TOP
  • Home
  • Emboozi
  • ‘Lwe baalumba Olubiri twatambuza bigere nga takisi zibuze’

‘Lwe baalumba Olubiri twatambuza bigere nga takisi zibuze’

By Edward Sserinnya

Added 27th April 2016

Ku olwo lwe baalumba Olubiri ekibuga Kampala kyasiiba n’okusula ku bunkenke, nga temuli mmotoka zitambula n’abantu nga batono nnyo.

Kasolo 703x422

Kasolo Sserunyiigo

 

OMUTAKA Kasolo Sserunyiigo, omu ku bagoberera ebyafaayo bya Buganda agamba: Obote we yalumbira Olubiri mu May wa 1966 nali musomesa ku ssomero ly’Abasodokisi e Namuηηoona.

Ku olwo lwe baalumba Olubiri ekibuga Kampala kyasiiba n’okusula ku bunkenke, nga temuli mmotoka zitambula n’abantu nga batono nnyo.

Nze nali mbeera Munyonyo, naye twatambuza bigere okuva e Namuηηoona okutuukayo, twayitirako ku Lubiri naye ng’abajaasi bateevuunya nga munyeera era ne tubeesega. Ng’Olubiri terunnaba kulumbibwa ebintu byali birungi mu Masaza ga Buganda ag’enjawulo.

Endagaano ya 1900 yawa embuga z’Amasaza ettaka lya mayiro munaana, ate amagombolola gaabanga ne mayiro 49 nga ssente eziva mu ttaka ly’eggombolola eza busuulu nga zonna zigenda mu nsawo y’omwami w’eggombolola.

Wabula mayiro munaana ez’essaza zino omwami wa Kabaka owessaza nga y’azikozesa, era ng’omwami eyasinga okufunamu ye Mukwenda kubanga ettaka okwali amaduuka e Busimbi lyonna nga lya Ssaza.

Owessaza yafunanga muno ssente okuva mu ttaka ng’alimirako, okulunda n’ebirala.

Kino kyabanga kikulu eri embeera z’abantu kubanga omwami wa Kabaka yawanga ekifaananyi ekirungi ate nga yeegombesa abantu nabo ne bakola ne bakyusa embeera. Wabula kati, Amasaza agamu ettaka lifuuse kawugiro, nga tewakyali we bayinza kukolera.

Olubiri nga lumaze okulumbibwa mu 1966, buli kimu kyadobonkana, ettaka ly’embuga bwe baatandika okulikecula ate abantu ba Buganda ne baba nga tebakyalina kyakulabirako so nga kyabanga kikulu, olwo buli omu ng’ensi agiraba bubwe.

Olw’ekitiibwa ekitandikira ku mwami w’essaza, abantu baabanga bawulize nga ky’ayogera tekiddibwamu kuba yabanga musigire wa Kabaka.

Kale bwe yabakubirizanga okukola nga teba ajeema, naye mu kiseera kino omwami w’essaza asobola okwogera ng’eno bwe bamuziimuula!

Abaami b’amasaza n’amagombolola wakati wa 1950 ne 1960 baafunanga emisaala, owessaza yafunanga 1400/- wabula abamu zikka oba okusingawo okusinziira ku bantu abaabeeranga mu kitundu ky’okulembera.

Ensimbi zino nga ziyamba owessaza okulambula essaza n’okukubiriza abantu okukyusa embeera.

Ate baminista ba Kabaka nga bafuna 3,333.3/-, nazo zaayambanga okutuuka ku bantu okubakubiriza okukyusa embeera zaabwe, kati ekitakyaliwo.

Abantu okukyusa embeera walina okubaawo omukulembeze ate abatuukako nga bamussaamu ekitiibwa, nga bawuliriza ebyo by’ayogera.

Abakulembeze ba Ssaabasajja okuva ku kyalo ku Mutongole okutuuka ku Ssaza ekitiibwa kyabwe kirina okuddawo olwo boogere ng’abantu bawulira.

Eyaliyo mu Lubiri nga lulumbibwa oba eyali mu Kampala kuba 0752628931 otuwe emboozi yo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pak2 220x290

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa...

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa

Web2 220x290

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda...

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda

Kap1 220x290

Wawanirira Klezia ya St. Agnes...

Wawanirira Klezia ya St. Agnes Makindye

Lap2 220x290

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi...

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi

Mpa2 220x290

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera...

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera beebugira buwanguzi