TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Ekisiibo ekitandise kitegeeza ki gy’oli?

Ekisiibo ekitandise kitegeeza ki gy’oli?

By Herbert Musoke

Added 10th February 2016

Naye Omukristo eyeetegese okusiiba omanyi ekisiibo kye kitegeeza, by'olina okukola n'ebyo ebiyinza okutta ekisiibo kyo?

Siiga1 703x422

Leero lwa kusiiga vvu, akabonero akalaga okwebonereza.

LEERO abagoberezi ba Kristo lwe batandika ekisiibo ekitukuvu ekigenda okumala ennaku 40 mwe bayita okudda eri Omukama n'okweteekerateekera okuzuukira kwa Yesu Kristu.

Naye Omukristo eyeetegese okusiiba omanyi ekisiibo kye kitegeeza, by'olina okukola n'ebyo ebiyinza okutta ekisiibo kyo?

Rev. Abel Mereewoma, ow'obusumba bw’e Kireka (Anglican):

Ekisiibo kitegeeza okwenenya ebibi n'okubireka oba kye tuyita okunakuwalira ekibi n'okukireka. Era mu ngeri y'emu ekisiibo kibeera kiseera kya kuwaguza, ssinga wabeerawo embeera efuuse olusozi mu bulamu bwo osobola okugiggyawo ng'oyita mu kusiiba n'okusaba.

Ekisiibo ebeera nga ggiya ey'enjawulo ku mbeera ebeera ekulemeredde nga bw'olaba ggiya ya lungu mu mmotoka. Naffe tusobola okumenya embeera zonna nga tuyita mu kusiiba nga tuwaayo embeera etulemeredde eri Katonda.

Okusiiba kwava dda kubanga ne Yesu okuwangula omusaalaba teyaguwangula ku Lwokutaano Olutukuvu nga bwe tusuubira wabula yaguwangula bwe yali mu ddungu ng'asiiba ennaku 40, nga bwe kiri mu Matayo essuula eyookuna.

Kubanga ye yalabirawo ng'embeera gy'agendamu nzibu kye yafa ayingira mu kusiiba okuwaayo ekiseera ekyo asobole okuwangula.

  • Okusiiba kuyimirira ku mpagi y'okwenenya ebibadde bitusoomooza nga biyinza okutulemesa Obwakabaka bw'omu Ggulu ate n'okuwangula ebibadde bitulemeredde.
  • Kino ky'ekiseera okukutula enjegere ng'oloopa embeera gy'olimu ng’endwadde, emirimu n'ebirala ebirabika nga bikulemeddeko.
  • Okufuna mu kisiibo olina okwenenya okulongoosa obulamu bwo osobole okuzza obuggya enkolagana yo ne Katonda.
  • Ekiyinza okukulemesa ekisiibo ky'ekibi era buli lw'oyingira mu kibi kitegeeza obeera tosiibye. Okugeza bwe weetaba mu bwenzi oba obubbi kitegeeza nti omaze okunyiiza Katonda ne by'osaba tebikuweebwa.

Ebisomesebwa

  • lWiiki esooka erina kutunuulira kigambo kya kwenenya ebibi byaffe n'okwezza obuggya era wano tukozesa Zabbuli ya 51.
  • lEyookubiri okunoonya ekkubo eggolokofu eryaffe ng'abantu, Ezra 8:21 mu bakulu banoonya eryabwe, ery'abaana baabwe n'ebintu byabwe olwo ezisigadde ne zibeera za kwekutulako embeera zonna ezibasibye.

Buli muntu faayo okulaba ng'osiibira ekisibye emirimu gyo, famire n'ebirala byonna wabula olina okusooka okuyita mu mitendera egisooka olyoke oweebwe.

Ebintu 3 ebikola ekisiibo

Fr. Joseph Mary Ssebunya:
Okusiiba (Ennaku za Kalema) tubeera tweteekerateekera Paasika nga tusiiba era tukola emirimu esatu emikulu.

1. Okusooka kwe kwegayirira nga Yezu bwe yakola bwe yali mu ddungu ng'asiiba ennaku 40.

2. Okuyamba abalala;

3.Okusiiba n'ebikolwa byaffe omuli n'obutalya mmere.

Wabula abalwadde, abakola, abaana, n'abakadde bakkirizibwa okulya kubanga Katonda ayagala abantu abalamu wabula okusiiba kulina kuva ku mutima.

Mukama atunuulira buli omu omutima gwe, engeri gye gukkirizza kubanga mu kisiibo twagala okukendeeza ku bikusanyusa kubanga ekigendererwa kya kwebonereza.

Ebibi bye tukola bireetebwa mubiri mu kwesanyusa, mu kulya, okwogera, okulaba n'ebirala olwo obukkiriza mu ggwe ne bugenda nga bukendeera.

Ssinga osiiba ekintu ky'oyagala ennyo, kibeera kisiibo kituufu wabula olina okusiiba nga ky'osiiba weekiri. Bw’oba omulwadde osobola okusala ku mmere gy'olya n'osigala ng'onywa amazzi mangi kubanga mu kiseera ky'okusiiba okkirizibwa ekijjulo ekijjuvu kimu.

Omukristu osaanira okwegayirira ng'osoma Bayibuli, okusoma ssappule n'okukendeeza ebiseera by'okwewummuza n'obimala ng'osaba Omukama.

Mu ngeri y'emu kino kyandibadde kiseera ky'omala n'abantu bo mu kifo ky'okugenda mu kibanda, ebbaala n'ebirala.

Okusiiga evvu

Evvu erisiigibwa ku lunaku olusooka olw’ekisiibo lyokebwa okuva mu matabi ag’omwaka oguwedde kubanga kano kabonero ka buwanguzi nga bwe kiri mu kitabo kya Yona.

Abayudaaya baayambalanga ekkutiya n’okwesiiga evvu ng’akabonero k’okubonerera.
Era okusiiga evvu kabonero ka kwezza buggya nga tukimanya nti twava mu nfuufu era mu nfuufu mwe tulidda. Kabonero akalaga nti tetulina kye tuli, kabonero ka kwetoowaza nti Katonda nga bwe yatukola ng’atuggya mu nfuufu, asobola okukutukuza ng’ayita mu nfuufu.

Ebisomesebwa

Wiiki esooka ebeeramu okusomesa Yezu we yabeerera mu ddungu, lwe yafuna amaanyi okugoba Sitaani kubanga abamu Sitaani bayita muyite ne beesibako embeera y'okunyigirizibwa.


More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda