TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Muky. Kavuma amaze emyaka 44 mu buzaalisa

Muky. Kavuma amaze emyaka 44 mu buzaalisa

By Musasi Wa

Added 18th February 2013

Okuva mu 1986 abadde wa LC mu Kiganda zooni e Kawempe

2013 2largeimg218 feb 2013 124314023 703x422

Bya FRED KAYONGO


MUKY. Elizabeth Namubiru ab’e Kawempe gwe baakazaako Muky. Kavuma amaze emyaka egisoba mu 40 ng'akola obuzaalisa.

Mutuuze w’e Kawempe mu Kiganda zooni. Agamba nti okukola omuli guno tekwali kwagala kwe wabula kirabika yali nteekateeka ya Katonda.

Olugendo lwe mu mulimu guno aluwoza nga lutabaalo era alunyumya bwati: Nzaalibwa Buloba ku lw'e Mityana era we nnakulira.Nasomera mu Buloba C/U mu 1957.

Nasoma okutuusa lwe nnamalako J1ne J2, mu Buloba Junior Secondary, olwo kwe kugenda mu S1 mu Masulita SS mu 1966.

Bwe nnali nnaakayingira S2 nga ndi mu kisulo nalaba bayizi bannange nga bajjuza ffoomu z'okugenda okusoma obusawo.

Wano nange we nafunira ekinyegenyege ne nsabayo ffoomu zino ne nzijjuza ne nziwaayo nga bazadde bange tebamanyi.

Bwe najjuza ffoomu nasaba okusoma obusawo mu ddwaliro ly'e Butabika n'e Mengo wabula bigenda okudda nga bye nnasaba ng'asaaga ate okusaba kwange yonna bakuzzeemu nga bampise mbeegatteko.

Bwe bampa okusoma obusawo e Butabika muli natya okugenda okusoma okujjanjaba abakosefu b'obwongo, kwe kusalawo okugenda e Mengo.

Bino byonna nnabikola ndi ku ssomero mu kisulo nga bazadde bange tebamanyi era bwe baakimanya baanyiiga nga baagala nsome ntuuke mu S4 nfune ebbaluwa gye baayitanga Cambridge satifikeeti.

Oluvannyuma bazadde bange bakkiriziganya nange era mu 1967 nayingira e Mengo gye nnasomera obuzaalisa okumala emyaka ebiri.

Eyo gye nnamanyira nti okuzaala kufa, olunaku lwe nasooka okulaba omukyala azaala natya nnyo kubanga mu bulamu bwange nnali sirabanga ku kintu kyonna kizaala wadde embuzi.

Mu 1969 nga mmalirizza okusoma, nnali omu ku bayizi abakoze obulungi era eddwaaliro ly'e Mengo ne linsigaza.

Mu ddwaaliro e Mengo
Omusaala gwange ogwasooka gwali gwa 280/- buli mwezi naye nga zimmala.

Abaana b’amasomero mu biseera ebyo naddala ab'omu byalo tebaateranga kwambala ngatto era omusaala gwange ogwasooka naguguliramu baganda bange engatto kubanga nze nnali omwana omukulu mu famire.
Omulimu gw'okuzaalisa ngufunyeemu ebirungi bingi era ngwenyumirizaamu,” bw’agamba

Agattako: Bw’otuuka mu Kawempe, abaana bangi bampita maana, abalala jjajja kubanga abamu be nasooka okuzaalisa mu Kawempe muno kati bakazi na basajja bakulu abaawasa edda.

Okuzaala kw’ennaku zino kukyuse nnyo, abakyala bangi tebaagala kusindika baana nga batya obulumi sso ng’obulumi bw'okuzaala ng’omukyala olina kuguma bugumi kubanga olumala okuzaala nga buggwaawo.

Olwokuba Kawempe naddala zooni eno eya kiganda mulimu omugotteko, nfuna abakyala bangi ab'enfuna entono n’ab’abagagga.

Obuzibu
Olw’okuba abantu be nkoleramu enfuna yaabwe ntono, ebiseera bingi nfuna abakyala nga bazze okuzaala wabula nga tebalina wadde ekintu n’ekimu ekikozesebwa mu kuzaala.

“Ate oba tojja kumugoba bugobi addeyo, kale olina kukwata bibyo n’omuwa asobole okuzaala,” bw’agamba.

Agamba: Abantu be tukolera bakkiririza nnyo mu ddagala ly'ekinnansi. Bangi bajja okuzaala ne fulasika wabula nga temuli caayi okuggyako emmumbwa eteri nnungi kukozesa mukyala wa lubuto.

Nsaba Gavumenti egule minzaani eziwera ezipima mu malwaliro ate eziri ku mutindo. Ogenda n'ogula minzaani wabula ekola akabanga katono n’eyonooneka olw'obutaba na mutindo.

 

 

 

Muky. Kavuma amaze emyaka 44 mu buzaalisa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kazi 220x290

Eyandesa omulimu ansuddewo

NZE Mediatrice Kubwimana 28, nzaalibwa Burundi naye nga mbeera Namugongo Zooni II. Mu 2011, nafuna omulimu gw’obwayaaya...

Civil 220x290

Omukazi atagambwako yali antamizza...

ENNAKU gye ndabidde mu nsonga z’omukwano mpitirivu era nabulako katono okugwenenya.

Funa 220x290

Eyantwala ku yunivasite yanzitattana...

NZE Jennifer Alwoch 26, mbeera ku kyalo, Adyel mu Lira. Bazadde bange bampeererako okutuuka mu S6 naye ssente ezinyongerayo...

Ssenga1 220x290

Lwaki mpulira sirina maanyi ga...

SSENGA mpulira nga sirina bulungi maanyi ga kisajja. Naye bwe neegatta amaanyi ngafuna bulungi naye ndowooza nti...

Ssenga1 220x290

Ensundo ya muganzi wange entiisa...

SSENGA nnina omuwala gwe njagala naye alina ensundo empanvu ku kisambi. Mugamba agende mu ddwaaliro agamba nti...