TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Abaagala Obwakabaka bwe mulonda Mbabazi oba Besigye nga mweziise

Abaagala Obwakabaka bwe mulonda Mbabazi oba Besigye nga mweziise

By Musasi Wa

Added 30th September 2015

Ekiseera kino buli Munnayuganda ali mu keetalo okwetegekera okulonda Pulezidenti, ababaka ba Palamenti, aba LC 5, LC 3, LC 2, ne LC 1.

2015 9largeimg230 sep 2015 160538957 703x422

Bya Robert Ssebunnya

Ekiseera kino buli Munnayuganda ali mu keetalo okwetegekera okulonda Pulezidenti, ababaka ba Palamenti, aba LC 5, LC 3, LC 2, ne LC 1. Ate era ebbugumu lya maanyi nnyo ng’ebibiina by’obufuzi bigenda mu kamyufu n’okulonda abanaabikwatira bendera mu kalulu akajja.

Ku mulundi guno akalulu kajja kuba ka maanyi kuba abantu bangi abavuddeyo okuvuganya ku bwapulezident n’ebifo ebirala ebikulu mu ggwanga.

Ne ku mulundi guno abantu bangi bajja kwewuunya ekinaava mu kulonda anti bangi bajja kusuulibwa olw’abalonzi okufuna obumanyirivu ku bantu be baagala ate abakozi.

Mu kitundu kyaffe kino ekya Buganda, abantu bangi beeyambisizza Buganda okufuna ebifo eby’oku ntikko ng’okufuna obubaka mu Palamenti oba disitulikiti ng’abamu beeyambisa erinnya lya Ssaabasajja Kabaka. Abalala bategeeza abalonzi nga bwe baagala ennyo Kabaka n’Obwakabaka.

Obuganda kati bulina nnyo okutunuulira abo abeesimbyewo n’okwekenneenya wa gye bavudde, ebikolwa byabwe, obuwagizi bwe balaze mu lugendo oluzibu ennyo olw’okutuusa Buganda ku ntikko.

Tulina okuvaayo n’amaanyi ku mulundi guno okwesoosoowaza ku buli nsonga yonna eyinza okuleeta obukulembeze obukyamu, ate ne tufiirwa ebyo bye tukoze, bye tufunye mu myaka 30 egya NRM ne Pulezidenti Museveni.

Besigye

Ebyali e Gulu
Mu lukiiko lwa bannamagye olwali e Gulu era olwavaamu ekiteeso ekyazza Obwakabaka, abakulembeze abamu kaakati abaagala okulya Obwapulezidenti baasimba ekkuuli nga munywanyi waffe Pulezidenti Museveni alafuubana okuzzaawo Obwakabaka mu Uganda.

Tuleme kwerabira abo abaategeeza Museveni nti okuzzaawo Obwakabaka kuba kukomyawo ‘Baganda era batulinnye ku nfeete!’ Muno mulimu Col. Kiiza Besigye, Col. Sserwanga Lwanga kati omugenzi, n’abamagye abalala bangi abaali batawagira nsonga ya kuzzaawo Bwakabaka. N’olwekyo kimanye nti bw’obalonda era bajja kubuggyawo kuba tebabwagalangako.

Abantu abamu mu Buganda kati bajajjatta eyaliko Katikkiro Amama Mbabazi ne Col. Kiiza Besigye naye bombi balowooza kimu ku nsonga ezikwata ku Bwakabaka. Tebabwagala!

Omu ku bantu abadde omuziziko gw’okugonjoola ensonga za Buganda ye Amama Mbabazi.

Enteeseganya Pulezidenti Museveni z’abaddemu n’abakungu ba Ssaabasajja ezimu zaagendanga bulungi naye ate endala nga tezirina gye ziraga olw’obukodyo obweyambisibwanga Mbabazi.

Nzijukira olumu Pulezidenti yandagira okuleeta abamu ku bakungu ba Ssaabasajja okuva e Mmengo okwogera naye ku nsonga ezikwata ku kugonjoola ensonga za Buganda.

Nnakikola era Katikkiro n’alonda ttiimu ye eyakulemberwa owek. Jolly Lutaaya eyali Minisita wa gavumenti ez’ebitundu e Mmengo, Owek. Kaddu Kiberu, Dr. Masagazi Masaazi, owek.Tofiri Malokweza, Owek. Ssevume Musoke eyali Mugerere. Ku ludda lwa Pulezidenti waaliyo omuwandiisi we ow’ekyama Amelia Kyambadde kati Minisita w’amakolero n’obusuubuzi nange.

Owek. Jolly Lutaya yayanjula bulungi ensonga za Buganda era n’ategeeza Pulezidenti nti Mmengo eyagala ensonga zino ziggwe mu mirembe, mu mukwano, mu kwagala. Pulezidenti yategeza ttiimu ya Katikkiro nti omwoyo omulungi gwe balaze tewali nsonga yonna eyinza kulemesa ensonga za Buganda kuggwa bulungi.

Oluvannyuma lw’ensisinkano eno, Pulezidenti yandagira okuleeta Katikkiro JB Walusimbi okumusisinkana era olukiiko lwalimu abantu bana: Pulezidenti, Katikkiro Walusimbi, Robert Ssebunnya ne Amelia Kyambadde.

Pulezidenti yategeeza Walusimbi nti ebintu byonna ng’ebyapa by’ettaka eby’amasaza, amagombolola, amabanja gonna n’ebirala ajja kubizza era abituukirize mu bwangu.

Ekiro ekyo Pulezidenti yakwata ekkalaamu era mu mukono gwe n’awandiikira Ssaabasajja ebbaluwa ng’akomyawo ebintu byonna ebya Buganda n’awa n’ensonga ze lwaki abikomezzaawo. Enkeera nnayitibwa okumusisinkana e Nakasero.

Mw. Mbabazi yansangayo, era Pulezidenti twamulaba ffembi. Pulezidenti yatusomera ebbaluwa gye yali awandiikidde Ssaabasajja ku nsonga za Buganda. Waliwo ebintu ebimu ebyali biteekeddwa okubeera mu bbaluwa eyo ebikwata ku Twekobe ne mbijjukisa Pulezidenti.

Mbabazi yategeeza Pulezidenti nti amateeka mu Konsitityusoni ageeyambisiddwa mu bbaluwa si matuufu nti era Palamenti eyinza okumuvunaana! Pulezidenti yagamba nti bwe kiba bwe kityo, ye Mbabazi, Amelia Kyambadde nange tuddeyo tuyite mu bbaluwa nga tutereeza eby’amateeka. Kkopi y’ebbaluwa Pulezidenti gye yali awandiise yagituwa.

Ekyennaku, Amama Mbabazi yalina ebigendererwa bye birala nnyo era kyankaluubirira nnyo ng’amaze okufuna ebbaluwa ya Pulezidenti okutuula naye tumalirize ensonga.

Nnamala emyezi kumpi etaano nga nnemeddwa okusisinkana Mbabazi ku bbaluwa ya Pulezidenti! Mu mwezi ogwomukaaga, Muky. Amelia Kyambadde yampa amagezi g’okuwandiikira Pulezidenti ku nsonga eno nga tumaze okulaba nti Mbabazi eby’okuzza ebintu bya Buganda si by’aliko.

Oluvannyuma Mbabazi nnasobola okumulaba ne mmutuulirira era mu buwaze ne tugenda mu ofiisi ye e Kololo. Twatandika okukola ku bbaluwa ya Pulezidenti, abaayingira mu ofiisi ku ssaawa nga 12:00 ez’akawungeezi twagimaliriza ku ssaawa nga 5:00 ez’ekiro! Kyokka wadde ebbaluwa twagimaliriza, nnagimusaba n’akomba kw’erima!

Yang’amba nti y’ajja kugitwalira Pulezidenti. Ne gye buli eno, ebbaluwa eyo Pulezidenti tagifunanga! Nze ne Kyambadde twajjukiza Mbabazi okumala emyezi ng’ena nga tusiwa nsaano ku mazzi, ng’alabika si by’aliko!

Ne bwe yalondebwa okubeera Katikkiro, nneeyongeranga okumutegeeza ku nsonga eyo naye nga tekiri mu mutima gwe okugonjoola ensonga eyo era kyewuunyisa nti ebintu bya Buganda ebisinga Pulezidenti bye yali asazeewo okuzza mu 2009 byaddizibwa Ssaabasajja jjuuzi nga Pulezidenti amaze kumugoba ku bwakatikkiro.

Mbabazi kye yakola ku bbaluwa ya Pulezidenti kyanyiiza abantu bangi omuli ne muto wa Pulezidenti, Gen. Salim Saleh, era ye yavaayo mu lujjudde ne mu mpapula z’amawulire n’alangira Mbabazi okukyayisa Gavumenti ya NRM eri Obuganda ne Gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka.

Dr. Robert Ssebunnya muwabuzi wa Pulezidenti ku nsonga za Buganda.

Ebyo si bye byokka Mbabazi by’akoze ku nsonga za Buganda, mujjukire nti ye yaleeta etteeka erikugira Bakabaka okugenda ebweru nga tebafunye lukusa!

Pulezidenti Museveni yazzaawo Obwakabaka mu kwagala, mu bulungi, mu kuteekawo enkolagana ennung’amu eyinza okuleeta emirembe mu ggwanga naye tuteekwa okubeera abavumu mu kusalawo ani eteekwa okukuuma eddembe n’Obwakabaka bwaffe.
Era omuntu oyo ye Pulezidenti Museveni eyazzaawo obwakabaka era abulwaniridde. Sso si Besigye, si Amama Mbabazi atalowooleza mu Bwakabaka. Abalonzi mulowoze nnyo ku nsonga ya Museveni ne Mbabazi / Besigye, mukole ekituufu!

Dr. Robert Ssebunnya muwabuzi wa Pulezidenti ku nsonga za Buganda.

 

Abaagala Obwakabaka bwe mulonda Mbabazi oba Besigye nga mweziise

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

No Matching Document

Emboozi endala

Oo112 220x290

Gav't eyisizza ekiteeso ky'okukuza...

OLUKIIKO lwa baminisita luyisizza ekiteeso ky’okukuza ebibuga mwenda mu ggwanga okuva ku ddaala lya munisipaali...

Vanilla1 220x290

Gav't etadde amateeka amakakali...

GAVUMENTI ereese amateeka amapya ku kulima n’okutunda Vanilla agagenda okuyamba okukuuma omutindo gw’ekirime kino...

1280pxparliamentofuganda 220x290

Palamenti etadde gav't ku nninga...

AKAKIIKO ka palamenti akalondoola ebisuubizo bya gavumenti katadde gavumenti ku nninga olw’okulemererwa okutuukiriza...

Capture 220x290

Omukazi alina ettutumu ng’oli wa...

Nneetaaga mukyala ow’obuvunaanyizibwa, alina ettutumu, ow’ebbeeyi omusawo, omubaka wa palamenti, looya n'abalala....

Unity 220x290

Njagala eyeetegese okuwasa

Nneetaaga omwami okuva ku myaka 40 n’okweyongerayo, atya Katonda, alina empisa nga mwetegefu okukola obufumbo n'okwekebeza...