TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Poliisi ekutte omusajja omulala ku bya Mweruka

Poliisi ekutte omusajja omulala ku bya Mweruka

By Musasi Wa

Added 7th February 2015

Poliisi ekutte omusajja omulala agambibwa okwenyigira mu kusaasaanya akatambi k’obuseegu akagambibwa okubaamu Robinah Ssanyu Mweruka.

2015 2largeimg207 feb 2015 132614580 703x422

Bya Meddie Musisi


Poliisi ekutte omusajja omulala agambibwa okwenyigira mu kusaasaanya akatambi k’obuseegu akagambibwa okubaamu Robinah Ssanyu Mweruka.

Phillip Nyeihangane amanyiddwa nga Mwanawabandi akolera ku Majestic Plaza ku Luwum Street y’akwatiddwa ku Lwokuna. Atunda ntambi za nnyimba ne firimu.

Okumukwata kyaddiridde poliisi okukwata Kasumaali Kizito Ongom agambibwa nti y’alabikira mu katambi k’obuseegu.
Kigambibwa nti Kasumaali yategeezezza poliisi nti akatambi kano yasooka okukamanya mu 2010 era Mwanawabandi (eyakwatiddwa) ye yakamutegezaako.

Ye Kasumaali yayimbuddwa ku Lwokuna akawungeezi ku kakalu ka poliisi kiwe omukisa abaserikale okwekebejja obutambi obusoba mu 20 obwaggyiddwa mu situdiyo ya Kasumaali e Makindye.

Poliisi era yatutte kompyuta (laptop) ya Kasumaali gy’akozesa mu kukwata ebifaananyi n’ennyimba bya bakasitoma be. Kompyuta eno egambibwa nti kwakolera n’obutambi.

Poliisi eyagala okuzuula oba obutambi buno nabwo buliko bya buseegu.
Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango yagambye nti Mwana-wabandi ne Kasumaali bombi babanoonyerezaako ku by’akatambi k’obuseegu.
Yagambye nti bajja kukwata abo bonna abanaazuulwa nga beenyigira mu kusaasaanya obutambi bw’obuseegu.

Kasumali Alina by’agamba

Kasumaali yategeezezza nti alagidde balooya aba Ssajjabbi & Co Advocates okumuyamba okussa envumbo ku basaasaanya obutambi obugambibwa nti ye yennyini abulimu.

Bizinensi y’okusaasaanya obutambi bw’obuseegu y’emu ku zisinga okufuna mu nsi yonna nga kati Abazungu bagiteekamu ssente ne bakwata ebifaananyi by’abawala mu Uganda n’amawanga amalala nga bali mu kikolwa ky’okwegatta ne babutunda mu Bulaaya.

Nyeihangane eyakwatiddwa

Ssanyu ayogedde ku kukwatibwa kwa Kasumaali ne munne:

Ssanyu bwe yabuuziddwa ku kya poliisi okukwata Kasumaali ne Mwana - Wabandi.
Yazeemu nti, kirungi poliisi ekole omuli gwayo wadde ng’ensonga ezikutte mpola. Nnali nagituukirira dda n’enziggulawo omusango olw’abantu abaagala okwonoona erinnya lyange.

Mmaze okuwa poliisi nnamba y’essimu kwe bansindikira obubaka obuntiisatiisa nga baagala okunzigyamu ssente. Yatandika okunoonyereza n’ekizuula nti nnamba eno ya Phillip Nyeihangane era waliwo n’olupapula lw’amawulire olwawandiise nga lulaga nti ali mu lukwe lw’okusaasaanya akatambi kano.

Kale bwe bantegeezezza nti bamukutte kimpadde essuubi nti abali emabega w’akatambi kano omuli n’abateekamu ssente okukasaasaanya n’ebigendererwa byabwe byonna bigenda kuzuuka kubanga bino bye nsinga okwagala okumanya”.

 Famire ya Mweruka evumiridde eyasaasaanyizza akatambi

eno y’ebbaluwa eyawandiikiddwa Muky. Rose Nalubowa, mukulu wa Pascal Mweruka ng’evumirira akatambi ak’obuseegu;

Ku lw’enju ya Mw. Pascal Mweruka, nsaba n’obuwombeefu bannamawulire baffe naddala ab’omulembe guno okwewala omuze gw’obuseegu guno, okwonoona amannya g’abantu olw’obusente obutono obubaweebwa.

Nze mu kulaba kwange, abakola kino muli baseegu nnyo n’okusinga abo be mwonoona. Tukimanyi nti tekinologiya wa leero, osobola okumuzannyisa nga bw’oyagala okutuukiriza ekigendererwa kyo. 

Kasumaali

Robinah mukyala waffe gwe twawasa, ffe nga aba famire ya Mweruka Pascal tumumanyi, era twagala okubakakasa nti tewali kye mujja kwogera oba okukola ekiyinza okukyusa endowooza yaffe gy’ali. 

Bino bye mukola byongera okunyweza okwagala kwaffe gy’ali era tujja kwongera okumukuuma n’okumutaasa ku malindirizi ago.

Eri Robinah, mukyala waffe gwe twagala ennyo, ffe nga famire tugenda kukuteeka mu ssaala zaffe era beera mugumu. Ekisinga obukulu ye ggwe ne Pascal era nga tukakasa nti omukwano gwe mulina wakati wammwe gujja kutuwa ekikubagizo wakati wa famire zombi. 

Eri mmwe ababaka ba sitaani abeekwese mu ddembe ly’amawulire n’abo bonna abali emabega wammwe, Mukama abayambe okwawula ekituufu ku kikyamu. Ekyo bwe kiba kigaanyi, mugezeeko awalala naye katemba wammwe ku Robinah ne Pascal tumukooye.

 

 

 

 

 

 

 

Poliisi ekutte omusajja omulala ku bya Mweruka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA