TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Abaana bawaabidde omugagga Karim Hirji lwa kunyaga bintu bya nnyaabwe

Abaana bawaabidde omugagga Karim Hirji lwa kunyaga bintu bya nnyaabwe

By Ahmed Mukiibi

Added 17th January 2016

Ebya Karim Hirji bibi

Noonya 703x422

Karim

OMUGAGGA Karim Hirji agguddwaako omusango mu Kkooti Enkulu nga bamulekwa ba mukyalawe, omugenzi Ziba Barbara 'Charm' Nannyonga be yasooka okuzaala mu bufumbo bwe obwasooka bamuvunaana okwekomya ebyobugagga bya nnyaabwe.

Abaana abatutte Karim mu kkooti ye Linda Birungi, Ronald Birungi ne Anita Birungi ab'e London mu Bungereza nga bano omugenzi Charm yabazaala mu bba eyasooka Robert Birungi gwe yayawakana naye n'akwatagana ne Karim mu 1985, n'amuzaalamu abaana abalala basatu; Karima Hirji, Anisha Hirji ne Nabila Hirji.

Omusango guno oguli ku fayiro nnamba 238/2015, abaana ba Charm baaguloopye nga December, 30 2015 nga bayita mu kkampuni za Bannamateeka bbiri; Kwesigabo, Bamwine, Walubiri Advocates ne Kalenge, Bwanika, Ssawa & Co. Advocates. Ebiwandiiko bya kkooti biraga nti omusango guno gwayingiziddwa mu likoda za kkooti nga December 31, 2015 mu Kkooti Enkulu evunaanyizibwa ku nsonga z'amaka.

Karim Hirji ng'amannya ge mu bujjuvu ye Karim Abdul Hamid Mohammed yawawaabiddwa n'omukozi we Joseph Ssempebwa. Ku Lwokusatu lwa wiiki eno nga January 13 2016, kkooti eno yaweerezza Semanisi eri Karim Hirji n'omukozi we Joseph Ssempebwa nga balagirwa okussaamu okwewozaako kwabwe mu nnaku 15 zokka okuva nga January 13, bwe bataakikole kkooti yaakugenda mu maaso n'okuwulira omusango nga tebaliiwo.

Bannamateeka b'abaana abaawawaabidde Karim baasengese empaaba nnamutaayika mwe baatadde obujulizi obulaga nti Karim yajingirira ekiraamo kya nnyaabwe nga kiraga nti ebyobugagga bya Charm byonna yabirekera ye (Karim) yekka, abaana be talina kye yabawa.

Bavunaana Karim okujingirira ekiraamo n'afuna obuyinza mu kkooti mu 2004 okweddiza ebyobugagga bya Charm bye yali yakola mu busentebe bwe obw'ekikazi ng'ateekerateekera abaana be bonna omukaaga (abasatu be yazaala mu bufumbo obwasooka n'abasatu be yazaala mu Karim).

 mugenzi iba arbara harm eyali mukyala wa arim Omugenzi Ziba Barbara ‘Charm’. eyali mukyala wa Karim

 Omugenzi Charm yafiira mu ddwaaliro ly'e Cromwell Hospital Kensington mu Bungereza nga February, 8 2004 ku myaka 50. Omulamu gwe gwazzibwa mu Uganda n'aziikibwa mu limbo y'Abasiraamu e Kololo.

Abooluganda lwa Karim bagamba nti omugagga yali ayagala nnyo mukazi we era buli maka ge n'ebifo ebya bizinensi ze omuli ne ziwooteeri yatimbayo ebifaananyi bye. Yamubbulamu n'ekizimbe ekyali ekya bbanka ya UCB, Karim n'akigula ku layisi nga bbanka eno etundiddwa gavumenti mu 2001 Nga November, 12 2004 (nga wayise emyezi munaana nga Charm afudde), Karim yagenda mu kkooti n'assaayo empapula okuweebwa obuyinza okuddukanya ebyobugagga by'omugezi era omulamuzi V.A.R Rwamisazi-Kagaba owa Kkooti Enkulu nga yeesigama ku biwandiiko Karim bye yawaayo mu kkooti, yamuwa obuyinza ku byobugagga bya Charm byonna nga November, 19 2004 era okuva olwo ebyobugagga ebisinga abitunze kyokka abaana; Linda, Ronald ne Anita tabakombya nga ku kikumi.

Ekimu ku byobugagga Karim bye yasooka okutunda y’ennyumba y'e London, omugenzi Charm gye yali yagulira omwana we Ronald, omulema atambulira mu miggo. EBYOBUGAGGA KARIM BYE YEEKOMYA: Ebyobugagga, abaana bye bavunaana a Karim okwekomya, mulimu; Ennyumba bbiri e London; 1 Kalina okuli amayumba agapangisibwa esangibwa ku 7 Roffrey Court 9 Swynford Gardens Hendon Central.

2 Amaka agasulwamu agasangibwa ku 69 Chesterfield Road Enfield Middlesex EN36BE. Amayumba, ebizimbe n'ettaka mu Uganda 3 Ziba Building ekisangibwa ku Plot 35 Nakivubo Place. 4 Ettaka okuli ebiggya e Gayaza ku Block 167 Plot 117 lya obunene bwa hekiteeya 10.76. 5

Ekizimbe eky'amaduuka ekya Jenina e Nansana nga kiri mu Kyaddondo Block 203 Plot 308. 6 Amaka e Bugoloobi ku Block 243 Plot.107 Luthuli Avenue 7 Amaka e Bugoloobi ku Block 243 Plot 4 Luthuli lane e Bugoloobi. 8 Ennyumba bbiri mu Kiyindi e Nakulabye ku Block 10 House 13 ne Block 10 House 14. 9

 kizimbe kya iba uilding esangibwa e akivubo abaana bagamba nti arim mu katono yakyezza Ekizimbe kya Ziba Building esangibwa e Nakivubo abaana bagamba nti Karim (mu katono) yakyezza.

 Ekizimbe ku Kira Road mu Kampala. 10 Ekizimbe ku Mawanda Road mu Kampala. 11 Ssente enkalu ezaali ku akawunta z'omugezi mu Bank ez'enjawulo; Barclays (Luwum Street), Barclays (Kampala Road), Allied bank (kati Bank of Afrika ku ttaka lya Hotel Equatorial, Imperial ne Investment Finance.

12 Waliwo ne ssente eza doola 102,967 ezaali ku akawunta nnamba 1155632 mu Barclays Bank ku ttaka lya Kampala Road. (Ebyobugagga bino byonna byali mu mannya ga Ziba Nannyonga Hirji era abaana bagamba nti Karim teyalina buyinza kubyekomya.)

ABAANA KYE BAAGALA:

Mu mpaaba yaabwe, abaana; Linda, Ronald ne Anita baagala; l Kkooti esazeemu obuyinza obwasooka okuweebwa Karim mu November 2004 nga bagamba nti Karim yaginjirira ebiwandiiko. Baagala kkooti erangirire nti ekiraamo kya Charm, Karim gye yawaayo mu kkooti kyali kijingirire.

Kkooti ebalangirire nti be bantu abatuufu abalina okuganyulwa mu byobugagga bya nnyaabwe. Kkooti ewe ekiragiro okweddiza ebintu bya nnyaabwe ebitaatundibwa mu bukyamu n'ebimu ebiri ku ndeborebo ey'okutundibwa kitaabwe.

Ssente zonna ezaali ku akawunta za nnyaabwe mu 2004 we yafiira Karim azizzeeko kubanga yaziggyako mu bukyamu. l Kkooti ewe ekiragiro ekiyimiriza Karim okuddukanya ebyobugagga bya Charm era asasule ensimbi ez'okubaliyirira, wamu ne ssente zonna ze banaasaasaanya mu musango guno era asseemu n'amagoba

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Plane22 220x290

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi...

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi

Ssaavanaluvule1 220x290

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi...

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi ne batalabikako alula!

Img2247 220x290

Eyatutte omwana okumutuuma amannya...

OMUWALA aludde ng'alimba omuvubuka nga bw'alina olubuto lwe aliko omwana gw'amutwalidde wabula ne gamwesiba bwe...

Throw 220x290

Abavubira ku nnyanja Kyoga basatira:...

ABAVUBI ku nnyanja Kyoga basattira olw’amagye okulangirira nti essaawa yonna gayingirawo okufuuza envuba embi....

Malemabiriizi9 220x290

Mabirizi azzeeyo mu kkooti ku bya...

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi azzeeyo ku kkooti Ensukkulumu n’ateekayo omusango ayagala esazeemu ensala y’Abalamuzi...