TOP
  • Home
  • Kalondoozi
  • Engeri Poliisi gy’eyanguyizaako bassedduvutto abakwata abaana abatanneetuuka ne babasobyako

Engeri Poliisi gy’eyanguyizaako bassedduvutto abakwata abaana abatanneetuuka ne babasobyako

By Musasi wa Bukedde

Added 21st April 2016

Nga 24 September 2015, Masasi Isabirye, 28 yasobya ku kaana ak’emyaka omwenda gyokka! Kyokka olw’okuba mutabani wa landiroodi Poliisi w’epangisa, kigambibwa nti yamulyamu ez’amangu n’emutolosa era na kati alya butaala.

Sobya1 703x422

Sarah ow’emyaka 9 eyasobezebwako. Olw’okuba Masasi eyamusobyako yadduka ku kyalo, Poliisi ekyagaanyi okutwala omusango mu kkooti sso nga nayo eyinza okubayambako okumuyigga n’akwatibwa.

Nga 24 September 2015, Masasi Isabirye, 28 yasobya ku kaana ak’emyaka omwenda gyokka! Kyokka olw’okuba mutabani wa landiroodi Poliisi w’epangisa, kigambibwa nti yamulyamu ez’amangu n’emutolosa era na kati alya butaala.

KALONDOOZI WA BUKEDDE akulaga engeri Poliisi gy’eyanguyizaako abasajja abakwata abawala abato ne babata nga tebawozezza.

OBADDE okimanyi nti poliisi eyanguyizaako abasajja abakwata abawala abatanneetuuka okusimattuka omusango guno ogwa nnaggomola?

Agenze okuwaaba ne bamubuuza ebibuuzo oluusi ebitalina makulu omuli eggwanga lye, lwaki ggwe wakkirizza okukusobyako n’ebirala, oba okusaba ssente eziyitiridde eziremesa abaagala obwenkanya mu musango guno okugutwala mu maaso!

Kati laba engeri Poliisi y’e Kiyunga mu ggombolola y’e Kisozi e Kamuli gye yaluka olukwe olwatolosa omusajja eyasobya ku kaana aky’emyaka omwenda. Etuukira bulungi ku luyimba lwa Ronald Mayinja olugamba nti, “Omwavu tasinga musango!”

Ennaku zino waliwo endowooza nti omuntu azzizza ogwa nnaggomola bw’aba ne ssente agusimattuka, ate bw’oba tozirina ne bw’oba tolina musango bayinza okugukusingisa.

 saabo ngalaga ebbaluwa omusawo kwakakasiza nti muwala we baamusobyako 

 

Bino bye byatuuka ku Charles Isaabo, taata w’omuwala Sarah (eddala lisirikiddwa) eyasobezebwako nga 24 September 2015, naye na guno gujwa akyekokkola Poliisi okutolosa Masasi, omusango ne gukonera awo.

Isaabo agamba nti olw’okuba amayumba Poliisi g’epangisa ga taata wa Masasi ssaako n’eky’eyali akulira bambega ku poliisi eno, Fred Edonyu okukissa ku mwana nti Masasi yali waakusatu ku basajja abaakamusobyako kye kiyinza okuba nga kyavaako omusango obutatuuka wadde mu kkooti!

ISAABO AGAMBA: Okumanya Poliisi yabirimu, bwe nagendayo tusale amagezi okukwata Masasi, abapoliisi be bangamba bennyini nti omwana we baamusobezaako nga Masasi amaze ennaku ssatu tali ku kyalo!

Tebaafaayo kumuyita ye y’aba abyeyogerera, ekitegeeza nti baali beekobaanye dda.

Ku olwo lwe nagenda ku poliisi, abaserikale bangamba nzireyo ku ssaawa 10:00 ez’ekiro mbawerekere bakwate Masasi gwe baali baamaze edda okugamba nti tali ku kyalo!

Bwe twatuuka ewa taata wa Masasi yatutegeeza nti yali yagenda safaali ennaku ssatu emabega, ekintu kyennyini aba poliisi kye baali basoose okungamba.

Okuva mu September wa 2015, Masasi yabula.

Nneewuubye ku poliisi bangamba nti nabo bayisibwa bubi okuba nti essajja lyadduka! Nnaakasaasaanya 105,000/- ku musango guno, nga 20,000/- za kuggulawo musango, ffoomu y’eddwaaliro ya 30,000/-, 25,000/- ez’omusawo eyakebera ne 50,000/- ez’amafuta g’okukwata omuntu, teebereza eyali ekinnya n’empindi ne Poliisi!,” Isaabo bw’agamba.

 maka arah we yava okumusobyako Amaka Sarah we yava okumusobyako.

 

ENGERI GYE BYAJJA

Sarah yeemulula ku bazadde be n’agenda ne banne mu kidongo eky’ekivvulu kya Idi –El-Fitri , ekyaliwo nga 24 September 2015. Eno Masasi gye yamusanga n’amulimbalimba ne capati, we yava n’amutwala ewuwe ng’amulimbyerimbye nti obudde buzibye anaddayo ewaabwe enkya. Mu kiro ekyo yamusobyako!

Isaabo, omukozi mu bbeekeeri ya EM Products Bakery e Makindye –Kampala abinyumya bwati: Obudde bwe bwaziba nga Sarah talabikako twagenda mu ndongo ne tumunoonya n’atubula.

Mu kiro ekyo, natwala lipoota ku Poliisi y’omu kabuga k’e Kiyunga, bwe bwakya omwana n’alabika ku ssaawa nga 5:00 ez’oku makya, naye ng’atambula yeebwalabwala.

Namuyisaako ow’e Mbuya, ne mmubuuza gye yasuze kwe kumbuulira nga Masasi bwe yamututte ewuwe ng’obudde buyise n’amusobyako ekiro kyonna! Yahhamba nti Masasi yamwalira wansi naye ekiro yali yeebase yazuukuka amwebase ku lubuto olwo n’amusonseka “ekintu” ekikaluba mu bukazi.

Yagamba nti yagezaako okuleekaana, kyokka Masasi n’amugamba nti ajja kumusuula mu nzikiza embwa zimulume.

Naggulawo omusango gw’okusobya ku mwana wange ku fayiro nnamba 09/25/09/2015, poliisi n’ensuubiza okunoonyereza mu bwangu, Masasi akwatibwe.” 

POLIISI YAVULUGA OMUSANGO

Isaabo anyumya: Omusango nagwanjulira akulira poliisi y’e Kayunga, Godfrey Kamanyire n’akulira eby’okunoonyereza ku misango, Fred Edonyu (nnamba ya Poliisi 56437,) ne bansaba 20,000/- okuguggulawo.

Omusawo mu ddwaaliro ly’e Nankandulo, yanzigyako 25,000/- kyokka nga ffoomu y’eddwaaliro mmaze okugisasula 30,000/-!. Bwe nadda ku poliisi bandyako 50,000/- za kukwata Masasi, era nneewola nneewole. bwe nawaayo ssente zonna, Afande Edonyu yansuubiza nti, ‘Byonna obimaze, ogusigadde gwaffe. Komawo wano ku ssaawa 10 ez’ekiro otuwerekereko tugende tumukwate.’

Muli nabuuza lwaki nange kinneetaagisa okubaawo kubanga Masasi yali kinnya na mpindi ne poliisi naye ne nsirika.

Ku ssaawa 10:00 ez’ekiro, natuuka ku Poliisi, Afande Edonyu n’antegeeza nti ziweze ennaku ssatu nga Masasi tali ku kyalo! Twagenda okutuuka ku nnyumba nga kuliko kkufulu, okubuuza taata we yatuddamu ekintu kye kimu!”

 

POLIISI YAKYUSA ERINNYA LYA TAATA W’OMWANA

Isaabo agamba: Engeri aba poliisi gye baali ne kye baagala mu musango guno, omwaana bwe yali akola sitaatimenti, baamukaka akyuse erinnya lya kitaawe okuva ku lya Peterson Nabanyumya adde ku Peterson Tenywa. Nze (Isaabo) ndi muto w’omugenzi Nabanyumya, era bwe yali afa yandekera bamulekwa okuli ne Sarah.

Kyokka Poliisi olwamubuuza amannya ga kitaawe n’abategeeza Peterson Nabanyumya, baamulagira amuyite Peterson Tenywa era lye baawandiika!

Ng’amaze okukola sitaatimenti yajja n’antegeeza nti abapoliisi baamukaka okukyusa erinnya lya kitaawe. Nze olwo namanya nti waliwo ddiiru gye bagoba.

Fayiro y’omusango yabula, ngezezzaako okugisaba teri anyega. Ekyanzigya enviiri ku mutwe, ye Poliisi okungamba nti twamenya amateeka okulumba amaka ga Masasi ekiro, nti abantu abalinga abo balina kukwatibwa misana!”

ku LC Ssentebe wa LC1 e Buyuuka, Edrisa Byansi naye yeewuunyizza engeri omusango guno gye gwatambulamu ku bujulizi obw’enkukunala obwaliwo nga bulaga nti omwana baamukaka omukwano.

Isaabo asaba omuduumizi wa Poliisi mu ggwanga, Gen. Kale Kayihura ayingire mu musango gwe, Masasi akwatibwe afune ekibonerezo ate n’aba poliisi ye Kayunga babonerezebwe.

“Aba poliisi bano bamanyi Masasi gye yeekwese kuba beekobaana naye okumutolosa,” bw’agamba.

Ku POLIISI E KAYUNGA

Afande Edonyu bwe nayogeddeko naye yagambye nti, “ Poliisi yakola ogwayo okuggya sitaatimenti ku mwana, ku kitaawe, nnyina ne banne bwe baali mu ndongo. Ekyali kisigadde kukwata Masasi ate eyamala n’adduka era Isaabo talina kunneesibako kuba twagenda naye,” Edonyu bwe yagambye.

Bwe namubuuzizza fayiro y’omusango gy’eri, Edonyu yategezezza nti yagisindika ewa mukama we ku disitulikiti, (akulira bambega ba Poliisi e Kamuli) Pamela Ajilong era okuva kw’olwo tamanyi byaddirira.

Wabula Isaabo yabuyise bulimba kuba bukyanga bibaawo, Pamela tamukubirangako okumutegeeza ku bikwata ku musango gwe.

Edonyu yeegaanye eky’okulabula Masasi n’adduka, nti okumanya eby’olukwe tabimanyi, n’okuyigga Masasi yali alina kutambula ne Isaabo eyali amumanyi amumulage.

Ku kya ssente ze baamusabanga, Edonyu yasoose kusikattiramu, olwo n’ayanukula nti ebyo bamusibako matu ga mbuzi, nti ffoomu Isaabo baamuwa za bwereere! Muky. Pamela Ajilong bwe namutuukiridde yakkirizza nti fayiro y’omusango yagifuna okuva ku poliisi y’e Kayunga. “Naye olw’okuba nga Masasi yabula tetuyinza kutwala musango mu kkooti, ka tulindeko bamale okumukwata,” bwe yagambye.

Mu lipoota y’omusawo mu ddwaaliro ly’e Nankandulo eyakebera Sarah, yalaga nti wadde omwana yamugamba nti okuggyako Masasi, yali yaakeebaka n’abasajja abalala babiri mu bbanga lya myezi ena, tewali kubuusabuusa nti Masasi yasobya ku mwana.

Yamuwa amagezi akomewo oluvannyuma lw’emyezi esatu bamukebere okulaba oba yamusiiga siriimu n’ebirwadde ebirala.

Ebibuuzo

1. Tugambibwa nti omusango teguvunda, kiki ekigaana poliisi okuweereza fayiro mu kkooti wadde Masasi taliiwo?

2. Lwaki kyetaagisa Isaabo kumala kusasula ssente 50,000/- olwo poliisi eryoke esitukiremu okukwata Masasi?

3. Poliisi okukaka Sarah okukyusa erinnya lya kitaawe yali tegezaako kucanga bujulizi okulumiriza omwana nti by’ayogera tabimanyi olaba yeerabira n’erinnya lya kitaawe?

 uliet eyaakatuula 7 naye baamusobezzaako Juliet eyaakatuula P7 naye baamusobezzaako.

 

Ate ku kyalo Luwalala mu Southern Divizoni mu Munisipaali y’e Kamuli, omujaasi wa UPDF, Dan Gabula yeezooba ne Isa Kaggwa ow’emyaka 45 eyasobezza ku muwala we, Juliet eyaakatuula ebigezo bya PLE. Okumanya Kaggwa mujoozi, Gabula bwe yamuloopye ku poliisi yakinagguse nti, “Omuwala gw’onnanga “Haki nkulu” talina kibulako!” Kaggwa akola bibaluwa ng’okusaawa ku ssomero lya Emirates Academy, eritunudde mu maka ga Gabula.

Kigambibwa nti Kaggwa yatandika okukabawaza Birungi ng’ali mu P5. Nga 21 February 2015, Gabula yakwata Kaggwa lwa kusobya ku muwala we kyokka nga 16 March 2016.

Kaggwa yateebwa ku kakalu ka Poliisi! ‘Ebbaluwa y’omusawo eraga nti omwana yasobezebwako, ekyo tekimala kumutwala mu kkooti?,” Gabula bwe yabuuzizza.

Juliet agamba nti essimu gy’alina Kaggwa ye yagimugulira, okugizuula Gabula yamaze kunoonya mu kkeesi ye. Gabula yaddukidde wa muwaabi wa Gavumenti e Jinja, Margaret Nakigudde amuyambe.

Ssentebe wa LC1 e Luwalala, Majidu Ndiwalana yagambye nti lipoota za Kaggwa okuganza Juliet agirina. 

Abawala 12,000 buli mwaka babasobyako tebanneetuuka 

KU misango 20,000 egya nnaggomola egyanoonyerezebwako aba poliisi mu Uganda mu 2014 okusinziira ku lipoota yu’ekibiina ekibalirizi (UBOS), kumpi kimu kyakubiri gyali gya kusobya ku baana abatanneetuuka!

Mu lipoota eno eyafulumiziddwa omwaka oguwedde, abawala 12,077 be baasobesebwako mu mwaka ogwo!

Lipoota eraga nti omuwendo gw’abawala abasobezebwako guzze gulinnya okuva mu mwaka gwa 2011.

Mu mwaka ogwo abawala 3,957 be baawaaba era emisango gyabwe ne ginoonyerezebwako; mu 2012 baali 3,935 olwo ate mu 2013 ne babeera 9,598.

Lipoota eraga nti abawala 4,000 ne basobezebwako buli mwaka mu bukiikakkono bwa Uganda ate omwaka oguwedde, abawala 190 be baasobezebwako mu Kampala emisango gyabwe ne gituuka ku poliisi!

Okumanya kino kizibu kya maanyi mu Uganda, okunoonyereza okukoleddwa ekitongole kya ANPCANN kuzudde nti abawala 24 ku buli 100 mu Uganda bafuna embuto nga tebannaweza myaka 18!

Era kizuuliddwa nti ku bakazi abakunukkiriza emitwalo 20 abalina obulwadde bw’okutonnya ( fisitula), 1,900 bawala abatannaweza myaka 18!

Noolwekyo ekyetaaga okukolebwa be bantu ku mitendera gyonna okusitukiramu mu kulwanyisa abakaka abaana abawala omukwano.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Grav 220x290

Mujje mbalage ekitone ly’okuyimba...

Oluvannyuma lw’emyezi ebiri ng’ali mu kutendekebwa okwa kasammeme n'okugoggola eddoboozi, Gravity Omutujju ayise...

Uni 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUNA AKULEETEDDE...

Bobi Wine olusimbudde okuva mu Amerika, abawagizi be ne batandikirawo okujeemera poliisi. Amagye gakutte owa Flying...

Banyarwanda2 220x290

Abanyarwanda basabye Kabaka ettaka,...

ABANYARWANDA ababeera mu Uganda basabye Kabaka asiime abawe ettaka Ssekabaka Muteesa II lyeyali abawadde e Kibuye...

Fortunessentamu2 220x290

Abagwira 6 bakuvuganya ne Bannayuganda...

Laawundi y'empaka za ddigi eyoomukaaga ku kalenda ya Uganda yakwetabwaamu abagwira 6.

Courtgavelscales1024683 220x290

Kkooti zonna zaakujjukira Benedicto...

Mu 1972 abajaasi ba Amin baalumba Benedicto Kiwanuka mu ofiisi ye ku Kkooti Enkulu ne bamuwalawala mu kifo ekitaategeerekeka...