TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Polof. Sserwanga: Omusuubuzi w’ettaka akulira Yunivasite ya Buganda

Polof. Sserwanga: Omusuubuzi w’ettaka akulira Yunivasite ya Buganda

By Musasi Wa

Added 9th August 2014

SISINKANA Polof. Dr. Arthur Sserwanga, omusuubuzi w’ettaka n’amayumba, Ssaabasajja gwe yalonze okukulira Yunivasite ya Muteesa I Royal.

2014 8largeimg209 aug 2014 062207007 703x422



 Bya VIVIEN NAKITENDE

SISINKANA Polof. Dr. Arthur  Sserwanga, omusuubuzi w’ettaka n’amayumba, Ssaabasajja gwe yalonze okukulira Yunivasite ya Muteesa I Royal.

Ono ye wokusatu oluvannyuma lwa Polof. Elisha Ssemakula okuvaako mu 2011. Omumyuka  we Polof. Kigongo Bukenya y’abadde akulira yunivasite eno okutuusa Sserwanga bwe yalondeddwa. Engeri ebyenjigiriza gye bikyuse ensangi zino, ng’ amatendekero amanene geetaaga ensimbi ezongereza ku fiizi z’abayizi okugabeezaawo, omusuubuzi ng’ono y’asobola okutetenkanyiza yunivasite okugitwala ku ddaala erisingako.

Sserwanga y'ani

Bazadde be ye Steven Katabula ne Benah  Namusisi abatuuze b'e Kira mu Busiro.

“Si nsobi Ssaabasajja okunneesiga kuba ndi musomesa omutendeke, amanyi ebyenjigiriza bwe bitambula kuba ntendeseeko mu   Makerere University, Makerere University Business school - Nakawa, Lusaka University, Kyambogo University, Islamic University in Uganda, National University of Rwanda, University of Malawi, Uganda Management  Institute  era ne nkolako ne mu kakiiko akafuga ebyensoma ya waggulu mu ggwanga  (National council for Higher education).” 

Polof. Sserwanga, yasomera Nkoyoyo Boarding School e Matale wakati wa 1977-1984, siniya n’agisomera ku Jinja College (1985-1991) ate nga yonna yali mukulembeze.

Olwamala S6 n’agenda e Kyambogo gye yasomera Dipulooma mu busomesa gye yafuna mu 1994, olwo kwe kwegatta ku Makerere University n’asoma diguli mu byobusuubuzi mu 1997, eyookubiri mu byensimbi  n'okubalirira mu 2001 n’eyookusatu mu by'emirimu (Doctor of Philosophy & Entrepreneurship) mu 2010.

Obukulembeze bwe

“Emirimu nagitandikira waka, kitange yali mulimi era omulunzi era nze gwe yawanga obuyinza okulabirira ffaamu ze zonna n'okukulira abakozi abaakolangako.

Ku nkomerero ya 2013, Ssaabasajja yatandika omuyiggo gw’anaakulira Muteesa I Royal University. 

 Akakiiko akafuga yunivasite eno  kampisa mu mitendera egiwerako gyonna gye nnayita ne nnondebwa nga 04/07/14 akakiiko lwe kannyanjula eri abayizi.

Akaseera akatono ke nnaakamala mu ntebe nkizudde nti erina ebisoomooza naye ate bisanyusa. Yunivasite erina abakozi bangi nnyo naye ate bato, balina amaanyi agasobola okukola ennyo ne tutwala ettendekero mu maaso.

Kye nsookeddeko kwe kufuba okulaba nti ntereeza enkola y'emirimu, gibadde gikolebwa kasoobo naye ntaddewo enkola ey'obwangu buli kimu okutambulira mu budde.

Ng’enda kulwana okulaba nga Muteesa I efuuka yunivasite  esinga ettutumu mu ggwanga. Nneesanze nga waliwo obuzibu mu kunoonyereza, ntandiseewo enkola y'okunoonyereza (research) era ntandise okufunayo amakampuni n’ebitongole ebinaatuyambako ku nsonga eno.

Kati tulina abayizi 4,500 naye njagala mu myaka etaano gye ngenda okufuga tutuuke ku bayizi 10,000 n'okusingawo.

Nsuubira okuzimba ebizimbe ebipya ebituweesa ekitiibwa nga ssettendekero.

Yunivasite yaakutuuka  mu butale Ng’enda kuleeta emikwano okuva mu matendekero aga waggulu mu nsi z'ebweru w'eggwanga tukolaganire wamu buli omu ayigire ku munne ebizimba.

Njagala kuteekawo enkola y'okuyamba abaana abatasobola kwetuusaako buyigirize bwonna nga tubakozesa emirimu gy'ettendekero ng'ate bwebasoma.

Ng’enda  kuteekawo enkola y'okusomesa abantu abakulu abali mu mirimu gyabwe nga tubasomeseza eyo ku mirimu gyabwe era mu bwangu ddala ng'enda kutandika n'abasuubuzi mu katale ka Owino. Nsuubira awo tujja kwongera okugasa abantu ba Buganda. 

Ng'enda kwongera amaanyi mu kusomesa abasibe  abali mu makomera okubazza mu mbeera z'obuntu okubakyusa n'okubawa essuubi ly'okubeera mu bantu nate nabo babeere ba mugaso eri eggwanga.

Ebirala..  

Polof. Sserwanga: Omusuubuzi w’ettaka akulira Yunivasite ya Buganda

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Leb2 220x290

Emmotoka mwe ntambulira etuuse...

Emmotoka mwe ntambulira etuuse okunsuza ku kkuno-Bp. Ssebaggala

Pop1 220x290

Aba Poliisi ababadde bavunaanibwa...

Aba Poliisi ababadde bavunaanibwa okutta Kirumira bateereddwa

Pi3 220x290

Apass ajereze Kenzo ne Fik Fameica....

Apass ne Eddy Kenzo bawakana ani asinga okwesala emisono wabaluseewo olutalo lw'ebigambo

Sev2 220x290

Pulezidenti asisinkanye abagagga...

Pulezidenti asisinkanye abagagga abalwanira ebizimbe mu Kampala

Muh1 220x290

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo...

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo Muhangi bw’abataddeko