatambudde bulungi okutuusa Maama Lususu lwe yasaze keeki n’agenda mu kidaala okugabula bataata kyokka olwatuseeyo n’atulikaka n’akaaba okutuusa lwe baamusirisizza n’okumuwooywooya .

Olwamaze okugabula bataata keeki  olwo n’agabula bamaama kyokka nayo yatulikiddeyo n’akaabirayo nnyina n’amuwambaatira okumusirisa kyokka bombi ne bagwa ku ttaka Oluvannyuma yasituse omukolo ne gugenda mu maaso.

Abayimbi; Betina Namukasa, Jovan Luzinda,  Sereba Bata, Mickie Wine baasumuludde ennyimba z’omukwano ezaacamudde abagenyi. 

alt=''
alt=''

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

She1 220x290

Abaafunye akabenje mu Ambulance...

Abaafunye akabenje mu Ambulance baziikiddwa

Rak1 220x290

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye...

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye n'afiirawo e Rakai

Gat2 220x290

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana...

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana akkiriza omusango n'asaba ekisonyiwo

Mut1 220x290

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate...

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate kya Maama Nnabagereka

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...