TOP

Embaga ez’ebyewuunyo mu nsi yonna

By Musasi Wa

Added 26th August 2015

OMUKAZI embeerera afumbiddwa mu bufumbo obutukuvu ne Yesu. Agenze mu Klezia n’akuba ebirayiro ne bamunaanika n’empeta.

2015 8largeimg226 aug 2015 151816963 703x422

Bya Musasi waffe


OMUKAZI embeerera afumbiddwa mu bufumbo obutukuvu ne Yesu. Agenze mu Klezia n’akuba ebirayiro ne bamunaanika n’empeta.

Jessica Hayes, 38 omusomesa w’eby’eddiini ku Bishop Dwenger High School e Fort Wayne, mu Buyindi ye yakoze embaga n’agamba nti talina musajja mulala gw’ayinza kwegomba wadde okwegatta naye oba okuzaalira omwana.

Yategeezezza nti aludde ng’alowooza ku kyambalo kyayinza okwambala ne kiweesa Mukama ekitiibwa. Bwatyo n’afuna ekiteeteeyi ekyeru nga kiwanvu ekibikka ekifuba, amagulu era omukolo gwe gwabadde gwa kitiibwa.

Omusumba Kevin C. Rhoades mu Klezia ya Immaculate Conception ye yakulembeddemu omukolo guno. Yategeezezza nti Jessica bw’abeera asazeewo okwewa Yesu kikkirizibwa kyokka alina kuba mbeerera obulamu bwe bwonna.

W’osomera bino ng’abakyala abeewadde Mukama nga Jessica bawera 3,500 mu nsi yonna kyokka tebabeera mu bigo ng’abasiisita. Jessica olwavuddeyo n’addayo ku ssomero. Abayizi baamusanyukidde nga bwe bamubuuza nti, ttica, kati tukuyite Muky. Yesu? Yabazzeemu nti nedda nkyali musomesa Hayes era hhenda kusigala nga mbera mu bulamu bwange obwa bulijjo wabula siyinza kufumbirwa musajja mulala yenna wadde okwegatta naye.

EBISAANYIZO BY’ABAKAZI ABAFUMBIRWA YESU:

Olina okuba omukazi omukulu, omukatoliki nga tofumbirwangako wadde okwegatta n’omusajja era nga mwetegefu okubeera bwatyo obulamu bwe bwonna.

Okwawukanako n’abasiisita, bano tebakuba birayiro bya bwavu n’obuwulize. Ayambala ekyambalo kyeru ng’akuba ebirayiro, n’abikka ku mutwe era anaanikibwa empeta.

Omukazi ng’ayiira abagole ebicaafu omubeera ebimere, enva n’ebisooto.

Tewali mulimu gubakakatako mu Klezia kyokka bakkirizibwa okweyama okukola nga bannakyewa mu bitongole bya Klezia.
Oteekwa okuba nga teweetabangako mu bikolwa bikontana na njigiriza ya Klezia.

Omukazi eyakabasanyizibwa abasajja nga teyeesiimidde asobola okukkirizibwa okuyingira obuweereza buno.
Abakazi abalala abatutte obufumbo obw’engeri eno kuliko Abamerika nga: Munnamateeka Julie Pasteur, eyali kapiteeni mu magye ga Amerika, omusuubuzi Eileen Belongea Waukesha, Wisconsin.

AMAWUUNO KU MBAGA MU MAWANGA AG’ENJAWULO:
SCOTLAND: Bano bakuhhanya ebintu ebikyafu okuli ebisooto, emmere n’enva ebiremye, sosegi ezigaze n’ebirala ne babiteeka mu bbaketi okumala enanku ne babiyiiya abagole. Kitegeeza nti bw’aba asobola okugumira embeera eno n’obufumbo ajja kubugumira.

Omugole omusajja mu Romani ne banne nga bawambye omukazi bamutwala.

BUFARANSA: Omukolo gw’embaga nga guwedde, bakwata emmere esigaddewo n’enva n’obukunkumuka ne babiyiwa mu kibakuli kya kaabuyonjo ey’amazzi ne batabulamu ‘cokoleti’ ne babiteeka mu kisenge mwe bagenda okusula.

Obufumbo tebubeeramu birungi byokka. Kati bw’oba osobola okulya ebintu nga bino obeera ojja kumalako mu mbeera yonna.
ROMANI: Omusajja awamba omuwala gw’ayagala okuwasa oba okukkaanya ne babulawo ng’abazadde tebabakkirizza. 

Ekigendererwa kiri nti singa omusajja asobola okubeera n’omukazi okumala ennaku 3 nga tebamuzudde, abeera asobola okumuwasa n’okumulabirira mu mbeera yonna.

CHINA: Obuwangwa bw’aba Yugur, omusajja akwata akasaale akataliiko kuuma kafumita n’akuba omukazi emirundi esatu. Nga biwedde omukyala akwata akasaale n’akamenyaamenya ekikakasa nti bajja kubeera bombi mu bulungi ne mu bubi.

GERMANY: Eno abagenyi baleetera abagole ebirabo bye bibakuli eby’ebbumba. Abagole babikwata ne babyasaayasa, n’okwasa ebintu ebirala nga bagamba nti amaloboozi agabivaamu gagoba emizimu n’emyoyo emibi.

Bano embaga baagikolera ku bugaali. Bwe baatuukanga mu kkubo nga beekuba kiisi.

BAMASSAI: Bano ku mbaga, taata w’omugole amuwa emikisa ng’amufujjira amalusu ku mutwe ne ku mabeere.
Olumaliriza ng’omusajja atwala mukyalawe okuva ku kyalo era batambula mukungujjo tebaddamu kutunula mabega nga kigambibwa nti singa batunulayo bayinza okufuuka ejjinja.

SWEDEN: Omusajja omugole alaba embaga eneetera okuggwa, agendako mu kinaabiro n’omukazi n’agenda mu kikye.
Abasajja balumba omugole omukazi ate abakazi ne bagenda mu kinaabiro ky’omusajja ne babanywegera. Babeera balwana buli omu obutasubwa mukisa guno.

BUYINDI: Omugole bw’aba anaatera okutuuka we babagattira, aggyamu engatto olwo ab’oludda lw’omukyala n’omusajja ne batandika okuzirwanira nga buli bamu baagala okuzisigaza. Singa abooluganda lw’omukazi bagitwala olwo omusajja alina omuwendo gw’ateekwa okusasula ne bagimuddiza. 

Embaga ez’ebyewuunyo mu nsi yonna

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

No Matching Document

Emboozi endala

Wano 220x290

Abali ku gw’okutta Magara beeyongeddeyo...

EBY’OKUTULUGUNYA Abasiraamu abagambibwa okutta Susan Magara bikyalanda. Ensonga bazongeddeyo mu kkooti enkulu y’eba...

Bobiwine 220x290

Babakutte n'emijoozi gy'abawagizi...

Eggulo abavubuka ba DP bakwatiddwa n’emijoozi egisoba mu 500 ne giyoolebwa okumpi ne ofiisi zaabwe nga kigambibwa...

Pala0 220x290

Boogedde ebikankana mu kuziika...

DR. David Mugimu eyafudde ng’alumiriza abaserikale okumunyagako obulindo bw’ensimbi, eggulo yaziikiddwa e Kagganda...

Occc 220x290

Abagagga 36 baggyiddwaako abaserikale...

ABAGAGGA mu bitundu bya Kampala, Wakiso, Mukono, n’awalala baggyidwaako abaserikale abaabaweebwa eyali akulira...

Nyimba 220x290

Balaze embalirira y’ensimbi z’emisinde...

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga yeebazizza minisitule y’ebyobulamu olw’okukwata obulungi ebintu Obwakabaka bye bwagiwa...