TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Ddamula: Emyaka 600 nga gukwasibwa Bakatikkiro ba Buganda

Ddamula: Emyaka 600 nga gukwasibwa Bakatikkiro ba Buganda

By Musasi Wa

Added 29th May 2013

LEERO Katikkiro omuggya Charles Peter Mayiga lw’akwasiddwa Ddamula mu butongole ku mukolo ogubadde ku Bulange, kati atandise emirimu gye mu butongole.

2013 5largeimg229 may 2013 090030020 703x422

 

 

 

 

 

LEERO Katikkiro omuggya Charles Peter Mayiga lw’akwasibwa Ddamula ku mukolo ogugenda okubeera ku Bulange, oluvannyuma atandike emirimu gye mu butongole.

Okukwasibwa Ddamula ke kabonero akalaga nti Kabaka oyo gw’alonze y’agenda okumulamulirako Obuganda era y’ensonga lwaki mu Buganda, Katikkiro ayitibwa ‘Kabaka w’ebweru’.

Obukulu n’obulombolombo obuli ku Ddamula bugufuula omuggo ogw’ekitiibwa mu Buganda era Katikkiro bw’amukwasibwa, teyeeyanza wabula asooka n’adda ekyennyumannyuma, n’alyoka akyuka n’atambula mukungujjo okutuuka mu Butikkiro (amaka ga Katikkiro amakulu).

Singa wabaawo amunyakulako Ddamula olwo kiba kiraga nti tajja kusobola buvunaanyizibwa bumuwereeddwa, abagitutte bagiddusa ewa Kabaka ne bamulaga nga gw’akwasizza Ddamula bw’atajja kusobola kulamula Buganda.

Awo we waava akalombolombo k’akwasiddwa Ddamula okujja n’ekibinja ky’abantu be yeesiga bamukuume sikulwa bamunyakulako Ddamula.

Olw’okuba abantu be yeesiga basinga kuba ba Kika kye, y’ensonga n’olwaleero Aboomutima bajja kubaayo bangi.

DDAMULA KYEKI?
Nga bw’olaba alondeddwa okuba Ssaabalangira wa Buganda bw’aweebwa omuggo oguyitibwa Segulirennume, ne Katikkiro wa Buganda aweebwa omuggo oguyitibwa Ddamula.

Eyali Katikkiro wa Buganda, Jehoash Mayanja Nkangi agamba nti: Ddamula muggo nga bw’olaba emiggo emirala wabula guno ogukansibwamu Ddamula gutemwa okuva mu kibira kye bayita Luggo ekisangibwa e Buswa mu bizinga by’e Ssese.

Kattikkiro omuggya; Charles Peter Mayiga

Guweebwa Katikkiro ng’akabonero k’obuyinza okufugirako Kabaka Obuganda era Katikkiro bw’akwasibwa Ddamula aba afuuse ‘Kabaka w’ebweru’.

Wabula Omutaka Wilson Ssentoogo agamba nti, ekibira kye kimu kisangibwa n’e Buvuma era namwo basobola okutemamu Ddamula.

Nkangi agamba: Ekisooka Kabaka okulonda omuntu n’amukwasa Ddamula aba amaze okumunoonyerezaako n’amanya ebingi ebimukwatako, era eno y’ensonga lwaki Katikkiro talanya nga Kabaka amuwadde obukulu obwo.

Ensonga lwaki abaami abalala Kabaka b’asiima balanya kwe kuba ng’ayagala amanye bajjajjabwe ab’edda, nga singa mubaamu amannya g’oyogera nga balina ebibi bye baakola Buganda abo nga obwami bubasuba, ekitali ku Katikkiro.

Katikkiro alondebwa, Kabaka aba amaze okumwetegereza n’amanya nti ono ajja kusobola okumulamulirako ebweru nga ye bwe yandibadde akola.

EBYAFAAYO  BYA DDAMULA
Omutaka Ndugwa Grace Ssemakula agamba: Ddamula kabonero akalaga enkola y’okugabana obuyinza wakati wa Kabaka n’abakopi. Ssekabaka Kintu bwe yali alwanyisa muganda we Bemba Musota, yeeyambisa Abataka okusobola okumuggya mu buyinza.

Omutaka Ndugwa Mukiibi ye yali ku lusegere lwa Ssekabaka Kintu nga bagoba Bemba, wabula bwe baamala okumuwangula, Kintu n’akiraba nga kya bwenkanya abasajja b’alwanye nabo olutalo okugabana nabo obuyinza. Mu mbeera eno kye yava ayita musajja we Mukiibi n’amugamba nkuwadde obuyinza okunfugirako Buganda.

Mukiibi yeeyanza obuyinza buno, wabula n’amugamba nti, ‘Mukama wange ng’amaanyi sikyalina’ kuba yali akuze era n’amusaba obuyinza abuweemu mutabani we, era Kabaka Kintu n’akikola.

Wabula ku mulembe gye Kintu ne Bakabaka abaddako, bbo baali tebagaba Ddamula okutuuka wakati wa 1750 ne 1780 ku mulembe gwa Ssekabaka Kyabaggu eyatandika okugaba omuggo guno Ddamula ng’akabonero akalaga obuyinza eri Katikkiro aba alondeddwa.

OBUKULU BWA DDAMULA
Kale obukulu bwa Ddamula eri oyo aba agikutte kwe kuba nti alina okuba omwesigwa eri Kabaka we ate n’abantu bonna mu Buganda. Kuba okukwasa Ddamula Kabaka akugamba ‘Genda onnamulire abantu bange ebweru w’Olubiri, era gwe amala ensonga zonna’ olwo Katikkiro kwe kumuyita Kamalabyonna.

Ddamula etegeeza obuwulize eri Kabaka, tolina kwenyigira mu kintu kyonna kirya mu Kabaka wo lukwe.
Nkangi agamba nti bw’oba olina Ddamula, olina okufaayo nga bwosobola okukola ekintu kyonna ekiyamba Kabaka n’okuzimba Buganda ng’okozesa obusobozi bwo bw’oba olina.

Obulombolombo bwa Ddamula bwewuunyisa
1. Kabaka y’asiima gw’agiwa, ate asobola okugimuggyako ekiseera kyonna.

2. Singa bamala okugikukwasa n’ekulema okutuusa mu Butikkiro (kati teriiwo) oba mu maka go, ne bagikuggyako mu lukujjukujju oba mu kukozesa amaanyi Obwakatikiro buba bukusubye.

3. Wabula agitutte naye tekitegeeza nti afuuka Katikkiro, kuba Kabaka aba n’obuyinza obugikuggyako.

4. Abekika kya Katikkiro aba alondeddwa bavunaanyizibwa okulwanira n’okukuuma Ddamula okulaba ng’omuntu waabwe agituusa gy’erina okulaga.

5. Gutambulira mu bantu babiri, Katikkiro abaako ne Kabaka.

6. Tegusuulwa wansi era tegubuukwa mukazi

7. Abenvuma n’Envubu be bavunaanyizibwa ku kutema omuggo guno.

Mulwanyammuli Ssemwogerere ng’azzaayo Ddamula ewa Kabaka.

ABOOMUTIMA NE DDAMULA
Johnmary Luberenga Bajjabayira, Katikkiro w’Ekika ky’Omutima agamba nti, baamaze dda okukola enteekateeka z’okubugiriza muzzukkulu waabwe Mayiga okulaba nga tanyakulwako Ddamula.

Luberenga ayongerako nti, ng’oggyeeko eky’okutegeka bakannyama ng’abamu bwe bagamba, nga Katikkiro bamaze okumukwasa Ddamula, ab’akulu b’Amasiga be bagenda okumubeera ku lusegere, olwo kuddeko akakiiko akulembera Ekika ate bakannyama basembeyo nga bagenda batangira buli muntu amusemberera.

OMUKOLO GW’OKUKWASA DDAMULA
Omutaka Wilson Ssentoogo agamba: Ddamula muggo mukulu eri Buganda kuba mwe muli obuyinza bwa Katikkiro. Guluddewo nga guweebwa Bakatikkiro emyaka egisoba mu 600.

Wabula omuntu yenna aba alondeddwa okubeera Katikkiro, Ddamula bagimukwasiza ku Wankaaki wa Twekobe mu Lubiri.

Kabaka olumuyita n’agimusa n’okweyanza teyeeyanza, atambulirawo n’agitwala mu Butikkiro.
Ennaku zino abantu abajja okunyakula Ddamula tebakyabiteekamu nnyo maanyi nga bwe gwabanga edda.

Luli nga bajja okulemesa Katikkiro aba agitutte okugitwala ne balwanagana era lwabanga lutalo lwennyini.

EKIBEERA MU BUTIKKIRO
Omutaka Ndugwa agamba: Katikkiro nga bamaze okumukwasa Ddamula, teyeeyanza, wabula akyuka bukyusi n’atambula okugitwala mu Butikkiro.

Wabula kati Buganada tekyalina Butikkiro, Gavumenti yagitwala n’egissaamu eddaaliro ly’abanoonyereza siriimu erya Joint Clinical Research Centre okuliraana Olubiri lw’e Mengo.

Kaweefube w’okuzimbira Buganda Butikkiro endala yalema, ne ssente ze bandibadde bapangisa mu Butikkiro eno Gavumenti teziwaayo!

Katikkiro omuggya ng’ayingira, ayita mu Wankaaki era olutuuka ku luggi akonkonya Ddamula okulaga nti nnyinimu azze.

Oluyingira munda mu Butikkiro olwo ekiddako guba mubala gwa Kika kye (Katikkiro).

Omubala oluggwa, kuba kulya na kuzina mazina era ekijjulo kino eky’ennyama enjokye kigabulwa Kabaka ng’agabula Katikkiro we ekijjulo ekisooka, era ennyama eno tebaako munnyo.

Kabaka ng'akwasa Muliika ddamula ku Wankaaki w'olubiri.

EKIBIRA LUGGO
Nnatuuseeko e Buswa mu bizinga by’e Ssese awali ekibira Luggo omutemwa omuggo omukansibwa Ddamula. Wabula nnasanzeewo kawugiro ng’ekibira baakitema!

Mulimu oluzzi olutakkirizibwa kukimwako mazzi, wabula ebbali yonna bakisimbyeko ebinazi!

Bakatikkiro ababaddeko

KINTU
Kisolo -Ng’onge
Kakulukuku -Lugave

CHWA I NABAKKA
Walusimbi -Ffumbe
Ssebwana -Lugave

TTEMBO
Kiridde -Kkobe

KIGGALA
Kasongovu -Mmamba

KIYIMBA
Magunda Ntege -Ffumbe

KAYIMA
Ssendikaddiwa -Nseenene
Walugali -Lugave

NNAKIBINGE
Kagali -Nvuma
Kalumba -Ffumbe

MULONDO
Ssekaggya -Nvuma

JJEMBA
Kisolo -Nseenene  (teyali wa Ng’onge)

KIMBUGWE
Kamegere -Ffumbe

MUTEBI
Musezi -Ffumbe

JJUUKO
Mulwana -Ng’onge
Wannanda -Butiko

KAYEMBA
Kisiki -Butiko
Lugwanye -Ffumbe

TEBANDEKE
Ntambi -Njovu

NDAWULA
Nsobya -Ffumbe

KAGULU TEBUCWEREKE
Ntambi -Njovu

MAWANDA
Ssebanaakitta -Mmamba

MWANGA I
Ssebanaakitta -Mmamba

NAMUGALA
Kagali -Nvuma

KYABAGGU
Lugoloobi -Nvuma
Kabinuuli -Nvuma
Ssengooba -Mbogo

JJUNJU
Ssendegeya -Mmamba
Mayembe -Mmamba
Kagenda -Mmamba

SSEMAKOOKIRO
Nabbunga -Ndiga
Ssekayiba -Mbogo
Nabembezi -Mbogo
Kiyanzi -Mbogo

KAMAANYA
Kadduwamala -Nvuma
Kitimpa -Nvuma
Kafumbirwanga -Lugave
Kimoga -Lugave
Ssebuko -Mmamba

SSUUNA II
Migeekyamye -Ngabi
Kayiira -Mbogo

MUTEESA I
Kayiira -Mbogo
Kisomose -Mmamba
Mayinja -Nkima
Mulere -Njovu
Mukasa -Musu

MWANGA II
Mukasa -Musu
Apollo Kaggwa -Nseenene
Stanislus Mugwanya -Butiko

KIWEEWA
Nnyonyintono -Ndiga

KALEMA
Muguluma -Njovu

DAUDI CHWA II
Apollo Kaggwa -Nseenene

MUTEESA II
Micheal Kintu -Ngo
Mayanja Nkangi -Mutima

MUWENDA MUTEBI II
Mayanja Nkangi -Mutima
Mulwanyamuli Ssemwogerere -Lugave
Dan Muliika -Nnyonyi
J.B Walusimbi -Ffumbe.

Ddamula: Emyaka 600 nga gukwasibwa Bakatikkiro ba Buganda

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwanangaluaekikajjyo11webuse 220x290

Endabirira y'amannyo g'omwana eneegakuuma...

Okuziyiza amannyo g'omwana okulwala mu bukulu otandika mu buto okugayonja n'okugajjanjaba.

Katereggangalagaapozatundawebuse 220x290

Okutunda apo nkuguzeemu embuzi...

Nasooka kusiika capati e Iganga ne nzija e Kampala okutunda apo mwe nfuna 200,000/- omwezi era nguzeemu embuzi...

Sserunkuuma2webuse 220x290

Ebbumba eryenyinyalwa abasinga...

Bulikye mmumba nkijjuukirirako maama eyambeererawo mu bulamu kyokka n'atabaawo kugabana ku ntuuyo ze.

Kap2 220x290

Agambibwa okusobya ku w’emyaka...

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko

Muv1 220x290

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa...

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa