TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Ebyagi bye binabbulula ebyenfuna mu maka

Ebyagi bye binabbulula ebyenfuna mu maka

By Musasi Wa

Added 9th February 2012

EMMERE ky’ekimu ku bintu ebiyambye enkulaakulana y’eggwanga n’omuntu ssekinoomu mu myaka 50 gye tukubye amabega ng’egwanga lyefuga.

Bya Edward Sserinnya

EMMERE ky’ekimu ku bintu ebiyambye enkulaakulana y’eggwanga n’omuntu ssekinoomu mu myaka 50 gye tukubye amabega ng’egwanga lyefuga.

Bw’oyogera ku mmere bangi balowooleza ku matooke, lumonde, Muwogo n’ebirala. Sso ne babuusa amaaso ebintu nga kasooli, ebijanjaalo, ebinyeebwa n’ebirime ebirala ebisinga okuvaamu ssente ensangi zino.

Okusoomoozebwa okuliwo kati y’engeri emmere gy’eterekebwamu. Kino kivuddeko abantu okukaaba enjala naddala mu biseera by’ekyeya kuba tebabyetegekera ekintu ekitaaliwo edda.

Emmere efuuse bizinensi ey’amaanyi
Kino tekitandise kati, ne mu 1962, Uganda bwe yafuna obwetwaze emmere yali bizinensi. Ebibiina by’obwegassi, bino byabanga mu bitundu kyokka ng’ekikulu mu byonna kunoonya katale ka birime omuli kasooli,  ebijanjaalo olwo ne bitundibwa ebweru w’eggwanga ne mu ggwanga munda.

Kino kyayamba nnyo okutumbula ebyenfuna y’abantu ne basobola okuvuganya n’Abayindi abaali babibuutikidde.

Abantu okwekolamu ebibiina bino, baasobolanga n’okutereka ezimu ku nsimbi eziba zitundiddwa mu mmere ne bongera okwekulaakulanya, teebakomanga ku kunoonya katale kyokka wabula n’okwongera omuganyulo ku mmere nga kasooli okumukubamu obuwanga n’ebirala.

Johnbosco Jingo ow’ebyobulimi e Nakawuka agamba nti, olwaleero, emmere okuva ku matooke efuuse kyabugagga abantu mwe bayoolera ddala ensimbi, era ebitundu gye balina ensuku ng’e Masaka, Mbarara, Kiboga n’awalala abalimi akaseko tekabava ku matama.

Kati enkota y’ettooke egula wakati wa 8,000/- ne15,000/- kyokka gye buvuddeko yatuukako ne ku 30,000/-, akawunga kali ku 1,800/- ate ebijanjaalo biri wakati wa 1,500/- ne 1,800/-.

Ebbula ly’emmere lyeyongera mu ggwanga buli olukya olw’okufuna akatale akagazi eri amawanga agatuliraanye naddala Southern Sudan ng’eno Bannayuganda bangi batwalayo kumpi buli kirime ate ng’emmere erimwa mu Uganda tesobola kuwanirira katale kano.

Musa Lutaaya ono atwala mmere omuli kasoli, obumonde n’ebijanjaalo e Juba agamba nti, akasawo k’ebijnjaalo aka kiro 50 kagula pawundi 250 ez’e Juba eza wano ziba mu mitwalo 20.

Lutaaya agamba nti, ekivuddeko emmere okubula mu ggwanga y’ebbeeyi yaayo okwongera okulinnya mu mawanga agatuliraanye abantu ne batandika okuddukira ku butale bw’ebweru ate nga ne gavumenti tefuddeeyo kwongera kugaziya butale munda mu ggwanga n’okukubiriza abantu okwongera ku birimwa.

Okuzimba ebyagi kinataasa
Yinginiya Moses Musaazi akolera ku ttendekero lya tekinologiya mu yunivasite e Makerere gye buvudddeko yagamba nti, enkola y’okuzimba ebyagi mu maka ne mu bitundu singa eddawo obungi bw’emmere bujja kweyongera mu maka n’ebyenfuna bitumbuke.

Musaazi agamba nti, emu kunkola mwebayise okutumbula ebya tekinologiya batandikawo enzimba y’ebyagi ey’omulembe nga bakozesa amatoffaali ne sementi, era ng’ebyagi bino bisobola okutereka emmere.

Mukalazi akikkaatiriza nti, waliwo emmere naddala kasooli n’ebinyeebwa esobola okuterekebwa okumala ebbanga eriwerako ne kiyambako abalimu okusobola okulinda akatale n’okuba n’emmere ebamala mu kyeya kuba bangi bagitunda lwa kubulwa we bagitereka nga batya okuwumba.

Okwongera omuganyulo ku birime
Nnaalongo Mary Nassimbwa Walakira, ow’e Nakawuka mu Wakiso akola wayini okuva mu miyembe n’ennaanansi n’okukola ‘tomato sauce’, agamba nti abantu balina okwongera okuyiga n’okuteeka mu nkola ensonga y’okwongera omuganyulo ku mmere erimwa kibayambeko obutafiirwa n’okutumbula ebyenfuna yaabwe.

Nnaalongo Nassimbwa agamba nti, bbo ng’abakyala mu ggombolola y’e Ssisa ekitongole ekikola ku byobulimu ekya CARITAS e Nsambya kyabayigiriza okwongera omuganyulo ku birime naddala mu biseera nga biri ku kidibo ng’akatale katono.

Alina emiyembe emingi, emicungwa, ennaanansi mu kifo ky’okubireka okufa osobola okubikamulamu omubisi ne gwongerako omuganyulo.

Emmere endala okuli amatooke musobola okuvaamu obuwunga n’ebirala nga  gonja, muwogo, lumonde babisiika ne bisobola okuwangaala.

Henry Kasozi owa Nkokonjeru Women’s Saving and Credit project e Mityana,  agamba nti abalimi baabwe okusinga balima nsujju wabula nga kati baatandikawo enkola y’okuzikaza n’okusiika ebiryo byazo ne babitunda mu maduuka amanene era tebakyafiirwa.

Okusoomoozebwa
1. Abalimi olumu balima emmere kyokka akatale ne kabula.
2. Abalimi abasinga naddala mu byalo bakyali ku bulimi bw’okukozesa enkumbi sso ng’omulembe gukyuse kyetaagisa tulakita.
3. Gavumenti ng’eyita mu bitongole byayo eby’obulimi esaana okwongera okusomesa abantu engeri y’okwongera omuganyulo ku mmere n’ennima ey’omulembe.
4. Obulimi bangi tebannagufuula mulimu, sso nga kyabugagga ekisobola okuyimirizaawo amaka.
5. Okwongera okunoonyereza ku nsigo ez’embala, kiyambe abalimi okufuna ku makungula agawera nakyo kikyabulamu.

Ebyagi bye binabbulula ebyenfuna mu maka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mot1 220x290

Ababbi babbye nnamba za mmotoka...

Ababbi babbye nnamba za mmotoka e Kyengera ne basaba ssente

Lab1 220x290

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika...

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika ku ssente

Lop1 220x290

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo...

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo obupya ku baagala okuzimba ebizimbe mu Kampala

Funayo 220x290

Attottodde engeri omuzigu gye yatemye...

OMUKAZI Florence Nannyombi ‘omutujju’ gwe yasikambuddeko omwana we Amos Sekanza ow’emyaka omusanvu n’amutemako...

Gata1 220x290

Omusajja atemyeko abantu 4 emitwe...

OMUSAJJA bwe yatemyeko obulago abantu bana, baasoose kumuyita mulalu. Azzeeyo ku kyalo n’atemako emitwe abalala...