TOP

Emyaka 102 egya Katigondo

By Musasi Wa

Added 16th November 2012

GIWEZE emyaka 102 bukya Seminario enkulu ey’e Katigondo etandikibwawo. Eno ye Seminario eyasookera ddala ku lukalu lwa Afrika, etendeka bannaddiini mu by’omubiri, eby’omwoyo n’ebyenfuna.

2012 11largeimg216 nov 2012 111213343 703x422

Bya Juliet Lukwago

GIWEZE emyaka 102 bukya Seminario enkulu ey’e Katigondo etandikibwawo. Eno ye Seminario eyasookera ddala ku lukalu lwa Afrika, etendeka bannaddiini mu by’omubiri, eby’omwoyo n’ebyenfuna.

Yatandikibwawo Abaminsane aba White Fathers ku nkomerero ya 1893.

Fr. Dr. Herman Kituuma, akulira Seminario eno agamba nti, bwe yaweza emyaka 100 tewaali bijaguzo, kwe kubissaayo ku ntandikwa y’omwaka ogujja ogwa 2013.

Dr. Kituuma abinnyonnyola bwati: Seminario y’e Katigondo yasookera ku kasozi Lubaga mu Kampala, eyo gye yava okutwalibwa e Kisubi okumpi n’e Ntebe. Yabeerako ne mu kigo ky’e Bikira okumpi ne Kyotera, e Bukalasa ate oluvannyuma kwe kuleetebwa e Katigondo .

Seminario eno yagendanga etwalibwa mu bifo eby’enjawulo okusinziira ku bizibu eby’enjawulo ebyabanga mu bitundu ebyo. E Lubaga yasengulwayo lwa bulwadde bwa kawumpuli.

Abaseminaliyo baasooka kusula mu bisulo bya mmuli n’ebisagazi , oluvannyuma kwe kusengukira mu bizimbe by’eddwaaliro ly’e Lubaga.

Mu kiseera ekyo yali ekulemberwa Omusumba Streicher ( soma Sitenseera). Etambudde mu bitundu Okuggyibwa e Lubaga kyava ku bufunda bw’ekifo, n’etwalibwa e Kisubi. Wakati wa 1893 ne 1903 olw’ebizibu ebingi n’okukyusakyusa ebifo, abayizi abaali 487 mu Seminario, 41 bokka be baasobola okusigalawo.

Abaseminario baasulanga ku mikeeka na mbugo, nga tebambala ngatto n’ebizibu ebirala bingi bye baasanganga. Kati Seminario y’e Katigondo erina ffaamu era abayizi babattira ente buli wiiki, balina ensuku ezomulembe mwe baggya emmere n’ebibala.

Mu September, 14, 1909, oluvannyuma olukiiko lwa Vatican II, Paapa Pius X, yasalawo okwawula seminario ento ku nkulu. Aabaseminaliyo abakulu (Major) kwe kukyusibwa ne batwalibwa e Katigondo ne baleeka aba ‘minor’ e Bukalasa.

E Katigondo. Seminario eno yaggulwawo mu butongole nga March 7, 1911, olunaku lw’omutuukirivu Thomas Aquinas. Olwo Fr. Michael Franco kwe kufuuka omukulu w’essomero lino eyasookera ddala okuva 1909 okutuuka mu 1915.

Baalina abayizi 14 bokka, omwali Basil Lumu ne Victoro Mukasa Womeraka, abaamala emyaka esatu gyokka e Katigondo ne baweebwa obusaserdooti mu 1913. Akulira ebyenjigiiriza, Fr. Dr. Francis Nnaku, agamba nti ebimu ku bizimbe ebyazimbibwa mu 1909 ng’enju y’abasomesa Eklezia mwe baasomeranga bikyaliwo, wadde nga Eklezia yali ntono naye nga ekyali mu mbeera nnungi.

Seminario eno ly’ettendekero erya waggulu eryasookera ddala okusomesa amasomo nga Philosophy, ebyeddiini (Theology), amateeka g’eddiini (canon Law), okwogera mu banttu (Rhetoric), Okubala, obwetoowaze (Politeness), ebyafaayo by’Eklezia n’Olulatiini mu Afrika.

Fr. Nnaku, agamba nti ebiseera bino kikutwalira emwaka munaana okusoma n’ofuuka omusaserdooti oluvannyuma lw’okuyingira Seminario enkulu, naye ku myaka egyo omunaana esatu bagimala Katigondo.

Oluvannyuma abaseminario baddayo mu masaza gaabwe okuweereza kwe bayita okwegezaamu okumala omwaka mulamba. Olumaliriza ne babasindika mu seminario endala nga Ggaba-Kampala oba Kinyamasika-Fort-Portal.

Te ziba ssaala zokka Wadde abamu bayinza okulowooza nti abaseminaliyo babeera mu ssaala zokka, wabula Fr. Nnaku agamba nti bakola ng’abayizi abalala bwe babeera mu masomero amalala.

Mu kiseera kino, Katigondo erina abaseminaliyo 270 abava mu masaza ag’enjawulo mu Uganda, omuli Kampala, Masaka, Lugazi, Kiyinda- Mityana, Nebbi, Gulu, Lira, Mbarara, Tororo, Jinja, Kasana-Luweero n’amalala.

Katigondo etwala baseminaliyo abamaliriza emisomo gyabwe mu seminario endala n’abo abalala abasaba oluvannyuma lw’okumaliriza abatendekero aga waggulu. 

Mu bayiseeko e Katigondo mulimu Kalidinaali eyasooka ku lukalu lw’Afrika Rugambwa ow’e Bukoba, Tazania, n’eyamuddirira Emmanuel Kiwanuka Nsubuga. Abasaserdooti 1700 n’Abasumba 27 be baakayita e Katigondo.

Mu balala mulimu Kalidinaali Emmanuel Wamala, Ssaabasumba w’essaza lya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga, Omusumba w’essaza lya Masaka, John Baptist Kaggwa, Ssaabasumba w’e Gulu John Baptist Odama, ow’e Mbarara, PauL Bakyenga, owa Fort-Portal Robert Muhiirwa, Matthias Ssekamanya (Lugazi), Joseph Anthony Zziwa (Kiyinda-Mityana) n’abalala beetaaga obuyambi E Katigondo balunda ente, enkoko z’amagi, embizzi, balubda n’emicungwa, amapeera, ensaali, appo, balina n’ensuku eziwerako.

Dr. Kituuma agamba nti ku mukolo ogw’okwebaza Mukama, baagala okugaziya etterekero ly’ebitabo, laabu ya kompyuta, okuzimba ttanka y’amazzi eyomulembe eneesobola okukuuma amazzi liita 40,000, okulongoosa ebisulo by’abayizi n’okuzimba ekisulo ekiggya.

Ebirala ebitunuuliddwa mwe muli okugula jjenereeta eyomulembe okugonjoola ekizibu ky’amasannyalaze, okugula sola.

Emyaka 102 egya Katigondo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA