TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Bapulezidenti ba Afrika n’emisala gye bafuna

Bapulezidenti ba Afrika n’emisala gye bafuna

By Musasi Wa

Added 5th August 2015

BANNANSI mu mawanga ga Afrika bangi baavu. Abamu bw’alya ekyemisana ekyeggulo takirabako kyokka abakulembeze abamu bagagga bavundu.

2015 8largeimg205 aug 2015 184309450 703x422


Bya MUSASI WAFFE
BANNANSI mu mawanga ga Afrika bangi baavu. Abamu bw’alya ekyemisana ekyeggulo takirabako kyokka abakulembeze abamu bagagga bavundu.

Basusse okwejalabya, okwewa emisaala emisava n’ensako. Okusinziira ku lukalala lw’emisaala gya bapulezidenti ba Afrika gyalaze nga Pulezidenti wa Cameroon Paul Biya y’asinga okufuna ssente ennyingi.

Omwaka asasulwa obuwumbi bwa doola za Amerika 200 (eza Uganda obuwumbi emitwalo 70 buli mwaka) nga totunuulidde nsako ndala gy’afuna nga pulezidenti. Afuze eggwanga lino okuva mu 1982 okutuusa kati. Gy’emyaka 33.

Ennyonyi y’ekika kya Boeing eya Pulezidenti Biya ey’obwannannyini

Yazaalibwa nga February 13, 1933 kati aweza emyaka 82. Mukyala we ye Chantal Biya gwe yawasa mu 1994 ng’amaze okwawukana ne Jeanne Atyam gwe yasooka okuwasa mu 1960. Alina abaana okuli Franck Biya, Anastasia Brenda Biya Eyenga, Paul Biya Jr.

Ng’oggyeeko okwesasula omusaala omusava, yeejalabya nnyo. Alina ennyonyi y’ekika kya Boeing 767-200 emutambuza. Kuno agattako okugenda mu kuwummula okutakoma ng’ate abeera mu bifo eby’ebbeeyi mu Bufaransa naddala wooteeri ya La Baule gye basasula 132,000,000/- buli lunaku.
Oluusi atambula ne mukyala we.

we wamu n’abayimbi baabwe ne bapangisa ebisenge ebisukka mu 60 olwo ne bonoona omutitimbe bw’ensimbi. Kino kyanyiiza Bufaransa kubanga yali yakeeyama okubawa obuyambi bwa bukadde bwa Euro 537 basobole okusasula ku mabanja n’okulwanyisa obwavu.

Wooteeri ey’ebbeeyi mu Bufaransa, Biya ne famire ye gye bawummulira.

Biya yalaba beewuunyizza nnyo okuwummulira mu kifo eky’ebbeeyi bwe kityo n’abategeeza nti “guno mulundi gwakusatu nga tujja okuwummulirako wano waliwo mikwano gyaffe bangi era twesunga okukomawo”.

Abafaransa kyabanyiiza ne bategeeza nti omukulembeze waabwe tasaasaanya ssente bw’atyo era ne pulezidenti Obama bwe yali agenzeeyo okuwummulako ne famire ye tebaakozesa ssente ng’ezo. Cameroon ggwanga erifumbekeddemu obwavu obuwunya ne ku bantu.

Kyokka obuli bw’enguzi, abakulembeze okwejalabya n’ekirwadde kya mukenenya ekibamalawo be baana baliyo.

Era wano mukyala we Chantal Biya we yatandikira kaweefube okutandikawo ekibiina ky’obwannakyewa ‘‘African Synergy’’ okutumbula ebyenjigiriza n’eby’obulamu nga bazimba obulwaliro obutono, okugaba eddagala eriweweeza ku mukenenya kyokka nayo bakaaba nti ssente eziyitiramu okubbibwa zikubisa mu buyambi obuweebwa emirundi egiwera.

Moncef Marzouki
Ono ye yali Pulezidenti wa Tunisia. Yalaba embeera emwonoonekedde n’alangirira nti omusaala gwe agusaze okuva ku 583,664,400/- okudda ku 19,4554,800/- naye tekyamutaasa bannansi ne bamusindiikiriza.

Kabaka Eduardo dos Santos

Pulezidenti Eduardo dos Santos (ku kkono) owa Angola afuna doola 5,000 buli mwezi eza Uganda 17,400,000/- kyokka y’omu ku bakulembeze abasinga obugagga mu Afrika.

Eby’obugagga ebisinga abiyisa mu bang’anda ze era mugagga ffugge alina ebizimbe n’obugagga obulala mu mawanga amalala.

Ono alina ebyobugagga mu Angola ne Portugal omuli: kkampuni z’essimu, Banco Bank, emigabo mu kkampuni z’amafuta, emigabo mu Cable Tv ne kkampuni y’ebyempuliziganya, Miami Beach n’ebirala.

Ebisinga muwala we Isabel Santos y’abiddukanya era naye mugagga muvundu.

Uhuru owa Kenya akwata kya musanvu
Uhuru Kenyatta owa Kenya afuna 501,600,000/- so nga yalangirira nti yagusalako ebitundu 20 ku 100 okusinziira ku musaala gwe yasangawo.

Ono y’asinza ettaka mu Kenya ng’aweza yiika 500,000, alina Brookside Dairies esinga obunene mu Kenya, Ethiopia ne Nigeria, Heritage Hotels, alina emigabo mu K24 TV, ye nnannyini Commercial bank e Nairobi, Great Rift Valley Lodges, Kameme Fm, Peponi School n’ebirala bingi.

Uhuru Kenyatta ne famire ye

Obugagga mbufunye mu nte – Museveni

Pulezidenti Museveni y’omu ku bakulembeze ba Afrika abasinga okufuna omusaala omutono. Waakubiri okuva wansi okusinziira ku lipoota eyafulumye.

Yategeezezza nti afuna 43,199,000/- omwaka ate nga mu 2011 yali afuna obukadde 36. Museveni alina ffaamu y’ente e Kisozi, Rwakitura n’e Ng’oma era agamba mwaggye obugagga.

Pulezidenti Museveni

Bapulezidenti ba Afrika n’emisala gye bafuna

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabuzi1 220x290

Uganda ekubye Malawi 2-0 n'ewaga...

MU Mupiira, waliwo enjogera egamba nti tewali buwanguzi bubi, wabula waliwo bw’otuuka ekiseera ng’olina okutunuulira...

Gendako 220x290

Engeri okwanjula kwa Hamza gye...

Ebika bibiri eky’Endiga n’Ekyolugave Rema mw’azaalwa byali tebimanyiganye era nga tebasisinkanangako.

Bwama 220x290

Rema annyonnyodde by'ayiseemu ng'anoonya...

Rema yabattottolera obuzibu bwe yayitamu ng’anoonya ekika kye. Nti olumu Rema yasisinkana Ssenga we Nabatanzi ku...

Laga 220x290

Rema yasoose kukolebwako mikolo...

E Kyengera mu wiiki eddirira emikolo, Rema yasoose kukolebwako mikolo gya buwangwa okwanjula Hamza, Rema yali ne...

Buuza 220x290

Embaga ya Rema eriko ebibuuza

Kirumira yagasseeko nti ennaku z’omwezi baakuzitegeeza abantu mu kiseera ekituufu; n’annyonnyola nti enteekateeka...