TOP
  • Home
  • Emboozi
  • ''Baatugattira mu ddwaaliro ku lunaku lw''embaga yaffe''

''Baatugattira mu ddwaaliro ku lunaku lw''embaga yaffe''

By Musasi Wa

Added 6th June 2012

OLUNAKU lw''embaga lwe lusinga okubeera olw''essanyu mu bulamu bwa buli muntu. Abakyala balwesunga okuviira ddala mu buto, okukakasa abazadde, ab''emikwano n''enganda nti ddala okuze!

Bya HERBERT MUSOKE

OLUNAKU lw'embaga lwe lusinga okubeera olw'essanyu mu bulamu bwa buli muntu. Abakyala balwesunga okuviira ddala mu buto, okukakasa abazadde, ab'emikwano n'enganda nti ddala okuze!

Naye wakati mu keetalo ako kubyamu akafaananyi ng'otuuzizza abantu bananye ne baggweekerera, kyokka ne bakakutema nti gw'olindirira afunye akabenje kabekasinge afudde!

Kati sisinkana abaagalana Emmanuel Mazinga ne Jane Namakula abatuuze b'e Nsotoka mu Kayunga ekizibu ekyo be kyatuukako. Baabagattora na ku kitanda ng'omukyala ali ku mugo gwa ntaana!

Baali bagenda kutukuza bufumbo, oluvannyuma lw'emyaka 19 nga bali mu bwa 'kawundo kakubye eddirisa'.  Eggulolimu basooka kweyanjula mu bakadde b'omuwala George Sserunjogi ku mayiro musanvu ku luguudo lw'e Gayaza ku Lwokutaano nga 28/09/2007 olwo enkeera nga y'embaga mu maka gaabwe e Nsotoka.

Baali baakugattibwa mu ekrezia e Namulanda, ng'omugole omukyala asuubirwa okutuuka ku klezia ku ssaawa nga 3:00 ez'oku makya.

Wakati mu keetalo n'amasanyu ng'eno endongo bw'esindogoma, amawulire ga mmotoka omugole omukyala mwe atambulidde gaabatuukako.

Embaga wano we yakoma! Kawasa amawulire yagafuna amaliriza ntuuza ya bagenyi, oyo baakwata mukwate ng'aguddemu akazoole!

MAZINGA ANNYUNGA
Twateegeka ng'oluva okwanjula enkeera y'embaga, naye  essanyu lyafuuka amaziga!

Mazinga ne mukyala we Namakula ku kwanjula ng'enkeera mbaga eyasasika.

Olwamala okwanjula, nadda e Nsotoka awaali wagenda okubeera embaga ne tutandika okwetegekera embaga.

Tewaali kweebaka era zigenda okuwera essaawa 1:00 ez'oku makya ng'ebyokulya n'okunywa wamu n'endongo byali tayaali.

Okusinziira ku ntegeka, banaffe baalina okutuuka ku ssaawa 3:00 ez'oku makya tugende ku klezia, kyokka twalinda okutuuka ku ssaawa nga 6:00 ez'emisana nga tetubalabako.

Nali ngenze kunona ttundubaali okussa ku kidaala, ne bakantema nti mukyala wange yali afunye akabenje. Takisi mwe baali batambulira yagwa ne mufaamu abantu munaana.

Abaafa kuliko Ali Muwonge eyali ddereeva, Janat Namubiru, George William Kalaali, Florence Namubiru, Giida Nakanyike, Faith Rhoda Nakajiri, Kizza Safiina ne Zeresi Namakula.

Abaalumizibwa kwaliko Muky. Mary Sserunjogi (maama w'omugole), Aisha Namatovu, Night Nabbanja, Aminah Birungi, Margaret Namuyunga, Zuula Nabbosa, Eseza Nabunya, Barbara Nakigozi, Iren Luganda, Afua Nalukwago, Wilson Katende, Robinah Beza ne Joyce Nalweyiso era nga bano baddusibwa mu ddwaaliro e Naggalama n'oluvannyuma abamu ne bazzibwa e Mulago.

Amaanyi ganzigwamu era mukwano gwange ye yantuusa eka. Mu butuufu nali mpunze nga ne gye ndaga sikyamanyiiyo.
Eno y'embeera ekyasinze obuzibu gye nali mbaddemu mu bulamu bwange kubanga nawulira ng'ensi ekomye.

JANE NAMAKULA
Nnali nneesunze okusamba gawuni nnumye buli omu era twapangisa kamunye UAF 429W nga tujjudde. Eka twavaayo 1:30 ku makya okwolekera Nsotoka eyali embaga.

Poliisi yagamba nti ddereeva yali avuza kimama naye nze ndowooza nti akabenje kaava ku kabangali eyatwekiika ng'eringa empendule!

Ddereeva yali mwegendereza kubanga ekyo twakimugambirawo nga tusimbula anti mmotoka yali ejjuddemu baaluganda.

Bwe twatuuka e Nalubabwe, tetumanyi kabangali gye yava, wabula mu kutuyitako twawulira etukoonye mu mbiriizi era mmotoka yaffe n'etagala. Ddereeva n'agirwanyisa okugizza kyokka eba yaakadda mu kkubo ate kabangali n'eddamu okututomera!

Emmotoka yatalamu gumu n'egwa ne yeegalika. Ngoggyeeko okunyolwa olw'abaafa, omukolo gwange  okugootaana kyannuma nnyo."

EMBAGA YAKOMAWA?
Oluvannyuma lw'embeera eno eby'embaga we byakoma nga buli omu takyategeera era nze nali mpunze.

Mu klezia, waliwo akawaayiro akakkiriza singa wabaawo essaakalamento erigenda okukolebwa kyokka ne wabaawo embeera nga eno nga kiraga nti omuntu agenda okutuukiriza essaakalamento lino ayinza okufa nga terinaggwa, omusumba oba omuzadde akola omukolo ne gutuukirizibwa.

Kino kye kyatuukawo era omusumba Kakooza yatugattira ku kitanda, omukolo ne guggweera awo! Kati kye tutegeka kwe kussaawo Mmisa nga tujjukira olunaku lw'embaga yaffe.

Mw. Mazinga agamba nti akabenje we kaabeererawo yali tasigazza ssente. "Ab'eddwaaliro ly'e Naggalama bwe bang'amba okutwala omulwadde e Mulago nabeegayirira asigale awo kubanga nali sijja kusobola kutambula kutuuka Mulago.

Wano n'eklezia we yannyambira ng'enkulembeddwamu Fr. Denis Luntamye ne bajjanjaba omulwadde wange. Oluvannyuma lw'omwezi yasiibulwa era mukwano gwange Kabiswa eyampa mmotoka okutambulizangamu omulwadde okumuzzanga mu ddwaaliro akeberebwe n'okufuna obujanjabi.

Eklezia era yatuyamba  okutubudaabuda n'okugumya mu mbeera ezitali zimu ekituyambye okusigala nga tutambula.

Mw. Mazinga ne mukyala we Namakula balina abaana mukaaga, omuto ali mu P.4.  Omulimu ogubayimirizzaawo gwa bulimi.

Omwaka oguwedde beetaba mu mpaka z'abalimi ne bawangula olw'okulaga oluyonjo n'engeri y'okulabirira amaka entuufu ne baweebwa ente.
 

''Baatugattira mu ddwaaliro ku lunaku lw''embaga yaffe''

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pass 220x290

EBIKULU MU BUKEDDE W'OLWOKUBIRI...

Bawambye omwana omulala ne basaba obukadde mukaaga; bamusse omulambo ne bagusiba mu kadeeya.

Owakccangayogeramulukiiko 220x290

Ab'e Bwaise batabukidde aba KCCA...

“Twagala Pulezidenti Museveni y’aba atulagira okusasula kuba n’amazzi gakyatuyingirira mwe mulabika temuvudde na...

Kizito 220x290

Basajjabalaba alaalise okulwanyisa...

NNAGGAGGA Hassan Basajjabalaba asinzidde mu kuziika Charles Muhangi n’alabula abaggagga abaagala okutwala ebintu...

Rite6 220x290

Poliisi ekubaganye n'aba takisi...

Mu kanyoolagana akaabaddewo omuserikale eyategeerekeseeko erya Kasirye yakubiddwa ejjinja era ono yatwaliddwa...

Lekwa 220x290

Muhangi afudde akkirizza okuliyirira...

Ssentebe w’e Nsangi, Abdul Kiyimba yasabye Ruhakana Rugunda okugonjoola eby’ebizimbe ebikaayanirwa kubanga bwe...