TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Manifesito y'abantu: Bannaluweero basonze ku nsonga 16 ezibaluma

Manifesito y'abantu: Bannaluweero basonze ku nsonga 16 ezibaluma

By Musasi wa Bukedde

Added 19th January 2016

Ensonga ze baasimbyeko essira mulimu okubawa munisipaali, okukuza eddwaaliro lya Kasana n’okulyongeramu eddagala n’abasawo, okubatandikirawo amakolero agalongoosa ebibala n’ebirime.

Waggulu 703x422

Ssaalongo Kayiira (ku ddyo) mu kukubaganya ebirowoozo ku biruma Bannaluweero.

BANNALUWEERO basonze ku nsonga 16 ezibaluma ze baagala zikolweko ekitundu kino kisobole okukulaakulana abantu babeere mu mbeera ezeeyagaza.

Baazanjizza mu kukubaganya ebirowoozo okwategekeddwa Bukedde ng’ekolaganira wamu n’aba Uganda Youth Network (UYONET) nga kwakubiriziddwa, Richard Kayiira Ssaalongo e Kasana - Luweero.

Ensonga ze baasimbyeko essira mulimu okubawa munisipaali, okukuza eddwaaliro lya Kasana n’okulyongeramu eddagala n’abasawo, okubatandikirawo amakolero agalongoosa ebibala n’ebirime.

Ebirala kuliko okulwanyisa ekibbattaka, enguzi, enguudo embi, amasannyalaze agavaavaako, okutumbula ebyemizannyo n’okumalawo kasasiro mu kibuga Luweero ne Wobulenzi.

1 Ayagala obwameeya bwa Luweero, Paul Mukungu yagambye nti Luweero nga Mekka wa NRM, yeetaaga kugikubagiza ng’eweebwa munisipaali kuba ebisaanyizo ebirina nga n’okusaba yasaba dda ensonga eno n’agattako nti basingira wala Njeru eyafunye Munisipaali. Agamba kino bwe kinaakolebwa abantu naddala abavubuka bajja kufuna emirimu bakulaakulanye ekitundu.

Ekirala kye yayogeddeko kwe kugaziya eddwaaliro lya Kasana H/C IV eryazimbibwa ku mulembe gwa Obote lituuke ku musingi gwa disitulikiti kuba amalwaliro ge baalina nga Kiwoko ne Nakaseke gaagenda, Nakaseke bwe yeekutulako nga lino abalwadde omuli abafuna obubenje okuva e Kafu okutuuka Bombo gye beeyiwa ne bamalawo eddagala abantu ne basigala nga bakaaba nga gavumenti bw’etaweerezaayo ddagala. Yagambye nti ng'ayiseemu, ayagala okulaba ng'eddwaaliro lino likubwa bbugwe ente n'embuzi bireme kwonoona mbalaza na kuyingira mu waadi z'abalwadde nga bwe guli.

2 Edward Zziwa yasabye gavumenti esooke kulwanyisa kibbattaka ekifuuse ekyonga mu disitulikiti abantu batereere ku bibanja byabwe balime basobole okulwanyisa obwavu. Yagambye nti obwavu obuzimbye ku bantu akayumba obumu buva ku bantu kugobaganyizibwa ku ttaka kwe babeera bakoledde ebintu byabwe ne bafuuka emmomboze sso ng’amateeka g'ettaka tegabayambye nga ne ofi isi y'ettaka e Bukalasa efuuse mpuku ya banyazi eyongedde kusajjula mbeera eno. Yasabye n'ekisaawe kya Kasana kizimbibwe kifuuke eky'omulembe ttiimu ez'amaanyi zizannyireyo omupiira abantu basobole okulembeka ssaako okukulaakulanya ttalanta z'abavubuka.

 

 

3 Godfrey Kaddu yategeezezza nti enguudo embi eziwomoggose n'ezikolebwa gadibengalye nga nfunda bye bimu ku bisibye ku bantu obwavu kuba abaguzi bangi batya okuleeta ebidduka byabwe okukutukira mu nguudo embi olwo abalimi ne badembulwa. Yasabye gavumenti eyanguyeeko okutuukiriza ekisuubizo ky'okukuba kolaasi oluguudo oluva e Luweero - Kiwoko-Ngoma kuba lussa abantu enfuufu n'okugoba abasuubuzi.

4 Meeya w'ekibuga Luweero Charles Sebyala Ssaalongo ng’ayagala bwassentebe bwa disitulikiti ya Luweero yagambye ayagala kutandikira ku kutumbula byabulamu omuluka gwa Kabanyi ne Kalwanga eteri ddwaaliro bafune abantu bawone okutindigga eng’endo. Yasabye gavumenti eyongere amaanyi mu kitongole ekirambuzi ky'amasomero batalaage ebyalo okulaba ng'abasomesa babeera ku mulimu, okuzimba ebibiina n'ebisulo ku masomero kuba awamu abaana basomera mu miti n'abazadde okukubirizibwa okuwa abaana baabwe eky'emisana ku masomero.

5 Ying. Tonny Mayambala yagambye nti abalimi bakaaba olw’eddagala n’ensigo enfu ebibamalako ensimbi n'agattako n’ebyenjigiriza e Luweero ebiri obubi ennyo. 6 Mariam Tukamubuga okuva e Katikamu yagugumbudde Gavumenti n'abakulembeze abajjukire abakyala, abavubuka n'abalema mu biseera by'okulonda n'agamba nti babasibye mu mbeera embi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sitenda 220x290

Sitenda Ssebalu, eyali omubaka...

SITENDA Sebalu akulukusiza amaziga mu maaso ga Shaban Bantaliza, oluvannyuma lw’okukimanya nti bamuyita mubbi buli...

Sonso 220x290

Amagye gasse ababbi 4 omulundi...

Yabadde nga firimu eya “ssasi ku ssasi, nnyama ku nnyama,” amagye bwe gaabadde gakubagana n’ababbi e Mutundwe eggulo....

Capture 220x290

Freeman ayagala Butebi amuliyirire...

John Freeman Kiyimba awawaabidde mugagga munne Emmanuel Ssembuusi ‘Butebi’ mu kkooti ng’amuvunaana okumulebula....

Pogba23 220x290

Pogba bandimuta mu January

Abakungu ba ManU bandyevaamu ne batunda Pogba mu katale akatandika omwezi ogujja oluvannyuma lw’okuweebwa amagezi...

Skysportsancelottinapoli4862833 220x290

Napoli efuumudde Ancelotti

Nga bakyali mu ssanyu ly’okutimpula Genk eya Belgium ne batuuka ku luzannya lwa ttiimu 16 olwa Champions League,...