TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Omwana olumutuumye amannya ga maama eyafa n’akomawo

Omwana olumutuumye amannya ga maama eyafa n’akomawo

By Musasi wa Bukedde

Added 31st January 2016

Bwatyo Abdallah Kayondo ow’e Najjanankumbi bw’anyumya ku mukwano gwe yalina ne nnyina omugenzi Hajat Zaina Ssentamu, eyali omutuuze w’e Najjanankumbi.

Mukazi 703x422

Kayondo ng’asitudde bbebi we gwe yabbula mu nnyina omugenzi Zaina ku ddyo.

OMUKWANO maama gwe yandaga mu kaseera akatono ke namala naye mu bulamu bw’ensi saalowooza nti ate gulibbulukukira mu mwana wange gwe namubbulamu.

Bwatyo Abdallah Kayondo ow’e Najjanankumbi bw’anyumya ku mukwano gwe yalina ne nnyina omugenzi Hajat Zaina Ssentamu, eyali omutuuze w’e Najjanankumbi.

Agamba: Maama yanjagala nnyo mu bulamu era wadde yafa nkyali muto (nali wa myaka munaana) akaseera ke namala naye na kati nkyakajjukira kuba kakyali kanjawulo mu bulamu bwange.

Okuva maama bwe yafa, buli lwe mmulowoozaako na buli lwe nfuna embeera enzibu mu bulamu, mmujuliza ng’ekifaananyi kye kinzijira mu kiro ng’ali ku mabbali g’ekitanda kyange, hhenda okuzuukuka nga mpulira emirembe mu mutima era obulamu bwange bwe butyo bwe bubaddde butambula.

OMUKWANO GWANGE NAYE

Maama yali musuubuzi wa ssukaali n’omunnyo mu Kikuubo mu Kampala kwe kugamba ebiseera ebisinga yabeeranga akola naye ng’obudde bwange ng’omwana omuggalanda abufuna.

Yanjagalamu ak’ensusso nga n’okumbuulirira kw’atadde wadde emyaka gyali gikyali.

EKIBUMBA KYE KYAMUTTA

Maama yalumbibwa obulwadde bw’ekibumba obwamuluma okumala ebbanga n’atwalibwako mu malwaliro ag’enjawulo.

Emirundi gyonna gye yatwalibwanga mu ddwaaliro nga njula kugenda kusula naye kuba nalabanga awaka ng’awatali muntu.

Mu 1996, obulwadde bwamunyiikirira n’atwalibwa mu ddwaaliro lya Saidina Abubakar e Lubaga gye yafiira nga September, 9, 1996.

YALI ATUUZA ABANTU

Ng’Omusiraamu omutuufu, maama yali atuukirizza empagi z’Obusiraamu zonna omuli n’okugaba era yatuuzanga abantu n’abagabula ssaako okuyamba emizikiti era yakitukuutiranga mu bulamu okuddiza abalala abatasobola kwetuusaako byetaago.

Yali mukyala alemera ennyo ku nsonga nga bw’agamba okukola ekintu bwe kiba tekinnaggwa, taweera.

ANSIIBULA

Nga tannalumbibwa bulwadde obwamuggya mu bulamu bw’ensi eno maama yasooka kunnona ku ssomero ku Kireka SDA gye nnali nsoma P.4.

Olwatuuka awaka n’ambuulirira ebigambo bingi omwali okubeera n’empisa, okubeera omuyonjo, omugabi, omukozi ennyo nsobole okuwangula obulamu bw’ensi eno.

Byonna maama bye yali ayogera nabiwuliriza wabula saamanya nti yali ansibirira ntanda esembayo kuba waayita wiiki emu n’alwala olwamutwala mu ddwaaliro. Yasulayo lumu n’afa.

MAAMA ADDA

Maama ng’avudde mu bulamu bw’ensi eno, nasigala nneekubagiza nga nsubwa omukwano gwe yandaganga.

Bwe nagenda nkula, nasaba Mukama annyambe nga ntuuse okuzaala nsookere ku mwana muwala, mmutuume erinnya lya mmange. Mukama yampuliriza, omwana gwe nasookerako mu December wa 2014, yali muwala era namubbulamu erinnya lya maama erya Zainah.

Okubbula mu muwala wange saamanya nti kigenda kukomyawo omukwano maama gwe yandaganga.

Byonna ebya maama mbiraba mu muwala wange. Bwe mba gye mbadde ne nfuna ebintaataaganya nzira buzzi waka ne mbeera ne muwala wange ne mmubuulira byonna ebinnyiizizza.

Tayogera naye okwogera naye kinziza mu mbeera ne nfuna essanyu kale buli lwe mbeera naye, ndaba ng’ali ne mmange.

Okuva lwe nabbula maama mu mwana wange yatandika okunzijira mu birooto. Mmuloota ng’akomyewo nga tuli ku mikolo egy’enjawulo gye yateranga okutegeka awaka ng’agabula abantu era nga musanyufu.

Waliwo lwe nalumbibwa omusujja mu 2014 ne bampa ekitanda e Nsambya gye namala wiiki. Ennaku ze nali ku kitanda nalowoozanga kimu, maama.

Ekyewuunyisa buli lwe nazibirizanga nga mmulaba ayimiridde awo wabbali w’ekitanda kyange. Kino kyaliwo ennaku zonna okutuusa lwe bansiibula, saddamu kumulaba.

Awo namanya nti maama wadde taliiwo mu mubiri ali nange mu mbeera zonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakozaemmotokazeazilabiriraokusikirizabakasitomawebuse 220x290

Mmotoka enkadde mwe nkola ssente...

Wazir Kakooza alaga lwaki omuntu yeetaaga kuyiiya kyokka okukola ssente mu kifo ky'okunoonya emirimu.

Miss 220x290

Abavuganya mu mpaka za Miss Uganda...

Abawala 22 abavuganya mu mpaka za Miss Uganda battunse mu mpaka z'okwolesa talanta

Eyeclinicwebuse 220x290

Kw'olabira amaaso ageetaaga okujjanjabwa...

Kebeza amaaso go buli mwaka okutangira obuzibu okusajjuka ssinga gabeera malwadde

Img20190718132844webuse 220x290

Abakyala mukole ebiraamo okutangira...

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...