TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Ani alagajjadde avaako emmundu ezimenya amateeka okuyingira mu ggwanga?

Ani alagajjadde avaako emmundu ezimenya amateeka okuyingira mu ggwanga?

By Musasi Wa

Added 15th May 2012

OMUWENDO gw’emmundu mu mikono gy’abantu mu Uganda gweyongera olukya n’obuzibu bwe zireeta! Lipoota ya Gavumenti eyafuluma mu March wa 2012 eraga nti abantu 2,770 be balina emmundu empandiise mu Uganda.

2012 5largeimg215 may 2012 120104560 703x422

Bya FRED KAYONGO

OMUWENDO gw’emmundu mu mikono gy’abantu mu Uganda gweyongera olukya n’obuzibu bwe zireeta! Lipoota ya Gavumenti eyafuluma mu March wa 2012 eraga nti abantu 2,770 be balina emmundu empandiise mu Uganda.

Kyokka nga kibalirirwa nti emmundu endala emitwalo 20 ziri mu mikono gya Bannayuganda mu bukyamu! Kisoboka okuba nga kino ky’ekivuddeko obutujju n’obubbi bw’emmundu okweyongera mu ggwanga?

Lipoota eraga nti emmundu zonna awamu eziri mu mikono gy’abantu babulijjo mu Uganda zisoba mu mitwalo 40 era nti omuwendo guno gweyongera buli mwaka!

Kyewuunyisa nti wadde waliwo amateeka agafuga emmundu n’engeri gye zifunibwamu, omuwendo gw’abantu abattibwa gulinnya buli mwaka. Mu 2003 abantu 335 battibwa n’emmundu eziri mu mikono gy’abantu babulijjo; mu 2004 baali 368; mu 2011 baabadde 802!

Wadde osobola okufuna emmundu eya layisinsi, bangi ku Bannayuganda emmundu ze bafuna bakukusa nkukuse; abalala bazigula ku bayeekera e DR Congo, South Sudan oba e Somalia.

Okutunda emmundu nnaddala ekika kya AK47 bizinensi yamaanyi mu Uganda era kibalirirwa nti wadde Bannayuganda batono abatunda emmundu ebweru - bafunamu doola 3,907 (9,767,000/- omwaka; lipoota ya Gavumenti eraga nti emmundu eziweza doola 160,878 (402,167,000/-) ze ziyingizibwa mu ggwanga buli mwaka!

Bw’otegereza nti buli mmundu eya AK47 eri ku doola 86 (215,000/-) kitegeeza nti buli mwaka waakiri emmundu 1,870 ze ziyingira mu ggwanga buli mwaka!

Kino kyewuunyisa kuba etteeka liragira okusiba omuntu ebbanga eritakka wansi wa myaka 10 bwe bakukwata n’emmundu eteri mu mateeka.

Etteeka likkiriza kukwata bbaasitoola ne pisito, sso si mmundu nnene nga AK47. Era abantu bwe bafuna ku ssente olwo nga bagula emmundu ng’ekyokweraga.

ANI ASAANIDDE OKUFUNA EMMUNDU?
Mw. Bazil Mugisha, kaminsona wa poliisi avunaanyizibwa ku bibiina ebikuumi n’emmundu agamba nti omuntu yenna okufuna emmundu alina okuba ng’aweza emyaka emyaka 21, nga tazzanga ku musango gwonna ate ng’omutwe gwe gukola bulungi.

Omuntu oyo alina okubeera nga ng’alina amaka ag’enkalakkalira, era ng’alina obusobozi okukuuma emmundu eyo.
Okufuna emmundu olina okuba n’ebbaluwa ya LC; ey’akakiiko k’ebyokwerinda ku ggombola n’aka disitulikiti.

Okufuna ebbaluwa okuva ku disitulikiti basooka kukunoonyerezaako, naawe akakiiko ne kakusoyaayo ku bibuuzo, oluvannyuma n’odda ku kitebe kya Poliisi mu Kampala ne bakuggyako ebinkumu n’okwongera okukukebera olwo ne bakuwa emmundu.

Wadde Mw. Mugisha alambika emitendera gino, naye mu Uganda obukiiko bwa LC bwe busingako enguzi, ate obumu tebuliiwo mu mateeka. Kale kyangu omumenyi w’amateeka okufuna ebbaluwa eyo.

Abantu abamu wesanga nga mu bulamu takwatanga ku mmundu ey’ekika kyonna era nga talina bingi by’agimanyiiko awo poliisi emutendeka okugikozesa nga okuba amasasi, enkwata yaayo okuziyiza okwekuba amasasi n’abantu abalala.
Mw. Mugisha agamba nti alina emmundu aweebwa pamiti ne layisinsi ezzibwa obuggya buli mwaka.

ENKOZESA Y’EMMUNDU


Okusonga mu muntu emmundu guba musango wabula Mugisha agamba nti kino kisinziira wa w’ekozeseddwa.
Okumala gakuba masasi, katugambe nga ku kabaga kikusibya.

Etteeka likkiriza omuntu okubeera n’emmundu ezisukka mu emu kasita ziba zanjawulo ate nga zigenda kukola emirimu gyanjawulo.

Ebifo ebisanyukirwamu nga ebbaala tebikkirizibwamu mmundu. Bbanka, ebisaawe by’ennyonyi nabyo kiba kirungi n’ogireka awaka.

Oluvannyuma lw’embeera eriwo ensangi zino, abantu babulijjo n’abaserikale mwe bakubidde abantu amasasi, aba Uganda National Focal Point, ekitongole mu Minisitule y’ensonga ezomunda baasabye Palamenti ekoleyo etteeka eddala erirung’amya enkozesa y’emmundu lisikire etteeka eririwo eryakolebwa mu 1970.

Ekitongole kino kyagala buli ayagala emmundu asooke atendekebwe enkozesa n’entereka y’emmundu. Kyagala era emmundu ziwerwe mu bifo ng’amasomero, amalwaliro, ebifo ebisanyukirwamu ng’ebikaali ne disiko.

Ani alagajjadde avaako emmundu ezimenya amateeka okuyingira mu ggwanga?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mot1 220x290

Ababbi babbye nnamba za mmotoka...

Ababbi babbye nnamba za mmotoka e Kyengera ne basaba ssente

Lab1 220x290

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika...

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika ku ssente

Lop1 220x290

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo...

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo obupya ku baagala okuzimba ebizimbe mu Kampala

Funayo 220x290

Attottodde engeri omuzigu gye yatemye...

OMUKAZI Florence Nannyombi ‘omutujju’ gwe yasikambuddeko omwana we Amos Sekanza ow’emyaka omusanvu n’amutemako...

Gata1 220x290

Omusajja atemyeko abantu 4 emitwe...

OMUSAJJA bwe yatemyeko obulago abantu bana, baasoose kumuyita mulalu. Azzeeyo ku kyalo n’atemako emitwe abalala...