TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Essasi eryasooka okuvuga mu Lubiri y’ensibuko y’entalo ezitaagudde Uganda

Essasi eryasooka okuvuga mu Lubiri y’ensibuko y’entalo ezitaagudde Uganda

By Benjamin Ssebaggala

Added 28th April 2016

OKULUMBA Olubiri tekyagwa bugwi, kyali kitutte emirundi esatu nga batulabula nti essaawa yonna Obote atulumba naffe ne twetegeka.

Ssenkumba 703x422

Hajji Ssenkumba

OBOTE okulumba Olubiri lw’e Mmengo nga May 24, 1966 kye kimu ku bintu ebyakosa Obuganda n’okutuusa kati. Nga wayise emyaka 50 bukya kikangabwa kino kigwawo, Bukedde akutuusaako emboozi eziraga engeri Buganda gye yakosebwamu mu mbeera z’abantu. 

OKULUMBA Olubiri tekyagwa bugwi, kyali kitutte emirundi esatu nga batulabula nti essaawa yonna Obote atulumba naffe ne twetegeka.

Waayitangawo ennaku nga ssatu oba nnya nga tebazze olwo ne batulagira tuddeyo eka ne tuddamu okukola emirimu gyaffe egy’omu Lubiri egya bulijjo’.

Haji Abdu Rahman Ssenkumba 74 eyali Namusu wa Ssekabaka Muteesa okuva obuto bwe yaweza emyaka 17 n’ayingira Buganda Poliisi Military Band bw’atandika emboozi ye.

Agamba: Okwetegekera Obote twalina Maj. Kaku omusajja Omutooro ng’ava mu magye ga Obote. Okusinziira ku nkolagana ya Buganda ne Tooro nga tusuubira nti yali tayinza kutulyamu lukwe.

Kaku yajjanga n’atutendeka ng’atulaga bwe tunaakuba emmundu ng’abalabe batulumbye n’okutuwa obukodyo obulala. May 23, 1966 nali mu Lubiri ne kitange Mulumba, Kabaka Muteesa n’amugamba nti: Mulumba ggwe ddayo eka owummule ojja kudda enkya.

Ekiro ekyo amagye gaazinda Olubiri nga tuli munda ne bataayiza emiryango. Ku ssaawa 11:45 nga bukya essasi erisooka lyavuga ne tumanya nti obudde bugayeggaye.

Twalina emmundu ng’okuba essasi n’owangamu eddala naye n’abaserikale abaatulumba tebaalina mmundu za mulembe osanga ffenna banditusse ne batumalawo.

Baamenya emiryango gy’Olubiri ne bayingira nze nali mmanju wa Twekobe enkadde ne Okumu. Twalaba bigaanye ne tudduka okwekweka mu kiraalo emmundu ne tuzisuula mu kaabuyonjo.

Essaawa zaali ziwera 8:00 olweggulo ekire ne kikwata okwetooloola Olubiri, enkuba n’etonnya era wano abantu abaali mu Lubiri webaafunira omwagaanya okutoloka nga babuuka ekisenge ku ludda olutunudde mu nnyanja ya Kabaka.

Enkuba bwe yatonnya amagye n’aba Special Forces ne badda mu bimotoka ne beggama. Nze ne munnange twabuuka ekisenge ne tutoloka, Okumu yadduka adda mu Ndeeba nze ne ηηenda ewa Dr. Walusimbi we nava okutuuka eka e Mengo.

Nasanga taata akaaba ng’amanyi banzise ne Kabaka. Abantu batono abalumirwa bannaabwe kuba twali mu Lubiri ng’emmundu evuga nga tuwulira ekizindaalo okuva ku bbaasi za UTC nga bayita abatambula okufuluma Buganda.

Enkeera baawandiika mu Uganda Argus nga balaga ekifaananyi ky’ebimundu ebikadde ebyali mu Lubiri nga bagamba nti y’emmundu Muteesa gye yategeka okukuba omulabe ekintu ekyali ekikyamu. Abantu be baawambira mu Lubiri baabatwala Luzira oluvannyuma baabata.

Baatandika okunoonya abaali abaseri- kale ba Kabaka ne nzirukira ewa Can. Binaisa oluvannyuma ne nneeyongerayo e Butooro.

ESSASI ERYASOOKA LYAKYUSA BINGI 

-Lye lyavaako ebizibu byonna ebitabangudde Uganda, eggwanga eryali lyeyagaza kubanga lyalaga abantu nti osobola okuwamba obuyinza ng’okozesa emmundu.

-Lye lyavaako Amin okuwamba.

- Tanzania okulumba Uganda.

-Lino kwe kwava Museveni okudda e Luweero n’alwana olutalo mwe yawambira obuyinza.

-Essasi eryo kwe kwava ekinyoolankoto ekyali e Rwanda mu 1995 kubanga abaalwana olutalo olwo baava wano mu Uganda.

-Essasi lino mu bingi bye lyatabula n’omwoyo gwa Bulungibwansi mu Buganda mwe gwafiira.

Abantu bangi abattirwa mu Lubiri era abaali abanene be nzijukira kuliko:

1 Benedicto Kibirige eyali akulira abakuumi ba Muteesa.

2 Masembe eyali akulira Olubiri ono ye yali azaala Polof. Kanyerezi, Joyce Mpanga ne Dr. Masembe.

3 Omuwanika w’Enkuluze.

4 Twawulira luvannyuma nti ne Maj. Kaku yafa naye teyalabikako ku lunaku lwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oo112 220x290

Gav't eyisizza ekiteeso ky'okukuza...

OLUKIIKO lwa baminisita luyisizza ekiteeso ky’okukuza ebibuga mwenda mu ggwanga okuva ku ddaala lya munisipaali...

Vanilla1 220x290

Gav't etadde amateeka amakakali...

GAVUMENTI ereese amateeka amapya ku kulima n’okutunda Vanilla agagenda okuyamba okukuuma omutindo gw’ekirime kino...

1280pxparliamentofuganda 220x290

Palamenti etadde gav't ku nninga...

AKAKIIKO ka palamenti akalondoola ebisuubizo bya gavumenti katadde gavumenti ku nninga olw’okulemererwa okutuukiriza...

Capture 220x290

Omukazi alina ettutumu ng’oli wa...

Nneetaaga mukyala ow’obuvunaanyizibwa, alina ettutumu, ow’ebbeeyi omusawo, omubaka wa palamenti, looya n'abalala....

Unity 220x290

Njagala eyeetegese okuwasa

Nneetaaga omwami okuva ku myaka 40 n’okweyongerayo, atya Katonda, alina empisa nga mwetegefu okukola obufumbo n'okwekebeza...