TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Eggwanga liirino abakazi gye bafuga abasajja

Eggwanga liirino abakazi gye bafuga abasajja

By Musasi Wa

Added 8th July 2015

GGWE omusajja alowooza nti oli waakitalo wulira bino. Liirino eggwanga erya Tuareg, abakazi gye bafukamiza abasajja era nga singa libadde mu Uganda, sirowooza nti waliwo omusajja eyandigumidde obuwangwa bwalyo.

2015 7largeimg208 jul 2015 094523850 703x422

Bya MUSASI WAFFE

GGWE omusajja alowooza nti oli waakitalo wulira bino. Liirino eggwanga erya Tuareg, abakazi gye bafukamiza abasajja era nga singa libadde mu Uganda, sirowooza nti waliwo omusajja eyandigumidde obuwangwa bwalyo.

Mu ggwanga lino abakyala be bafuga abasajja. Be basalawo kumpi ku buli kintu eky’ensonga omuli n’okugabira abasajja ebisanja n’ennaku z’okunyumizaako akaboozi mu bufumbo.

Abasajja abamu be basigala awaka okulera abaana ng’abakyala bagenze okunoonya ensimbi.

Wano ng’omusajja ayimbira bbebi.

Abakazi babeera n’obusiisira ng’abasajja bayingirayo kiro okunyumya akaboozi ate ne bavaayo ng’obudde tebunnalaba. Kuno bagattako n’okubawa essaawa kwe balina okukanyumiza.

Abakyala bano omugenyi bw’abakyalira (ng’amba okufuna obwagazi) nga batemya ku basajja okugendayo bakiike.

Wadde mu ddiini y’Obusiraamu kimannyiddwa nti abakyala be balina okwebikkirira, mu ggwanga lya Tuareg si bwe kiri. Sso nga ggwanga erisangibwamu Abasiraamu bangi. Eno abasajja be beebikkirira era ffeesi yonna bagisiba ne balekawo maaso gokka.

Bbo abakyala bagamba nti obuteebikkirira baagala abasajja balabe obulungi bwabwe. Abasajja batandika okwebikkirira nga bakyali bavubuka, kino bakikola ekiseera kyonna okuggyako nga bali mu maaso ga bakyala baabwe ne mu buliri.

Eggwanga lino lirina n’ebyewuunyisa ebirala bingi ebyongera okulaga engeri abakyala gye baatuulamu abasajja ku nfeete!

Mu mawanga agamu ag’Abasiraamu, abakazi be beebikkirira. Naye mu ba Tuareg abasajja be beebikkirira nga bw’olaba ono.

Abakyala be balina obuvunaanyizibwa ku nsiisira mwe basula. Nkulu nnyo mu ggwanga lino.

Oba okyatenda bya mukazi okusalawo ddi lw’olina okunyumya naye akaboozi, ate wulira bino ebimalamu amaanyi. Mu ggwanga lya Tuareg, abakyala be basajjalaata.

Nga ggwe bw’onowasa omukazi asukka mu omu oba okuba ne haki nnya eri Abasiraamu, eno omusajja abeera n’omukazi omu ate omukyala n’aba n’abasajja b’ayagala era y’avunaanyizibwa ku kugaba ebisanja. Kati ggwe ow’ebbuba totawaana kugendayo.

Olaba n’abawala abato abatuuse okuganza abasajja balina eddembe okufuna abasajja be baagala!

N’abawala abato Abatuareg abatuuse okuganza abavubuka oba abasajja, baddembe okuganza omuwendo gw’abasajja bonna be baagala okutuusa lwe balondamu abo ababasanyusa ne babawasa, sso ng’abavubuka balina okwekuumira ku mukazi omu! Ate mwattu eno abakazi be beekwanira abasajja!

Bano obutafaananako mawanga malala nga wano mu Uganda, gye baali basibira abakyala emmanju, lino eggwanga bakikola kifuulannenge kuba abasajja be basibira emmanju.

Mu nkiiko z’ebyalo abakazi bajjira ku mbalaasi era basigala batudde waggulu ng’olukiiko lugenda mu maaso. Ate ebirowoozo byabwe babigulumiza nnyo. Wabula basajjabattu bo batuula wansi era omukisa okusalawo eby’enkizo mutono ddala.

Abakyala nga batuuka mu lukiiko lw’ebyobufuzi. Ebirowoozo byabwe babikkiririzaamu nnyo.

Maapu eraga eggwanga lya Tuareg.

Okumanya bano abakyala bakajjala ku basajja, be babeera bannannyini maka, ebisolo byonna okuli embuzi, endiga n’ente. Olw’okuba eggwanga lino liri mu ddungu, batambula okuva mu kitundu ekimu okudda mu kirala gye bazimba obusiisira. Zino ziba z’abakyala mwe bawasiza abasajja.

Ate ssinga omukazi akugoba tewali kuloopa n’okuwoza nti, ‘‘ate bino twabikola ffenna’’.
Singa eno embeera ye yali ku basajja bakuno abatayagala kukola n’okulabirira abaana, bandibadde bakuba bulatti. Bbo bandikozenga gwa kuzaala nga badduka ng’olwo omukazi abonaabona n’abaana be.

Omukyala ono tekimugaana kukuboggolera ate bw’omuleetako eggume oba okumuddamu n’ebbogo akuyisaako kibooko sinnakindi okukugoba mu maka n’onoonya ekibanja awalala.

Eno abasajja be balera abaana. Omukazi aleeta ebikozesebwa naye eby’okumulabirira okugeza okumuwa caayi, okumulongoosa ng’akoze ppupu, okumwambaza n’okumuyimbira obuyimbi bwa ‘ttengerere omwana ayimiridde’ bikolebwa musajja.

Omukazi ng’ataddeko ebyokwewunda omusajja kw’alabira nti omukazi ali mu mmuudu y’okunyumya akaboozi.

Mu lino eggwanga, abazadde bwe baawukana, omukazi y’asigaza abaana okubalabirira.

Ebirala ku ggwanga lino
Eggwanga lino lisangibwa mu Nigeria, Mali, Burkina Faso, Libya naye abasinga bali mu Niger ne Algeria.

Balunzi era batambulira nnyo mu ddungu nga banoonya omuddo n’amazzi eby’okuliisa ensolo zaabwe.

Boogera olulimi lwe bayita ‘Berber’. Basiraamu, naye enkola yaabwe eyawukana nnyo ku nkola z’Abasiraamu okuva mu mawanga amalala.

Abawala nga bali mu lukiiko

Eggwanga liirino abakazi gye bafuga abasajja

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Uganda4 220x290

Onyango n'abawagizi basiimye ebitone...

Bayo, yazannye eddakiika 90 so nga Okello yazannyeko 25 oluvannyuma lw’okuyingira mu kifo kya Kizito Luwagga.

Villapolice04 220x290

Villa ekaabirizza Onduparaka omwayo...

Ggoolo ya Emma Kalyowa mu ddakiika eyookutaano, Faizol Muwawu (14) ne Fahad Bardiro (91), ze ziyambye Villa okuwangula...

Capture 220x290

KCCA eggadde woteeri: Babadde bafumbira...

KCCA eggadde woteeri: Babadde bafumbira emmere mu kaabuyonjo

Capture 220x290

Abatuuze beekoledde oluguudo: Bakukkulumidde...

Abatuuze beekoledde oluguudo: Bakukkulumidde abakulembeze obutabayamba

Capture 220x290

Ssaabavvulu Balaamu akubuulira...

Ssaabavvulu Balaamu akubuulira gyenvudde we: 'Maama wange yatundanga waragi okunsomesa'