TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Nateete: Ekibuga ky'abaloodi abamenyi b'amateeka kye bazinzeeko

Nateete: Ekibuga ky'abaloodi abamenyi b'amateeka kye bazinzeeko

By Musasi Wa

Added 28th March 2012

EKIBUGA ky'e Nateete gye kikomye okukula n'obumenyi bwamateeka gye bukomye okweyongera. Nateete bwe yali mu myaka gye 70 n'e 80 kati akyuse.

2012 3largeimg228 mar 2012 100217603 703x422

Bya FATUMAH NAKATUDDE

EKIBUGA ky'e Nateete gye kikomye okukula n'obumenyi bwamateeka gye bukomye okweyongera. Nateete bwe yali mu myaka gye 70 n'e 80 kati akyuse.

Ku mulembe gwa Idi Amin ne Obote amayumba mu Nateete gaali ga lumaggamagga.Essomero lya Makaayi Pulayimale ne siniya ge gaasooka mu kitundu ng'abaana abatasula kumpi batindigga okugenda okusoma

Engeri ekibuga gye kizze kikula

Ekibuga kyatandika okucamuka mu 1986. Abantu ne baatandika okuzimbamu ebizimbe ebyomulembe. Nateete alimu ebyalo 12 okuli Nanfuka Zooni, Musoke Zooni, Kivumbi Zooni, Kitooro, Kajumbi, Church Zooni, kigagga, Factory, Central A,B,C n'e D wabula zooni bbiri zokka ze zitafuna buzibu bwa mujjuzo gwa mazzi okuli Central C ne D.

Bizinensi ez'enjawulo zitandikiddwaawo okuli amaduuka, amasundiro g'amafuta, bbanka, akatale, amabaala okwali Bristo n'eya Peers.

Nateete alimu akatale ak'omulembe, bbanka ezisoba mu 5, amasundiro g'amafuta 6, beekeeri z'emigati nga 10 ebyuma byakasooli 30, amasomero aggawerako mangi ddala n'ebirala.

Obumenyi bwamateeka
Ekibuga gye kikomye okukulaakulana n'obumenyi bw'amateeka gye bukomye okuba ekizibu. Obumenyi bw'amateeka okuli okukuba obutayimbwa, obubbi, okusiba abantu obubadiya n'ebirala byeyongedde nga biva ku bitamiiza.

Obutemu ky'ekimu ku bumenyi bw'amateeka obuli mu kitundu naddala okuliraana wooteeri ya Marvin. Abatuuze bagamba nti obutemu buno poliisi y'e Nateete eringa etabulaba. Bwe babategeeza nti waliwo omuntu atemuddwa teyeefiirayo.

Ssentebe wa Kivumbi Zooni, Mulindwa Ssekawungu agamba nti ebbula ly'emirimu eriri mu ggwanga lireetedde abavubuka bangi okwenyigira mu bumenyi bw'amateeka.

Akulira abakyala mu Central B Zooni, Zamu Mponye agamba nti ababbi bakolagana n'abamu ku baserikale. Kino kizzizza ebyobutebenkevu emabega. Obumenyi bw'amateeka bwe batera okwenyigiramu mulimu.

1. Obubbi: Waliwo lwe tukwata ababbi ne tubatwala ku poliisi wayita ekiseera kitono ne tuddamu okubalaba ku kyalo.

2. Ebitaala by'oku nguudo byakolako katono. Kino nakyo kyongedde obubbi mu kitundu kuba kibaamu enzikiza.

3. Ebyokwerinda mu Nateete binafu nnyo ekiwa obumenyi bw'amateeka ekyanya. Tulaba abaserikale nga balawuna ekitundu naye tebakwata bavubuka banywa njaga.

4. Abagaba ebicupuli bangi kyokka tugezaako okubalwanyisa nga bino bisinga kusibuka mu paaka.

Amyuka Ssentebe wa central A zooni, John Kitumba agamba nti kituufu Nateete alimu obumenyi bw'amateeka ng'obubbi naye ng'abantu abo bava ku byalo ebiriraanye nga Ndeeba , Nalukolongo, Busega, Nakulabye n'awalala.

Avunaanyizibwa ku misango ku poliisi

D/AIP, Francis Muhumuza agamba nti Nateete taliimu misango minene okuggyako egy'okunyakula obusawo bw'abantu amasimu ne ssente.

Obubbi bw'okumenya amayumba si bungi.

Bwe bagamba nti abaserikale tukolagana n'ababbi ne batuwa ssente ne okubata ebyo si bituufu. Omuntu bw'akwatibwa naleetebwa ku poliisi alina eddembe okusaba okweyimirirwa. Wabula abaleetebwa olw'enjaga balina okutwalibwa mu kkooti mu bwangu.

Kyokka ennaku zino omulamuzi bwatuula mu musango ne guweza emirundi esatu nga teguliiko bajulizi ng'agugoba.
Abantu bye bogera

Abdul Kawooya: Enguudo balwawo okuzikola. Bwe ziggyamu ebinnya babiyiwamu ttaka erivaamu ng'enkuba etonnye. N'oluguudo oludda e Kabojja lwetaaga kukolebwa.

Ssalongo Swaibu Ssekimbu: Abakulembeze baffe naddala Meeya w'e Lubaga Joyce Nabbosa Ssebugwawo yatwerabira. Amaanyi asinze kugassa Kasubi n'e Nakulabye.

Tom Busuulwa: Amabaala mangi ate gali ku kkubo. Kino kivuddeko obubenje. Ebitaala ebyali biteereddwa ku makubo bwe byayonooneka.

Awasinga obubbi
Okuliraana wooteeri Marvin.
Mu zooni ya Nanfuka awasibuka abafere.
Ewa Kaala
Okuliraana kalina ya Ssonko , omuzikiti ng'eno we wali ofiisi za bodaboda eno we wasibuka abanywa enjaga.
Mu Kikuubo .
Ebizibu bya Nateete
Amazzi okwanjaala mu biseera by'enkuba.
Emyala gyajjula, kasasiro.
Enzimba embi eyomwala omunene ku luguudo lw'e Masaka.
Okukuba abantu obutayimbwa n'e bababba.
Enjaga nnyingi.
Okukwata abantu okubadiya
Bamalaya abali mu kitundu
Ebbula ly'emirimu.

Nateete: Ekibuga ky''abaloodi abamenyi b''amateeka kye bazinzeeko

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Starleaguenov162019kccabtvipers10kizzaandwilla2 220x290

KCCA FC ekubye Vipers awaluma

KCCA FC emezze Vipers SC egikyalidde e Lugogo ku kisaawe kya Star Times ku ggoolo 1-0 ng’eteebeddwa Mike Mutyaba...

Buza 220x290

Omusajja omukodo abuza omuliro...

TEWALI kintamizza basajja nga bukodo. Balinga abatamanyi nti omukyala yenna aweebwa kubanga kibi nnyo okukama ente...

Wuga 220x290

Omulwadde wa siriimu asobola okuzaala?...

NDI mukyala ayagala waakiri okuzaalayo omwana omu kubanga nnina siriimu. Naye ssenga, kandida annuma naye neebuuza...

Jino 220x290

Ow’emyaka 90 alumirizza ekkanisa...

NNAMUKADDE ow’emyaka 90 alumirizza ab’ekkanisa ya Uganda okumutundira mu ttaka ly’abaddeko emyaka egisoba mu 60....

Linda 220x290

Stecia awadde Julie obukwakkulizo...

ABAYIMBI n’abasuubuzi bongedde ebbugumu mu nteekateeka y’emikolo gy’okwanjula kwa Julie Ssemugga egisuubirwa okubeerawo...