TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Pangoka Sayo - Angello atabukidde Bebi Yanka

Pangoka Sayo - Angello atabukidde Bebi Yanka

By Musasi Wa

Added 11th February 2010

Omanyi mwanamuwala Bebi Yanka aludde ng’aperereza muganzi wa mukwano gwe amwagale naye nga bigaanyi, akoze kyonna ky’asobola wabula Angello ne yeerema nga n’olwasembyeyo yamuteeredde eddagala mu caayi musajja wattu Angello okugenda okudda engulu ng’ali mu kisenge kya Bebi Yanka.

K

Omanyi mwanamuwala Bebi Yanka aludde ng’aperereza muganzi wa mukwano gwe amwagale naye nga bigaanyi, akoze kyonna ky’asobola wabula Angello ne yeerema nga n’olwasembyeyo yamuteeredde eddagala mu caayi musajja wattu Angello okugenda okudda engulu ng’ali mu kisenge kya Bebi Yanka.

Kati  nnakyala ono Bebi Yanka teyakomye ku kino wabula mu kisenge eno gye yamutwala yamutega kamera n’ekuba ebifaananyi byonna by’ayagala ng’ali ne Angello era kati bino by’akozesa okutiisatiisa Angello.

Nnakyala ono yasoose kuweereza bifaananyi bino awaka wa Angello eky’omukisa  Angello yennyini ye yabikutte era yagenze okusumulula ebbaasa ng’amaaso agakuba ku bifaananyi ng’anywegera Bebe Yanka era okuva wano yasibidde wa nnakyala ono kumwambalira.

Wano Bebi Yanka we yamutegeerezza nti akole byonna by’amusaba ng’okugenda awutu oba si kyekyo ebifaananyi abitwala wa Yiina. Angello yakkirizza nnakyala bye yamugambye naye nga mu mutima akimanyi nti abikola kutaasa mukwano gwe ne Yiina kuba buli gye babeera kyeraga lwatu nti ebirowoozo bye biri wa Yiina.

Angello musajja wattu bimusobedde takyayala anti buli lw’atuuka awaka abeera yeebwalabwala nga muli omutima gumulumiriza ebyo by’aba akoze ne Bebi Yanka. Yalabye kino kimuyitiriddeko kwe kutabukira Bebi Yanka n’amubuuza lwaki tamuvaako engeri gy’akoze byonna ye (Bebi Yanka) by’ayagala naye mwana muwala alemeddeko.

Bino biri mu firimu ya Pangako Sayo (The Promise) eragibwa ku Bukedde Ttivvi buli lunaku ku ssaawa 2:30 ez’ekiro.

 

Pangoka Sayo - Angello atabukidde Bebi Yanka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwanangaluaekikajjyo11webuse 220x290

Endabirira y'amannyo g'omwana eneegakuuma...

Okuziyiza amannyo g'omwana okulwala mu bukulu otandika mu buto okugayonja n'okugajjanjaba.

Katereggangalagaapozatundawebuse 220x290

Okutunda apo nkuguzeemu embuzi...

Nasooka kusiika capati e Iganga ne nzija e Kampala okutunda apo mwe nfuna 200,000/- omwezi era nguzeemu embuzi...

Sserunkuuma2webuse 220x290

Ebbumba eryenyinyalwa abasinga...

Bulikye mmumba nkijjuukirirako maama eyambeererawo mu bulamu kyokka n'atabaawo kugabana ku ntuuyo ze.

Kap2 220x290

Agambibwa okusobya ku w’emyaka...

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko

Muv1 220x290

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa...

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa